Thursday, 24 April 2014

EKITABO EKIFUNZA BYONNA EBIZZE BIBAAWO MU NKAYANA N’ENGERI BA KABAKA GYEBAZZE BASALA EMPAKA KU KIBAALE E KKUNGU NE BAZZUKULU BE AB’E BUBIRO




OBUVO N’OBUDDO KU MUSIGIRE WA KABAKA
KIBAALE OW’EMPEEWO


EKITABO EKIFUNZA BYONNA EBIZZE BIBAAWO MU NKAYANA N’ENGERI BA KABAKA GYEBAZZE BASALA EMPAKA KU KIBAALE E KKUNGU NE BAZZUKULU BE AB’E BUBIRO.

Ebiri munda
Amasiga mu kika ky’Empeewo ………………………………………………………………...……2
ENNYANJULA …………………………………………………………………………………..……3
Ebisooka eby’omukung’anya ……………………………………………………………………. ....6
Entandikwa y’okwkutulamu kw’ekika ky’Empeewo……………………………………………......9
Ensibuko y’ekika ky’Empeewo ebatabula mu 1913…………………………………………...…..9
Ensala y’Omusango gw’ensibuko y’ekika kyEmpeewo mu 1915……………………………....11
Kabaka atongoza Kibaale n’Omukulu w’ekika ky’Empeewo kyonna – 1919……………..…..15
Ab’e Bubiro baakola ki nga Kabaka ayongedde okutangaaza ku bukulu bw’ekika?..............17
Ekiragiro ku busika ekya 1924…………………………………………………………………..…22
Kiggye agaanira ddala okukkiriza Kibaale ng’Omukulu w’ekika, era yeefuula Omukulu w’ekika eyeetuukira obutereevu ku Kabaka……………………………………………………....23
Kabaka abonereza Siira Nkakya Kiggye olw’obujeemu eri Kibaale n’Obwakabaka………....23
Okugobwa kw’Omutaka Siira Matama Kibuuka Nkakya Kiggye………………………………..24
Emirimu gy’Abeekika ky’Empeewo ku Kabaka…………………………………………………...30
Ebbanga 1933-1939………………………………………………………………………………...33
Erisa Ssonko agobwa ku bwakibaale olw’okuvuma olukiiko mu 1941……………………..….34
Ani yalondebwa ku bwa Kibaale Omusigire, era Omukulu w’ekika ky’Empeewo nga Erisa ssonko avuddewo?.................................................................................................................35
Ssekabaka Sir Edward Muteesa II awubisibwa okumenya ekiragiro No. 6139 ekya
kitaawe ne Gavana ku kika ky’Empeewo…………………………………………………………36
Amos Musoke Ssenkaali akulembera ekika ky’Empeewo nga ye Kibaale Omusigire, era Omukulu w’ekika okuva mu 1942 okutuuka lwebyatabuka……………………………………..38
Ab’e Kkungu bagondera Kabaka era bakkiriza Amos M. Ssenkaali Kibaale………………….39
Ekiwandiiko Rev. P. Kakooza ky’ajuliza Ssabataka mu 1992 nga kya 26.01.1960…………..40
Ekika ky’Empeewo mu biseera bya Sir Edward Muteesa II ebyasembayo……………………41
Bazzukulu ba Kibaale e Kkungu baali ku ki mu budde obwo 1960-1966……………………...42
Ekika ky’Empeewo lwekyayawulwamu mu butongole…………………………………………...44
Omutaka Daniel Nanziri Nadduli Kibaale kyayinza okugamba Ssabataka gabalabaganye maaso ku maaso…………………………………………………………………………………….51
Tusaze magezi ki okutereeza ekika ky’Empeewo?................................................................56
Ebifa ku kisolo kyebayita Empeewo……………………………………………………………….58




EBIGAMBO EBIKWATA KU MUSIGIRE KIBAALE
NE
JJAJJA WE KAYIMBYE-OBUTEGA MUNNE WA SSEKABAKA KINTU.
ENNONO Y’EKIKA KY’EMPEEWO E KKUNGU MU KYADDONDO

Amasiga mu kika ky’Empeewo

1.    Olunyiriri lwa Kulubya olw’akasolya e Kkungu – Kyaddondo.
2.    Lule Kalyankolo e Bulyankolo – Kkungu, Kyaddondo.
3.    Ssenjala e Kkungu – Kyaddondo.
4.    Kibirango Kiggye e Bubiro – Kyaggwe.
5.    Ggombe e Kiwangaazi – Kyaddondo
6.    Basazelubabi. e Kiryowa – Kkungu – Kyaddondo
7.    Mugambe e Zzinga – Ssingo (Gwali mutuba ewa Ssenjala).
8.    Ssenkubuge e Luttisi – Mt III Namayumba – Busiro
9.    Ssemannya e Nkoma – Kyaddondo (Gwali mutuba ewa Ssenjala).
10. Kiryowa Walaga e Bulyowa – Kkungu – Kyaddondo
11. Kachuchu mu Kibinge – Buddu (Gwali mutuba ewa Kalyankolo).
12. Mugenyl e Kakundi e Lwamaggwa – Buddu.
ENNYANJULA
Abaganda baalugera, Eddimu eddene likummya obwami; amakulu nti bw’olabikanga ng’alinawo keweekoledde abatalina bingi batera okukukonjera n’okukulimirira eri bakama bammwe.

Naye n’ebigambo ebyatandikanga nga eby’olusaago mu mwaka gwa 1913 ku mulembe gwa Ssekabaka Daudi Chwa II naye oluyiira lwebaakoleeza lukyalanda n’okutuuka ku saawa ya leero mu kika ky’Empeewo ku mulembe guno ogwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Mutebi II.

Teebereza abazzukulu ddala abaali bakuze nga bakimannyidde ddala nti beddira Mpeewo ng’omu asibuka mu ssiga lya Kiggye e Bubiro mu Kyaggwe nga mu budde obwo lye lyali essiga 4 mu kasolya k’ekika ku butaka obukulu e Kkungu, ate ng’omulala ava mu ssiga lya Ssenjala e Bugambe – Kkungu mu Kyaddondo nga lye lyali essiga 6.

Ekinuusi kyennyini ekyabaleetera okukoleeza olutalo luno yali nsaalwa mu Baganda bangi mu buddo obwo ku Baami ba Kabaka basatu Sir Apollo Kaggwa Katikkiro, Stanslaus Mugwanya, Zakalia Kisingiri n’abo bonna bebaakola nabo mu biseera bya Kabaka nga akyali muto nga kyava ku ngabana ya mailo.

Abavubuka n’abataka abamu mu bika bingi baalonda Omutaka Miti Kabazzi ow’Akasimba nebawawaabira Abaami 3 nga babalanga obutabeera beenkanya bwebaali bagaba mailo ng’Endagaano ya 1900 bweyali eteekeddwateekeddwa. Omusango gwakandalira naye oluvannyuma mu myaka gya 1920 gwawulirwa Kabaka yennyini era negutuuka ne mu kkooti y’Abafuzi b’ettwale. Newankubadde bwalimu ensonga mu kiseera ekyo, naye abawaabi kyebaali basaba eky’okuddamu okugaba mailo tekyasoboka. Ebyo byakoma awo.
Kale buli kika kyalina abazzukulu mu kyo abataali bamativu naddala abo abataali baana ba Baami ku mitendera egy’enjawulo ng’Abaamasaza, amagombolola oba abataka mu bika ng’aboobusolya n’abamasiga. Engaba yennyini yalimu kyekubirira nga kyasinziirira ku nzikiriza y’eddiini era amasaza gayawulibwamu ku musingi gwa nzikiriza ng’abasomesa ebyafaayo bya Buganda ebitali bijaabulule bwebayinza okuteeka obulungi.

Ffe mu kika ky’Empeewo abazzukulu abasing obungi baali mu mbuga enkulu e Kkungu baali bakulisitaayo, naye nga n’abakulisitu baali bawera ku mbuga y’e kitinkokola, era nga n’abasiraamu abaali ku lusegere lwa Ssekabaka Kalema n’Omulangira Noho K. Mbogo twalinamu bangi ne mu luggya lwennyini olwa Lukka Ssekamwa Kibaale ng’abaana be babiri baali basiraamu ddala, era ne Zakayo Nadduli kitange yawalirizibwa okubeera omusiraamu mu biro ebya Ssekabaka Kalema ng’abaganda be baagala abakuumire abaana.

Mu kika ky’Empeewo olw’okuba mwemwali musinga abaana ab’enda emu eya Lule Kantinti Kibaale abaali abatabaazi ennyo era kumpi ng’entabaalo zonna ezaaliwo ez’eddiini nga Kabaka Mwanga II atabukkidde abasomi eby’okugabana mailo webaatuukira nga baalina okufuna omugabo ogubagwanidde ng’abantu ssekinoomu, ate era ng’abaami ba Kabaka, ate era ng’abakulu b’ekika ku kasolya ne ku masiga.

Mu ngabana eyogerwako kitange yagabana mailo 13 n’obuyitamu, ate muto we Y. L. Musajjalumbwa eyali Kaggo era Omuwanika naye n’afuna, ne muto waabwe Keirupa Mujeebeejo yasukka mu mailo 9, nkugabye enda yonna eya Lukka Ssekamwa Kibaale neganyulwa mu buweereza bwayo eri Obwakabaka bwa Buganda. Amasiga gonna ag’ekika ky’Empeewo 8 amatongole mu kiseera ekyo bafuna mailo emu n’abalala okusinga, era ekika nekyiggumira bulungi mu ttaka.

Kaakati essiga lya Kiggye mu Bubiro mu Kyaggwe lyali mu mikono gya lulyo lwanzikiriza ya Bakulisitu, ate nga abantu abo tebeetaba mu lutalo nga bwekyali enkizo ennene ku baagabana. Kale munnaffe Ezekyeri Ssekiwala eyali mukwano ennyo owa Siira Kibuuka Nkakya yafuba nga bw’asobola munne bwebabadde e Kabula ate ow’enzikkiriza ye wakiri afune mailo emu alema kuviiramu awo.

Abeekika bwebaatuula abasibuka mu ssiga erya Kiggye baaganira ddala okulonda Siira Kibuuka kubanga ava mu mutuba gwa Mpiima Ndyemala ogwakola ekivve nga Kiggye 2 Sikubulwe afudde, era nekisalibwawo ku mulembe ogwo ogwa Ssekabaka Namugala obutaddamu kulonda mu lulyo olwo. Siira yali asibuka mu Mpiima, ate ng’Obusika obulya Obwakiggye bwali mu mutuba gwa Kagiri Kinonoko e Toja Kale Ezekyeri Ssekiwala bweyalaba nga tasobola kweyambisa kika kutuusa munne Siira Kibuuka kufuna mailo, kyeyava amutwala butereevu eri Katikkiro Apollo Kaggwa nti oyo ye waffe gw’obeera owa mailo y‘essiga ly’e Bubiro. Bazzukulu ba Kiggye bangi naye bonna bali ku mailo eyo emu yokka!

Ogwo gwe musingi gwennyini egw’empalana eyatandikibwa abantu babiri n’eranda ku lulyo lwonna era nga kati mu budde buno abazzukulu bennyini bali mu kweboola mbu ndi w’e Bubiro bali ab’e Kkungu banywanyi baffe. Ebyo nze mbiyita bya kito kubanga ekyaleeta n’empalana ezo lyali ttaka era nga bangi ku bazzukulu b’abo abaaligabana lyabavaako dda neridda ku bazzukulu b’abo abaali bakaayana.

Kyerabirwa mugambi, si nze nalugera naye abasajja b’e Bubiro eyo baatusaako ekigambo mu mwaka gwa 1939 nga byonna byebaagezaako kutuzza ebbali bibalemye okumala emyaka 25 bukanga batandika mpaka zaabwe, naye kitufukidde ebbwa lya kkookolo eritawona nga baluubirira okutuboola. Kyebaalbirira butafiirwa bibiri ettaka ate n’eddoboozi mu kika, era ky’ova olaba nga bawalampa ebifo ebikulu ennyo mu ffe ddala ekya Kibaale Omusigire n’ekya Kaggo w’e Kasubi. Singa abaafa baali badda Ssekabaka Daudi Chwa II yandikomyewo n’anyumyamu ne Siira Nkakya Kibuuka ng’ali ne mutabani we Silas Mpiima Musajjalumbwa ng’ate Zakayo Nadduli ali ludda ne Katikkiro Martin Luther Nsibirwa mu maaso ga Chief Secretary n’Owekitiibwa Gavana.

Obuzibu bwonna obukyagaanye empaka mu kika kyaffe eky’Empeewo okuggwa eva ku Baami ba Kabaka abamuli ku lusegere abeddira empeewo ng’abazzukulu ba Kiggye ne mikwano gyabwe. Ssekabaka Daudi Chwa II yasala empeka zaffe emirundi 4 nga ffe ab’e Kkungu twawangulwako gumu gwokka ogwasooka  mu 1915 n’okujulira kwakwo, kyokka netuwangula emirundi 3 n’okujulira kwako, era nekubaako Memorandum No. 6139 mu 1925 eyaggalawo empaka zonna ku kika ky’Empeewo. Naye maama laba ate abalyolyomi abaagera Kabaka oyo akisizza omukono nebatusaako ekigambo ky’okuboolebwa n’okuwabya Kabaka Muteesa II era ekika n’akikutulamu mu 1960!!

Kati omusomi w’ekitabo kino njagala ogoberere ebigambo kimu ku kimu nga bwebizze bibaawo, era bw’obeera oyagala original copy ku nsonga yonna ojjanga mu mbuga yange e Nnaakukuba – Kkungu – Kyaddondo tugeregaranye.

Nkwagaliza okusoma okulungi obeere mwenkanya ku buli nsonga mu ndowooza yo ng’omuzzukulu wa Kayimbye-obutega, era naawe olwanirire ng’ekyo obulamu bwo bwonna.

Nze Munnammwe Omutaka Daniel Nanziri Nadduli Kibaale.
Omukulu w’ekika ky’Empeewo e Kkungu, era Omusigire wa Kabaka.
Ntenvu 1, 2013, Bbunga – Makindye Division – Kampala

Ebisooka eby’omukung’anya
Omuwandiisi eyasooka okunoonyereza n’okuwandiika ku bika
by’Abaganda yali Omumisane. The Right Reverand John
Roscoe nga yakikola ku mulembe gwa Ssekabaka Mwanga II
ekitundu ekyasembayo (1889-97), era byeyazuula yabiwandiika
mu kitabo kyeyatuuma, BAGANDA: their cutoms and beliefs’,
kyeyafulumya awo mu 1911. Mu kukyanjula agamba nti
yayambibwako Katikkiro Apollo Kaggwa eyamukung’anyizanga
abantu abakulu ddala mu myaka era abaali batanasabululwa
kigambo kya Katonda.

Bw’atuuka ku kika ky’Empeewo ku muko 157 atulaga nga kyatandikibwa ku musajja Kayimbye-obutega eyajja ne Ssekabaka Kintu nga ba mukwano nnyo, era Abataka Walusimbi (Ffumbe), Nankere (Mmamba) ne Nakaswa (Nte) be baaleeta ekiteeso mu lukiiko lwa bannabwe ku mulembe gwa Ssekabaka Chwa I Nabakka abeera Omulamuzi alina obuyinza okulaamula Kabaka yennyini, era ekiteeso ekyo nekisanyusa nnyo Kabaka oyo kubanga gwe baali bayogerako yali mukwano gwa kitaawe nnyo, era awo weyava okubeera Omusigire n’ebiralla bingi mu lubiri! Mu buli ngeri yabiggya ku bakibaale basatu ab’obudde obwo Lukka Ssekamwa Kibaale, Yakobo Lule Musajjalumbwa ne Zakayo Nadduli Kibaale.

Omuwandiisi y’omu bw’atuuka ku kika ky’Emmamba atulaga nti baalimu obutakaanya ku nsibuko yaabwe ng’era baawufu. Bw’atuuka ku kika ky’Enjaza atulaga nti jjajja bwe eyasooka yali Lutimba eyaliwo mu biseera Kintu weyajjira nga yali musenze mu Mabira mu Kyaggwe.
Ekitabo ekyadddako ku bika kyali kya Katikkiro Sir Apollo Kaggwa kyeyatuuma, Ebika ky’Abaganda, era naye atulaga nti ekika ky’Empeewo jjajja akyo ye Kayimbye-obutega eyali abeera e Kiwawu mu Busujju.
Omuwandiisi Joseph. S. Kasirye ku muko 81 mu kitabo
Chevalier Stanislaus Mugwanya ekya 1955’ agamba nti,
…Nga  mu mwaka 1913-15 Mugwanya yawozesa omusango
gw’ekika ky’Empeewo. Omutaka Kiggye ow’e Bubiro mu
Kyaggwe ng’akayana ne munne Kibaale owo mu nda ya
Kantinti, bazzukulu ba Nanziri. Zakayo Nadduli ye yali
Kibaale . Omusango ogwo gwanyuma nnyo; kubanga
Ebyafaayo bingi eby’edda ennyo biwanuulizibwa ku nfumo

Bufumo ezitaliimu kitangaala kimala, omusango gwagenda gujulira ne kkooti y’Abazungu ng’Omulamuzi Omuganda Mugwanya okugusala gusinze ab’e Kkungu. Abazungu gwabasobeza nnyo. Kubanga ebigambo eby’enfumo ebigamba nti, “Bwe twava egendi okujja engindi….. ejjinja lyaffe Kkungu ne ligamba nti…”

Abazungu okwo kwe baasinziira okugamba nti emisango gy’ebika by’Abaganda gisaanira kusalibwanga Kabaka nnannyini bika, ggwe w’olabira ejjinja nga litambula ate ne lyogera!’

Omuwandiisi eyaddako ye M. B. Nsimbi mu kitabo, ‘Amannya Amaganda n’ennono yaago’ ekya 1956, era n’alaga ku muko 299 nti jjajja w’ekika ky’Empeewo ye Kibaale, era n’aleeta n’amaloboozi agava ewa Kiggye nga bweyabinyumya mu 1913-15. Weyawandiikira ng’ebigambo bikyuse nnyo, era yasanga Kibaale ye Amos Musoke Ssenkaali eyamugamba ebibye, ate ne Silas Mpiima Musajjalumbwa naye n’amuwa ebibye. Omuwandiisi y’omu ono eyasooka okutulaga nti Kayimbye-obutezi-n’okukwakkuliza ye jjajja w’ekika ky’Enjaza ow’e Kiwawu mu Busujju, era nga ye yali azaala Kitanda owakasolya k’ekika kyaabwe. Omuwandiisi ono alaga bulungi nti Kabaka Kintu ne banne webajjira nga jjajja w’ekika ky’Enjaza eyaliwo yali Kitanda ekiraga nti ono Kayimbwe-obutezi yali yafa dda, era nga si Kayimbye-obutega munne wa kintu N’ekirala lwaki teyalaga Lutimba nga jjajja w’ekika ky’Enjaza nga Roscoe bweyakifuna mu myaka egy’edda ennyo gityo?

Wabula byeyawandiika tebyesigika ku Kayimbye-obutezi kubanga engeri gy’alaga nti ate naye yali w’e Kiwawu mu Busujju n’owepeewo Kayimbye-obutega gy’asuubirwa, ate nga byeyawandiise ku Mpeewo teyakoona ku ddoboozi wantu wonna liraga Kayimbye-obutega eyajja ne Kintu ng’amutegera enkwale ng’empoza eza 1913-5 bwezakirambika kuludda lwa Zakayo Nadduli Kibaale Omuwandiisi y’omu teyawandiika wantu wonna katulaga nti waaliwo empaka ku nsibuko y’ekika ky’Empeewo mu budde obwo. Ono yalimu kyekubirira era nga tekyewunyisa kubanga yali mukungu mu gavumenti ya Ssabataka mu budde obwo ate nga ne Silas Mpiima Musajjalumbwa Mweyali aweereza.

Omutaka ow’essiga lya Jjumba Erisa Muwanga (Ku myaka 98!) ng’ali wamu n’abaana be abemituba bawandiika ekitabo ky’essiga lya Jjumba ekitongole mu 1961-63, era  mwebawandiika nti; ‘Mu kuttikira Omutaka Jjumba ku mikolo gy’abataka bannansangwa ab’e Bunjakko negitandika ne bamutwala ku lusozi Mpala ku katunnumba akayitibwa Nakatatya. Omusigire wa Jjumba ow’oluberyeberye ow’Empeewo y’akulembera. Omusigire oyoasibuka Zzinga mu ssiga lya Mugambe Embuga ye ebeera Kirega – Bunjakko – Mawokota.Bwebatuuka ku ntunnumba Nakatyatya, omusigire n’amulengeza ennyanja era n’amulengeza n’e Ssese ewa Lubaale Mukasa’.

Okuva ku bawandiisi bombi abo tukizuula nti; waaliwo emisango ku nsonga ezimu mu kika ky’empeewo ku mulembe gwa Ssekabaka Daudi Chwa II, era tetukiraba nti mu Buganda ku mulembe gwa Ssekabaka Kimera mwalimu abeddira Empeewo Kabaka Kimera waatuukira okwesiga omuntu (Mugambe Owempeewo) n’amusindika ng’Omugabe ayingize Oulangira Jjumba (Nkima) mu mbuga ye ate ab’e Bunjakko nebamumanya nti Mutaka Nnansangwa e Bunjakko, kyongera okututangaaza nti kituufu abempeewo ku Ssekabaka Kintu baaliwo.

Kale ffe abayize obuyizi ku bika byaffe nga tuyitira mu biwandiiko wetusoboledde okubitegeera era ne bannannyini byo nebatwesiga, kyassanyu nnyo okufuna ekitabo nga kino ku kika ky’Empeewo okuviira ddala mu musaayi gw’obusika bwa Zakayo Nadduli Kibaale eyasooka okuwandiika ku kika kye, era eyali ddala mu mpaka z’ensibuko y’ekika ky’Empeewo mu myaka 1911-1919, ate nga negweyali awoza naye, yaliko omuzito Owek. Stanslaus Mugwanya mukoddomi we, ate nga mukwano gwe nnyo nga bwetukisoma mu kitabo kya Joseph S. Kasirye.

Bwekityo netulaba nga ebyaliwo okuva emabega yonna okutuusa ku Ssekabaka Daudi Chwa II ekika ky’Empeewo kisibuka mu Kayimbye-obutega era nga ye Kibaale Omusigire.

Ku ludda olwaffe abanoonyereza tulaba ng’ensonga Ssekabaka Sir Edward Muteesa II kweyasinziirira okumenyawo ensala zonna eza kitaawe ku bukulembeze bw’ekika ky’Empeewo yali awubisidwa omukungu we eyali Omuwanika w’enkuluze era Omubaka we mu Lukiiko ayitibwa Silas Mpiima Musajjalumbwa nga bwekirabikira mu nsala za Kabaka eza 1960-2, era okukakkana ng’ekika akyikutudde ebiwayi bibiri kyokka nga awoza kimu nga bwatamenyeewo nsala ya kitaawe eyakireka obumu wansi wa Mutaka Zakayo Nadduli Kibaale ne Erisa Ssonko Kibaale eyamuddako.

Mwalim R. N. Sserunjogi, Bsc/Ed (M.U.K)Director Akange Cultural Research Bureau Bulenga. Omutegesi, era omusunsuzi w’ekitabo kino (0772617808/0704936067).

Entandikwa y’okwekutulamu kw’ekika ky’Empeewo
Emirandira givira ddala mu mwaka 1913, abasajja babiri amanya;-

1.    Oweesiga Kiggye Siira Kibuuka Nkakya Nnundaannungi (1865-1954)
2.    Omuzzukulu Eria Ssekamwa Lubinga okuva mu ssiga lya Ssenjala.

Batuuka nga basoma mu kitabo ky’Ekika ky’Empeewo ekyasookera ddala okuwandiikibwa awo mu 1901 nga eyakiwandiika ye mukulu w’ekika Omutaka Zakayo Nadduli Kibaale n’abataka abakulu mu kika abaaliwo. Naye essuula ku nsibuko y’ekika kyabwe yali tetabagana bulungi nekyebaali bamannyi.

Abasajja  abo ababiri be Bawaabi, naye katusooke n’ekigambo bo bennyini kyebaasoma mu kitabo ky’ekika ky’Empeewo nga bwekyawandiikibwa omukulu w’ekika.

Ensibuko y’ekika ky’Empeewo ebatabula mu 1913

Guno gwe musango ogulabika nti gwegwaleetera Kiggye ekinyegenyege ky’okwewang’amya ku bukulu bw’ekika ky’Empeewo.

Ensibuko y’ekika ky’Empeewo okusinziira ku Mutaka Zakayo Nadduli Kibaale

Omutaka Z. N. Kibaale yagamba nti abeekika ky’Empeewo batandikira ku jjajjabwe Kayimbye-obutega eyajja ne Ssekabaka Kintu, era olutabaalo lwa Bbemba Musota bwerwaggwa Kabaka n’akuba olubiri lw’e Magonga  mu Busujju ne Kayimbye-obutega n’akuba olulwe okumpi ne munne e Kiwawu mu Busujju; era ng’omulimu gwa Kayimbye-obutega omukulu ku Kabaka kumutegeranga nkwale n’aziwa bawala be nebategekera mukama w’enva.

Bwewaayita ekiseera Ssekabaka Kintu ng’asoowaganye ne Kisolo Muwanga Kyoto (Ng’onge) yamufumita effumu era n’afa era n’abulako effiire. Abataka abakulu bwebalaba biri bityo ne bamuyita mukama waabwe abanyonyole ensonga nga bweziri, naye ye n’agaana olw’ensonyi eri banne abaali bamwesize okubakulembera mukuteesa so si kubafuga bumbula nga Bbemba Musota gwebaali bakamala okukunkumula omukono mu kibya.

Abataka baakanda kulindirira mukama waabwe Kintu nga buteerere, era ekyavaamu kulonda mwana we Omulangira Chwa Nabakka amuddire mu bigere. Mu ngeri y’okutangira bakabaka abaliddako okuyiga okufuga obusungu abataka Walusimbi (jjajja w’ekika ky’Effumbe), Nakaswa (jjajja w’ekika ky’ente ya Lubombwe) ne Nankere (jjajja w’ekika ky’Abakererekere) baasaba. Kabaka akkirize Omutaka Kayimbye-obutega eyali mukwano gwa kitaawe abeere omulamuzi we, era omuwabuzi we asobole okumukakkanyanga obusungu, era bateesenga naye byonna ebikwata ku baana be n’abaami be.

Eky’okumulondera Kayimbye-obutega Kabaka Chwa Nabakka kyasanyusa nnyo kuba gwebalonda yali mukwano nnyo era nga munne wa Kabaka Kintu. Awo Chwa Nabakka weyava okutandia okulekanga Kayimbye-obutega n’obuvunaanyizibwa mu Lubiri (Omusigire), era Kayimbye bweyafa n’asikirwa Ssejjuuko baasigala bakolagana bulungi.

Eky’erinnya okukyuka Z.N. Kibaale yawandiika nti lyakyukira ku Ssekabaka Mutebi I eyayagala ennyo Omusigire eyaliwo ayitibwa Lubuulwa Kayimbye-obutega, era nga ye yayongera okumukakkasa ku Busigire, era n’amwongerako erya Kibaale kubanga yabeeranga kumpi n’olusozi olunene Kkungu ate ng’ejjinja abantu b’edda baaliyitanga ibaare.
Amaliriza agamba nti abataka abamasiga bonna amakulu baali baana ba Lubuulwa Kibaale oyo, era yali mutabaazi nnyo eyatabaala ne muliranwa waabwe Kalali okuwangula Obusujju okuva ku b’enseenene n’ekitundu ky’e Ssingo. Awo Kabaka weyava ne Kalali n’amutuuma erya Kasujju Lubinga, ate ye Lubuulwa n’amwongerako erya Kibaale, era Lubuulwa oyo ye yakuba embuga y’e Kitinkokola nga Kabaka amuwadde Obwamukwenda mu Ssingo, weyava okudda e Luttisi mu Busiro, naye oluvanyuma n’afiira ku mbuga ye eyasooka e Kitinkokola. Lubuulwa Kibaale taliiko malaalo naye weyabulira ku kkookoowe buli omu amanyiiwo. Kigambibwa nti yali akaddiye nnyo ng’awalulibwa ku ddiba, era nga bayinza okubanga baamwerabira okumujja mu kasana ensolo nezimulya.

Abaana ba Lubuulwa Kibaale omusika 13 owa Kayimbye-obutega, omwana wa Migadde muzzuku wa Nkulabantyo;

  1. Lule Kalyankolo e Bulyankolo – Kkungu
  2. Kulubye e Buyozi – Kkungu
  3. Ssenjala e Bugambe – Kkungu
  4. Kibirango Kajoba Kiggye e Bubiro – Kyaggwe
  5. Gombe e Kkungu
  6. Basazelubobi e Kkungu.
Lubuulwa – Kibaale yasikirwa mutabani we Kulubya nga Kikulwe ye Kabaka okutuusa ku Ndawula. Kulubya Kibaale embuga yagikuba Kkungu mu Kyaddondo.

Ebyava mu kunyonyola kw’abawaabi ku nsibuko y’ekika ky’Empeewo

·         Tebaaliwo ku mulembe gwa Ssekabaka Kintu kubanga baasenga Ssekabaka Mutebi I era n’erinya lya Kayimbye-obutega tebaliwulirangako.

·         Baava mu nsi y’Abamasaaba era nga jjajja bwe yayitibwa nga Mpiima ataggya n’abaana be, era nga yabakwasa munnabwe Kibirango Kajoba Kiggye era nga ye jjajja w’ekika kyabwe ku mbuga e Bubiro.

·         Baggya ne Muganda waabwe nga kikulekule eyayitibwanga Kkungu, era eyafa n’afuuka olusozi Kkungu.

·         Kibaale yali ayitibwa Sseryazi Ssebbaale era nga mwemwava erinnya Kibaale.

·         Kkungu teyalabanga ku Kabaka olw’enkula ye embi kyebaava baddira Sseryazi omwana wa Mayungwe abayungenga ne Kabaka era wewava abempeewo okuba n’Omusigire wa Kabaka mu Lubiri n’ebyo byonna by’akolayo.

Ensala y’Omusango gw’ensibuko y’ekika ky’Empeewo
Mu 1915

Omulamuzi omukulu yali Owek. Chevaller Stanslaus
Mugwanya n’Olukiiko.
Okusalawo kw’Omulamuzi n’Olukiiko nga 12.02.1915 era
Ng’Omusango gwawozebwa emyaka ebiri (1913-5).

Ebyava mu kunoonyereza
Mu kunoonyereza kw’Omulamuzi n’Olukiiko batuuka ku
butaka abali mu mpaka bombi gyebaali bagamba nti
gyebasibuka (Bubiro-Kyaggwe ne Kiwawu – Busujju).

Kyebaazuukayo kyakuba nti abatuuze abakulu ddala e
Bubiro bakkiriza nti e Bubiro butaka bwa ba Mpeewo, era
nga abasing bagamba nti abeempeewo baava ku ludda lwo
mu nsozi z’Abamasaaba. Ate e Kiwawu abatuuze kumpi
bonna baagamba kimu nti baali tebawulirangako nti
Abeempeewo balina ebibanja ku Kiwawu.

Ekirala abalamuzi kyebeesigamako bwe bujulizi obwa ku Mulangira Noho Mbogo owa Ssekabka Ssuuna II bamanyibwa ku Bwakibaale ku Ssekabaka Mutebi I, naye eri ku Ssekabaka Kintu yali takimanyi.

Omulamuzi kyeyasalawo nti, ‘Abawaabi kyebagamba kyikyirako ku ky’omuwawaabirwa jjajjabwe Kibaale’.

Omuwawaabirwa Zakayo Nadduli Kibaale yajulira ewa Ssekabaka Daudi Chwa II ku lunaku olwo lwennyini.

Ebyava ewa Kabaka ku nsonga y’okujulira kw’omuwawaabirwa Zakayo Nadduli Kibaale.

Guno gwe musango Kabaka gweyasookerako era nga waali waakayita omwaka gumu ng’abakuza be bawumuziddwa kuba yali amaze okuweza emyaka 18, era nga amaze n’okukuba ekirayiro ky’okuweereza abantu mu mazima n’obwenkanya mu 1918, era n’okuba omuwulize era Kabaka n’Obwakabaka  bw’e Bungereza.

Ng’asinziira ku byava ku Babaka abaasindikibwa ku Butaka obwogerwako, era nga n’omuwawaabirwa yalinako omubaka owuwe mutoowe Erisa Ssonko, Ssekabaka Daudi Chwa II afundikira akkiriziganya n’Omulamuzi Stanslaus Mugwanya n’Olukiiko, era ng’ekinuusi ekya Kabaka kyali ku kigambo ky’abasika ba jjajja Kayimbye-obutega 12 abaali bawandiikiddwa Kibaale nti baagwa Kiiwawu naye newalemwa okujuulwawo wadde Omutaka eyasigalayo ku butaka ate nga n’emirambo wennyini wegyagalamizibwa teri amanyiwo.

Amakulu agaali mu nsala ya 1915

Ssekabaka Daudi Chwa II n’Omulamuzi Stanslaus Mugwanya bakkiriziganya n’eky’Omutaka Oweesiga Kiggye e Bubiro mu Kyaggwe nti Kayimbye-obutega teyaliiko bujjajja bumannyiddwa mu Buganda kuba n’e Kiwawu gy’asuubirwa nti gyeyagwa talinaayo malaalo, naye Kiggye Kibirango Kajoba jjajja w’ekika nga abawaabi bwebaali bagamba, aliko obujulizi nti ye yakulembera banne okubajja mu nsi y’Abamasaaba awasuubirwa nti kitaawe Mpiima gyeyasigala.

Weetegereze kino Kabaka n’Omulamuzi tebasalangako nti engeri empaka bweziwedde zityo, abawangudde bebanannyini kika era bebalina okubeera abakulu b’ekika. Omusango guno gwali ku nsibuko ya kika kya Mpeewo nga gwesigamizidwa ku bannansi abazaaliranwa n’gabajulizi abasooka.

Lwaki tulowooza tutyo nti ago ge gaali amakulu nsala ya 1915?

·         Ssekabaka Daudi Chwa II mu 1917 ye yakyatula nti Kibaale ye mukulu w’ekika ky’Empeewo kyonna, ate n’abawaabi tebaawooza bukulu bwa kika.

·         Ssekabaka Sir Edward Muteesa II mu 1943 yagamba mu mpaka z’Obwakibaale nti ye yali tamenyeewo nsala ya Ssekabaka Daudi Chwa II eya 1915.

·         Omutaka Zakayo Nadduli bweyafa mu 1932, Kabaka ab’enda ya Lukka Ssekamwa beyasaba Kibaale Omusigire we.

Abawaabi Siira Nkakya ne Eria Ssekamwa Lubinga baalowooza ki ku buwanguzi bwaabwe?

·         Obujjajja bw’ekika ky’Empeewo buli Bubiro mu Kyaggwe
·         Kiggye y’abeera jjajja w’ekika ky’Empeewo.
·         Kibaale alina okuba nga asiigibwa jjajjawe Kiggye mu Lubiri.
·         Zakayo Nadduli abaddize ekifo awali ejjinja lyabwe kuba yali muntu eyava e Bubiro n’afuuka ejjinja wamu ne mukazi we Namyangule owolugave.

Ebyaddako ng’Omutaka Zakayo Nadduli Kibaale asingiddwa omusango mu kkooti ebbiri ezisooka

Zakayo Nadduli Kibaale yagaana ebigambo bya Kiggye Siira Nkakya ne munne Eria Ssekamwa ebiwanuulizibwa ku nfumo bufumo ezitaliimu kitangaala kimala okuba ng’Omulamuzi omukulu Mugwanya gweyesigamye okumusingisa omusango. Yasibira ku bigambo kubanga byeyakula amanyi ne kitaawe gweyasikira mu butongole mu 1902 byeyakula abagamba. Awo weyava omusango n’agwongerayo mu kkooti y’Omulamuzi w’ettwale ng’ayitira ew’omuwandiisi w’ettwale (Chief Secretary).

Biki ebyali eri ebyava mu Kkooti y’Omulamuzi w’ettwale (British Protecorate Government)?

Tetulina biwandiiko bya kkooti n’empozang’anya, naye mu bawandiisi b’ebitabo waliwo Omw. Joseph S. Kasirye mu kitabo, ‘Abateregga ku Nnamulondo’ eky’omwaka 1955 (Omuko 90) n’ekirala ekifa ku Chavier Stanslaus Mugwanya (Omuko 81) ekya 1956 mw’atuwala ekifaananyi ku butabanguko mu kika ky’Empeewo.

Okusinzira kumusika wa Zakayo Nadduli Kibaale nga ye Mutaka Danieri Nanziri Nadduli Kibaale nga yatubedde mu kukola ekitabo kino agamba nti, kitaawe bweyamala okuyitibwa okuwa ensonga lwaki yali ajulidde mu maaso g’Omulamuzi w’ettwale bali banne bebaasooka okuwa empoza yaabwe era tebalina nakimu kyebakyusaamu mu bigambo ebyava ew’Omulamuzi Stanslaus Mugwanya. Ye bweyasituka okuwoza baalabira awo nga ajjayo kisibaawo kye ng’akikuba ku mmeza ya Mulamuzi! Bagenda kulaba ng’ajjamu ejjinja ery’ekigero kulikuba ku mmeza! Yasamba Omulamuzi alagire Kiggye oba munne Eria Sekamwa alagire ejjinja eryo litambule, era bw’amala okukikola ye ng’akkiriza nti omusango gumumezze!
Kigambibwa nti Omulamuzi yakanula amaaso nga n’abawawaabirwa batunule mpewere ebigambo bibakalidde ku matama. Omulamuzi n’asooka ava enseko, era n’asooka ayimirizaamu kkooti. Olwadda n’abalaga olunaku olw’okudda.

Ebyava mu kkooti y’Omulamuzi Omungereza ow’ettwale mu 1916-7

Olunaku lwamala nerutuuka, era abaali mu mpaka nebabasomera ekyasaliddwawo wakati wa Governor ne Ssabasajja. Ekyasalibwawo abakulu abo bombi kyali nti, “Ensonga zonna ezitwata ku Bika zaali zirina kuggwera wa Kabaka kuba ye nannyini byo, era kyonna ky’alibanga asazeewo kiribeera kya nkomeredde!” (Laba Chavalier Stanslaus Mugwanya ekya Kasirye ku muko 81 akatundu 3).

Omusango bweggwaddizibwa Ssekabaka Daudi Chwa II mu1917 yasalawo atya?

Wano abawabuzi ba Ssekabaka Sir Edward Muteesa II beyasaawo okukwatizaako ku nsonga z’ebika (Standing Committee) weebaabuusa amaaso, era ekintu ky’ekimu n’ekituuka ne ku kakiiko Ssabataka keyasaawo mu 1992 aka Ssentebe Rev. Polycarp Kakooza!

Ebbaluwa eziddako zongera okutuwa ekitangaala ekimala ku byasalibwawo Ssekabaka Daudi Chwa II, era n’abiweereza Kamalabyonna n’Olukiiko lwa Katikkiro ku mbeera nga bweyali mu budde obwo mu Buganda ku kika ky’Empeewo.

Ssekabaka Daudi Chwa II mu kiseera kino yali aweza emyaka eegy’obukulu 21 era nga muyivu ddala ku ddala ly’Abangereza era ng’Olulimi Olungereza alukuba budinda okusinga abantu be bonna nga bwetulaba Omuwandiisi Joseph S. Kasirye amwesimisa mu kitabo Abateregga ku Nnamulondo ya Buganda ku ssula emukwataako.

Kabaka atongoza Kibaale ng’Omukulu w’ekika ky’Empeewo kyonna – 1919

KABAKA’S OFFICE – MMENGO

17th September 1919

Copy to Kibaale
           Sekamwa
The Lukiiko – Mmengo

This is my statement to Mpeewo clan, as this case has been pending for observation to the Chief Justic – Entebe;

  1. In the Chief Justice’s letter dated 26th  October 1918 in reply to my letter addressed to him dated 23.10.1918, together with my interview with him on  addressed to him dated 23.10.1918, together with my interview with him on 19.10.1918. Therefore I write this letter to the Lukiiko and to the Empeewo clan dispuntants in the case.

  1. Now I write and confirm that Kibaale is the Head of all Mpeewo clan.

  1. Also Kibaale has got undisputed powers to bring all heirs of his clan before the Kabaka and Lukiiko for confirmation or his representative appointed by him.

  1. Any heirs who will not be brought by Kibaale or in his absence by his representative before the Kabaka will not be confirmed according to the Baganda custom.

  1. Whoever wants to challenge the Kibaale as to his Headship of the Mpeewo clan can do so on the understanding that the present case is finally settled and that no retrial will take place.

Sgined


     Daudi Chwa II
KABAKA WA BUGANDA

Okuvuunula kw’ensala eyo mu bufunze:-

Ensala Kabaka Daudi Chwa II gyeyawandiikira Olukiiko e Mmengo ku nsonga z’Obukulu bw’ekika ky’Empeewo.

Olw’okubanga omusango guno gubadde gulindiridde kigambo kyange eri Omulamuzi omukulu owe Entebe, bino by’ebikulu byendabye;

1.    Oluvannyuma lw’okkwogeranyamu n’Omulamuzi omukulu nga 19.10.19, namuwandikira ebbaluwa nga 23.10.19, ate naye n’aziramu nga 26.10.19, nsazeewo mbawandiikire mwe Aboolukiiko n’Abeempeewo abawozanganya mu musango guno.

2.    Mu kiseera kino mpandiika era nenkakasa nti Omukulu w’ekika ky’Empeewo kyonna ye Kibaale.

3.    Mu ngeri y’emu, Kibaale (oba omubaka we ye kennyini gweyerondedde) yalina obuyinza bwonna obwanjula abasika abasibuka mu kika kye eri Olukiiko ne Kabaka.

4.    Abasika bonna Abeempeewo abanaaletebwa nga tebareteddwa Kibaale oba omubaka we gw’asiimye tebajjanga kukakasibwa okusinziira ku buwangwa bw’Abaganda.

5.    Oyo yenna ayagala okuwakanya Obukulu n’Obujajja bwa Kibaale mu kika ky’Empeewo waddembe lye, naye nga alina okukimanya nti mu mbeera nga bweri wano mu kiseera kino omusango gukomerezeddwa era tejja kuba kujjulirwa kuwlirizibwa.

Katikkiro Sir Apollo Kaggwa olwafuna ensala eyo, naye n’awandiikira Omutaka Zakayo Nadduli – Kibaale nga amuweereza omubaka okumukakasa mu bukulu bwe nga Omukulu w’ekika ky’Empeewo kyonna.


OLUKIIKO LW’E MMENGO OLWA KABAKA WE BUGANDA

September 19,1919.

Omwami Zakayo Nadduli – Kibaale
Omukulu w’ekika ky’Empeewo
Kakano nkuwandiikidde nga maze okulaba ebbaluwa
Ya Kabaka ekakasa mu bukulu bw’ekika
Ky’Empeewo kyonna.
Era nkuweereza gy’oli Yozefu Muwanguzi ye Mubaka
w’Olukiiko aze okukunyweza mu bukulu bw’ekika
kyonna eky’Empeewo.

Apollo Kaggwa
Katikkiro – Omukulu w’Olukiiko.
Weetegereze kino: Mu nsala eno eya 1919, Kabaka
Akyinogaanya bunogaanyi eri Katikkiro n’Olukiiko
N’ebigambo ebyenkomeredde okuva mu byeri azudde mu ngeri eyiye, era n’akyiggumiza nti, Kibaale ye mukulu w’ekika ky’Empeewo, era y’alina obuvunaanyizibwa okuleeta abasika bonna mu kika ky’Empeewo okubaanjulira Kabaka.

Kino bwekyali okuva edda n’edda era n’olumbe lwa Basiiga jjajja wa Siira Nkakya Kibuuka Kiggye yali Lukka Ssekamwa Kibaale eyalugereka!

Ab’e Bubiro baakola ki nga Kabaka ayongedde okutangaaza ku bukulu bw’ekika?
Eyo y’empalana kakkuzi ekyalanda na buli kati!

Eria Sekamwa ne Siira Kibuuka Nkakya Kiggye kino kyabakuba wala ddala, ate nga tebaali beetegefu kudda nnyuma ng’eng’ombo bweyali mu budde obwo! Wabula baajulira mu kkooti enkulu ew’Omululamuzi w’ettwale – Entebe! Ebbaluwa yennyini abawaabi kwebaajulira sigirinako kyeeyubulo (copy), naye ebaaluwa eyava mu b’ekika ky’Empeewo Abaamasiga nga baatuulanga Bulyankolo mu mbuga y’Oweesiga Kalyankolo Bedenego Lubuulwa gyebawandiikira Ssekabaka Daudi Chwa II yo weeri ey’olunaku 21.09.1921, era nga Omulamuzi (Chief Justice), Omukungu eyakola ku nsonga za Buganda (Provincial Commissioner – Buganda) bonna baaweebwako copy. Ebyali mu bbaluwa eno bye bimu ku bigambo byonna nga Zakayo bweyali abirambika okuva ku Kayimbye – obutega jjajjawe okutuuka ku ye Zakayo Nadduli n’ebikolebwa abeempeewo mu Lubiri n’engeri gyebaatutumuka ennyo ku Lubuulwa Kayimbye-obutega ow’e Kitinkokola ne Luttisi eyasooka okwongerwako erya Kibaale nga bwayabiwoza mu 1913-5.

Okwanukula kwa Ssabasajja Kabaka mu 1921
Tewali bujulizi nti yabaddamu mu kiseera ekyo anti nebyali batangaaza tebyali bipya, wabula bo abaajulira obubaka bwabwe bwatuuka ku Mulamuzi w’ettwale (Chief Justice), era mu kujulira kwabwe baatobekamu n’ebyobubbi bw’ettaka lyabwe awaali watudde jjajjabwe Kkungu eyafuuka enjjinja nga mu kiseera ekyo waali ku mailo 8 eza Z. Nadduli Kibaale.

Bino birambikiddwa bulungi mu bbaluwa okuva ewa Z. Nadduli Kibaale eri Ssabasajja eya 27.04.1921. Mu bbaluwa eno tukiraba nti Chief Justice yamuyita, era awamu n’eyali amuvunaana Eria Ssekamwa Lubinga, era naye n’abazaayo mu Lukiiko e Mmengo gyebeewuuba emirundi ebiri! Tulaba nga Zakayo Nadduli yali yeemulugunya mu kulaba kwe nga bwetaali mpisa yansi abantu ababiri bokka abali mu mpaka z’ekika kyonna okuyitibwanga so nga kyali kyetagisa abamasiga n’abantu abakulu okubaawo. Kale Eria Sekamwa yali afuukidde Zakayo Nadduli ekyambika!
Kiki ey’enkomeredde Kabaka kyeyasalawo ku kika ky’Empeewo mu 1923?
Bino nabyo bibadde bikisibwa nnyo abawabuzi ba Kabaka naddala abaali ku Muteesa II n’abali ku Ssabasajja Kabaka ono omwagalwa waffe!

Bino by’ebigambo bya Kabaka (Daudi Chwa II) mu mukono gwe eri Chief Justice – Entebbe:-


Ssebo Owekitiibwa Omulamuzi,
Nkutegeeza nti ekiragiro kyo kimaze okutuukirizibwa,
Era abamasiga 7 balonze nadduli Kibaale okuba
Omukulu waabwe. Wabula essiga lya Kiggye
lyerigaanyi okutabagana. Naye ng’empisa y’ebika mu Buganda bw’eri, abamasiga abasiinga obungi bwebalonda omukulu waabwe baleetera Kabaka, ye n’akakasa bukakasa. Abamasiga 7 abo bazze bennyini nembalaba bonna nebatuula mu maaso gange nga bwebalonze Nadduli okuba omukulu waabwe.

Obukulu n’Obwakibaale Kabaka Mwanga ye yabuwa Nadduli. Kaleno bwekyali kireeteddwa gyendi oluberyeberye kino tekyasoboka kuntegezebwa, naye nkivumbudde mu nnaku zino nga yakakasibwa Kabaka Mwanga. Naye singa nakimanyirawo oluberyeberye mu musango sandikkiriza kuguwulira olw’okuba nga Kabaka Mwanga yali amaze okukakasa Kibaale Nadduli (Kyeyazuula kyali nti nga 5.07.1887 Zakayo Nadduli lweyakakasibwa mu bwa Kibaale nga Kabaka Mwanga II ye yakikola, era nga ne Stanslaus Mugwanya yali akimannyidde ddala bulungi kubanga ye yali abakulembedde mu lutabaalo lwa Manyweema,. Amazima ngo Mugwanya yagasirikira munsala ya 1915, kubanga omusango gwali ku nsibuko so sis ku bukulu bwa kika!).

Weetegereze kino:
1.    Mu kitabo ‘Chavaller Stanslaus Mugwanya’. Ekya Joseph S. Kasirye ku muko 62 akatundu 4 (page 6 paragraph 4):-
‘…….Mugwanya olutabaalo (lw’e Manyweema) yaluwoza mu maaso ga Kabaka (Mwanga II) nga 5.07.1897. kabaka n’agabirawo n’Obwami kw’olwo. Yakobo Lule Musajjalumbwa eyali Kibaale n’aba Kaggo, Paulo Bakunga eyali Kaggo n’afuuka Mukwenda, Zakayo Nadduli n’aba Kibaale …………..

2.    Tukikakasiiriza wano nti Amasiga amatongole mu kika ky’Empeewo mu 1923 gaali 8, era abantu abo beebaatukira Ssekabaka Sir Edward Muteesa II mu 1943 nga bakulembeddwa Omutaka Temutewo Bwaddene Kalyankolo okumutangaaza kyokka ku masiga agaali gamwanjuliddwa 24 agaalonda Amos M. Senkaali ku bwa Kibaale kyokka n’akyiwewa!

Kabaka (Daudi Chwa II) bweyamala okusalawo eky’enkomeredde ku bukulu bw’ekika ky’Empeewo byaggwa mirembe?

Nedda! Kitalo nnyo! Newankubadde gwali gutyo, Siira Sekamwa yadduumira basajjabe Eria Sekamwa Lubinga ne Serwano Lubowa okweyongerayo, era baasigala bakakanyavu nno mu mitima, era nebatuuka n’okugaanira ddala okuwa omutaka Zakayo Nadduli Kibaale ekitiibwa kye ng’omukulu w’ekika ky’Empeewo!

Beerayirira kufa n’obutanyagwa bwebatagenda kukkiriza Z. kibale muzzukulu wa Kayimbye-obutega gwebatali bujjajja bwe bumu nga bwebakiraga mu buwanguzi bwabwe mu 1915, era bwebatyo nebawandiikira Governor ebbaluwa No. 1072/40 ne No. 1072/41 ku lunaku 25.06.1925.

Chief Secretary Akaayukira ab’e Bubiro olw’okunyooma n’okunjoloonga ekiragiro kya Kabaka w’e Buganda

Ogunywanga negukuteeka, nayeno Eria Ssekamwa Lubinga ne munne abaajulira waggulu ebyavayo tebyali birungi n’akatono! Chief Secretary ensonga yazongerayo okutuuka owa Governor, era ekigambo ekyenkomeredde ku nsonga y’ekika ky’Empeewo nekiyisibwa nga tekiganya wa kika Mpeewo yenna kuddamu kwesulumbiza ku kitebe kya bafuzi b’ettwale n’ewa Kabaka w’e Buganda ku nsonga y’emu. Ekyo ky’Ekiragira Memorandum 6139 ey’olunaku 22.07.1925!

Ebikulu mu Memorandum No. 6139; 22nd June 1925

Ø  Okusinziira ku Kabaka (Daudi Chwa II). Kibaale ye Mukulu w’ekika ky’Empeeewo kyonna kubanga ku masiga 8 agakila ekika 7 gaayongera kukakasa Kibaale Zakayo Nadduli,

Ø  Ekya Kibaale nebyakola mu Lubiri ng’Omusigire, tewali n’omu alina buyinza kukyawukanako oba okukiddamu nate.

Ø  Yategeeza Kabaka nti emputu y’abo abaali baajulira nate (Eria Sekamwa ne Serwano Lubowa) teyakoma ku kunyooma Kabaka waabwe yekka wabula eweebuula ekitiibwa ky’eggwanga Buganda awamu n’empisa zaalyo ezisaana ezaafuula Abaganda abasukkulumu engeri gyebajjanga bakikuumamu obutiribiri nga bayitira mu kugondera abakulu ne Kabaka waabwe ng’ekitikkiro.

Ø  Governor yasiima nnyo Kabaka (Daudi Chwa II) olw’okwolesa amazima, obwegendereza n’obwenkanya ng’akolera ku magezi ag’ekikugu okutaanya ensonga y’ekika ky’Empeewo eyalanze ennyo obutava mu ddiiro.

Ekiragiro ku busika ekya 1924
Omusango gw’ekika ky’Empeewo ku mulembe gwa Ssekabaka Daudi Chwa II gwamala emyaka 12, era gwamuwa nnyo ekizo okuteekerateekera. Obuganda ebiwandiiko mu ngeri y’ebiragiro ebiyamba abakulembeze mu Buganda okuyiga okukwatamu ensonga z’ebika n’empisa y’ensi. Muno mwemwava Ekiragiro ku Busika mu Buganda ekya 1924 ekyayisibwa Kabaka ne Gavana.

Ebiraga nti ddala Memondarundum No. 6139 yaliyo

Ø  Omutaka Zakayo yasigala akola emirimu gye
egy’Obusigire n’okwanjula abasika era
ng’omukulu w’ekika ddala, era ne Siira Nkakya
n’asigala ga mutaka wa ssiga lya Kiggye e
Bubiro mu Kyaggwe.

Ø  Ssekabaka Daudi Chwa II yamulekanga mu
Lubiri e Mmengo okukuuma Obuganda
ng’ebbaluwa ezirabwako ebbiri bweziraga;
lweyali agenda mu Buddu okulaba ensi
n’okufuna ku mpewo, era nga yasulanga wa
Ppokino Alikisi Ssebbowa eya 25.08.1925, ate endala yali agenda era Buddu ku kijaguzo eky’emyaka 25 bukyanga basasedooto Abaganda bakkirizibwa mu Eklezia Katolika, era mu bbaluwa ezo zonna amusiibula nga munne Daudi Chwa Kabaka.

Ø  Ab’e Bubiro tebaddamu kuwawaabirwa olw’okukugirwa ekiragiro ekyo, naye nebatandika bujeemu eri mukulu wa kika n’okutandiikiriza okumuboolera ddala nga bwatali wa kika kyabwe eky’Empeewo nebamusaa mu kirala.

Ø  Kabaka yayingira mu bujeemu obwali butandise okukolebwa Siira Nkakya Kibuuka Kiggye ne basajja be ab’emputu (Eria Sekamwa Lubinga).

Kiggye agaanira ddala okukkiriza Kibaale ng’Omukulu w’ekika, era yeefuula Omukulu w’ekika eyeetuukira obutereevu ku Kabaka
Omutaka Siira Nkakya Kibuuka Kiggye engeri gyeyali afunye mailo emu okuli ebyalo by’abeempeewo byonna mu mu saza ly’e Kyaggwe ku mutala gw’e Bubiro yalina enkizo nnene ku bannakyaggwe abeddira empeewo. Kale yakozesa omukisa ogwo ne basajjabe okuwanga ebiragiro ku bantu bonna okutandika okwabye ennyimbe bazimuletere ye azanjule ewa Katikkiro zisobole okutuuka ku Kabaka  nga teziyitidde wa mukulu wa kika Kibaale e Kkungu mu Kyaddondo Kino kyali kitegeeza nti yali afudde Omutaka Kiggye jjajja w’ekika era Omukulu w’ekika ky’Empeewo nga akyesigamizza ku buwanguzi bweyafuna mu kusooka obwa 1915.

Kabaka abonereza Siira Nkakya Kiggye olw’obujeemu eri Kibaale n’Obwakabaka
Mu bbaluwa nnamutaayiika eri Katikkiro ku nsonga
Y’obujeemu bwa Kiggye No. 91/29 ey’olunaku 27th
May 1929 Kabaka yalambulila engeri
bw’azze akwatamu ensonga z’ekika ky’Empeewo
okufiira mu ntandikwa, era n’ensonga lwaki
yasalawo ennyimbe zonna ziyitire ewa Kibaale nga
kyava ku bataka abaamasiga mu kika ky’Empeewo
bonna okukakasa nti Kibaale ye Mukulu w’ekika.

Yalaga n’ebbaluwa eziwera zeyali aze awandiikira Omutaka Siira Kibuuka Kiggye ng’amusaba alekera awo okuleeta ennyimbe obutereevu nga bweyai atandiise.

Ebyo byonna Kabaka yalaga nti bunyoomi obw’enkukunala eri Kabaka, era n’akyifundikira nga eyali asazeewo okugoba Omutaka ku bukulu bw’essiga eryo, era n’alagira Omutaka Zakayo Nadduli Kibaale akole enteekateeka ezirondesa oweesiga ly’e Bubiro omuntu omulala.

Okugobwa kw’Omutaka Siira Matama Kibuuka Nkakya Kiggye

Kabaka Daudi Chwa II yagoba Omutaka Siira Matama Kibuuka Nkakya ku bukulu bw’essiga lya Kiggye e Bubiro era n’asibwa emyezi 6! Ani yalondebwa okuba Kiggye?

Kalagala, Kyaggwe
30th October
1929
Ya, Omukulu w’ekika ky’Empeewo
Zakayo Nadduli Kibaale
Ssebo,
1. Tukuwandiikide nga tudda mu bbaluwa yo eya 13/19/29. Gyewatuwandiikira nga otuweereza copy ye bbaluwa ya Ssabasajja H. H the Kabaka, eya No. 91/29, eya 11/10/29.

2. Ssebo ffe aboomusiga lya Kiggye e Bubiro – Kyaggwe abo mu lulyo olusibukamu abalya obwa kiggye, tulonze Kazimiri Lusonzi omwana wa Mwanzi okulya obwa Kiggye. Kubanga ye mwana wa mu lulyo oluvaamu ba Kiggye.

3. Okwongera okunnyonyola nga okuzaalibwa kwe bwekulanda okuva ku Mwanzi Kibirango azaalibwa Lubanga Nkambwe, yeyali Kiggye ku Kabaka Muteesa I Mukaabya. Ate Lubanga Nkambwe azaalibwa Mannyo, oyo yali Kiggye ku Kabaka Kamannya.

Ffe kyetuvude tukakasa nti Kazimiri Lusonzi yaba alya obukulu bw’essiga obwa Kiggye.
Ffe, Falasiko Kaguli e Toja Kyaggwe
Semu Maset, a e Kasi Kyaggwe
Bulasiyo Kinonko, e Nvugala Kyaggwe
James Kyazike, e Kibumba Kyaggwe
Yosia Wasswa Sekirevu, e Kalamba Kyaggwe

Abataka ku kasolya k’ekika ky’Empeewo baagamba ki Kabaka n’Olukiiko?

MMENGO

2nd November, 1929
Ya, Ow’ekitiibwa Katikkiro,
Mmengo
Ssebo,

Ffe abatadde emikono gyaffe wansi w’ebbaluwa eno tukuwandiikidde n’obuwombeefu nga tukutegeeza nti tumaze okuteesa ku nsonga y’okulonda Kiggye mu kifo ky’Omwami Siira Nkakya eyagobebwa.

2.Ssebo tukunganye netudamu okuteesa nga e copy ye bbaluwa ya Ssaabasajja H.H the Kabaka eya No. 91/29 eya 11/10/29, bwetulagira, naffe netukakasa omwami Kazimiri Lusonzi okuba Kiggye n’okufuga essiga erye Bubiro. Era ab’Olukiiko lw’essiga nabo balonda oyo nga ebaluwa yabwe bweri gyebawandiikira omukulu w’ekika nga 30/10/29. era tukugiwereza nga kuliko emikono gy’Abeemituba n’abo mu Lunyiriri olulya obwa Kiggye.

Ffe Ssebo abakusaamu ekitiibwa,

v  Zakaayo Kibaale omukulu w’ekika e Kkungu
v  Aberenego Kalyankolo ekyalo mwalira essiga Bulyankolo
v  Eriya Senjala ekyalo mwalira essiga Bugolombe
v  Yoweri S. Basaze Lubobi ekyalo mwalira essiga Kiryowa
v  Isaako Gombe ekyalo mwalira essiga Kiwangaazi
v  Kavubya Lurera E. B Mugambe wa mutuba e Bugambe Zinga
v  Elenesiti Senkubuge we mutuba Kitaka
Omutaka Kazimiri Lusonzi akakasibwa okuba Omutaka Kiggye Oweesiga

No D. 1027/9/30
OBWAKABAKA BWE BUGANDA
Mmengo, Lukiiko
17th September, 1930.

Oweesaza Sekiboobo.
Kyaggwe.
Copy, eri Z. Kibaale omukulu w’ekika ky’Empeewo.

Nkuwandiikide nga mpeereza gy’oli Omwami Kazimiri Lusonzi, Ssaabasajja Kabaka, gwakakasiza mu siga lya Kiggye, nga amuza mu kifor omwami Siira Kibuuka, eyali Kiggye Ssabasajja, gweyagoba mu bwa Kiggye.

Ye Siira Kibuuka, abeera mu mairo ze. Ono Ssabasajja gwawadde esiga anabeera mu kifo gyabadde.
M.L.Nsibirwa
KATIKKIRO

Kabaka Daudi Chwa II akakasa Kazimiri Lusonzi – Kiggye e Bubiro – Kyaggwe

No.984/29/30
Obwakaba bwe Buganda
                                                                                                                                       Mmengo-Lukiiko
September 8, 1930

Ya Zakayo N. Kibaale,
Omukulu w’ekika ky’Empeewo.

Nkuwandiikidde nga nkutegeeza, Ssaabasajja Kabaka, amaze okukakasa Omwami Kazimiri Lusonzi mu siga lya Kiggye, nga okulonda kw’ekika bwekuli,
M.L.Nsibirwa
Katikkiro.

Ssaabasajja Daudi Chwa II alina kyayagala okumannya!

NO” D. 830/65/29
OBWAKAKABA BWE BUGANDA
Mmengo-Lukiiko
7th November, 1929

Ya Omwami Zakayo Nadduli – Kibaale,
Omukulu w’ekika ky’Empeewo.

Nkuwandiikidde nga nkutegeeza, ndagiddwa Ssaabasajja Kabaka, nga yeetaaga okumannya ensonga eyagaana Omwami Kiggye eyagobebwa okubeera mu kuteesa nga balonda Kazimiri Lusonzi okulya obwa Kiggye.
Era yeetaaga okumannya obuzaale bwe gyyafuluma okujja okulya essiga lya kiggye. Neetaaga obimpereeze, nange ndyoke mbiweerezayo.

M.L. Nsibirwa
Katikkiro.
Weetegereze kino;
Omutaka Zakayo Nadduli Kibaale yamuddamu era n’alaga nti olulyo olwo alutegeera bulungi okuviira ddala ku Mwami Basiiga jjajja wa Siira Nkakya kubanga n’olumbe olwo lwagerekerwa kitaawe Lukka Ssekamwa Kibaale.

Biki Kabaka Daudi Chwa II byeyali okumannya ku bwa Kibaale?

No. 399/30.
OFFICE YA KABAKA,
Mmengo, BUGANDA
17th March, 1930.

Ya Kibaale (Zakayo Nadduli e Mmengo).
Kale neetaaga ompandiikire emirimu gya Kibaale n’emizizo gye gy’akola ku Kabaka. Kino nkyetaaga nnyo! Era neetaaga owandiike byonna obimalireyo ddala! Tolekaayo nakimu ne bwekiba kitono kitya, nakyo kiwandiike. Ne ndyooka ntegeerera ddala emirimu n’emizizo nga bwebyali mu biro bye Bassekaba ab’edda. Kino kikole mangu.
Daudi Chwa
KABAKA

Emirimu gy’Abeekika ky’Empeewo ku Kabaka
1.    Mu Bwakakaba bwa Buganda kimannyiddwa nti, Kabaka ye muntu akkira bonna ekitiibwa okuva edda lyonna, era addirirwa Kamalabyonna. Naye mu nonno zaffe ng’Abaganda, Kabaka tawoleza Kamalabyonna ntabaalo, wabula Omutaka Kibaale ye musigire wa Kabaka mu lubiri nga agenze mu lutabaalo, era ye Kibaale tatabaala.Omutaka Kibaale, Kabaka gwawoleza olutabaalo nga akomyewo. Omutanda bweyadda nga, yasanga Omutaka Kibaale amulinze awo ku Wankaaki w’olubiri ku ggombolola, olwo n’alyoka amuwoleza olutabaalo lwonna nga bwe lugenze. Kibaale amujjako effumu n’alimennya (okumenya omunyago). Kabaka bw’amala okuwoza olulwe, ate nga adda mu bukulu bwe nga Kabaka, olwo nga Kibaale adda ku mirimu gye emirala mu lubiri, ate nga n’abatabaazi abalala bawoleza Kabaka entabaalo zabwe. Awo Abaganda wettwajja engero enkulu bbiri zino: ‘Mpeewo kinene kyetwala, ne Kabaka atwalibwa Kibaale’, ne; ‘Kiri mulaala, Omusigire teegulira engabo’.
2.    Omutaka Kibaale ye yekka alina obukulu obw’ennono obuwozesa Kabaka nga wabaddewo muka Kabaka alina ensonga gye yeemulugunyiza ku bba. Kino bwekibadde okuviira ddala ku Ssekabaka Mutebi I eyakibawa.
3.    Omutaka Kibaale Kutawula Abakungu ba Kabaka nga babadde basoowaganye.
4.    Omutaka Kibaale yaggula Kabaka nga wabaddewo olumbe lw’omwana w’Engoma lw’ayabizza. Kino bakikola n’Omutaka Nakatanza owoolugave, naye nga Kibaale yakulembedde.
5.    Omutaka Kaayimbyobutega ye yayiggiranga Ssekabaka Kintu enkwale, anti abeekika gy’empeewo baggya ne Ssekabaka Kintu.
6.    Okulasa mujaguzo; Kibaale, Namasole, ne Mulamba(Ngabi). Kibaale ne Kabaka bebasuula kamuntu mu mujaguzo, eregebwa Kiregga ow’empologoma.
7.    Okumala abalongo e Kajjaga.
8.    Omubaka wa Kibaale yakulembera enjole ya Kabaka, nga
bwekyali ku Ssekabaka Mwanga II Y.L.Musajjaalumbwa
Kibaale eyakulembera enjole ya Ssekabaka Daudi Chwa II
yali Asoni Kitamirike ate lubuga yali Victor Nampakubi,
muwala wa Zakayo Nadduli Kibaale, ate ku Muteesa II yali Amos Ssenkaali Kibaale ne Mbazira Kelement Kaggo we Kasubi.
9.    Kabaka bweyalwalanga, nga Lubuga wa Kibaale nga yamukuuma.
10. Okuwanda abalongo, n’abaana abalala ba Kabaka ku ssanga(olubalaza) owa Wankaaki. Ente ya kyasa mwemwava nga omuzigo ogwakolanga emikolo gya Ssekabaka. Ebintu bingi Omutaka Kibaale byakola ne Kabaka bingi ebyatwekisize.
11. Omutaka Kibaale ne Kabaka bokka bebakozesa omulyango Naalongo Kagerekamu ku Lubiri n’ebirala bingi ebiri ebyekyaama wakati wa Kibaale ne Kabaka.
No. 399/31.
Office ya Kabaka.
Mmengo – Buganda
27th March, 1930.

Ya Kibaale.
Mmaze okulaba ebbaluwa eya March 20,1930 nga ontegeeza ebigambo byonna ebifa ku Bwaami bwa Kibaale, era byonna byowandiise mu bbaluwa birungi ddala era mbitegedde bulungi. Naye neetaaga ontegeeze engeri ddala nga Kibaale bweyalondebwanga nga Kibaale omulala abadde afudde oba nga avudde mubwa Kibaale.

Daudi Chwa II
Kabaka
Biki ebyaddirira nga Omutaka Zakayo Nadduli-Kibaale azaamye?
No. 399/32

OFFICE YA SSAABASAJJA KABAKA
LUBIRI – MMENGO
P.O.BOX 58, KAMPALA, UGANDA
16th AUGUST, 1932

Ya
Baana ba Sekamwa,
Mbasaba Kibaale omusigire wange. Omusika namulaba naye nga ebigambo bwebiri eby’enjawulo ennaku zino era nga engoma y’Obwakibaale bwenjagala okugirongosa erabikeko mu ngeri y’ebiro bino, ndabye nga nsaana okubera ne Kibaale amanyiko ku bya wano wendi, era abantu gwebamanyi gyebanatwalanga ekigambo nakyanjula eri Kabaka.
2. Mbasaba mulowoze nnyo ku kigambo kino kubanga kikulu nnyo era mwe bennyini batabani ba Sekamwa, era kikulu nnyo eri ekika ky’Empeewo era kikulu nnyo eri Kabaka n’Obuganda bwe.
Nze munnamwe.
Daudi Chwa,
KABAKA

Copy eri Katikkiro Mmengo
Kimannyiddwa nti oluvannyuma lw’okufuna obweralikirivu bwa Kabaka Daudi Chwa II nga bwekyeyoleka mu bbaluwa eyo, abaana ba Luka Sekamwa basalawo nebalonda munnabwe Omutaka Erisa S.Sonko, era tulaba nga abaana ba Kibaale Lukka Ssekamwa Kibaale ababiri Abasiraamu Sahibu Mukasa ne Sale Tegawoma Kibaale bajukiza Owek. Katikkiro Martin Luther Nsibirwa mu bbaluwa eya 23rd December, 1932 (Emikono gyabwe gyali mu mpandiika ya Luwalabu).
Ebbanga 1933-1939
Awo tewaaliwo ndoliito zonna mu kika ky’Empeewo era Omutaka Erisa.S.Sonko Kibaale ye yali Omukulu w’ekika ky’Empeewo kyonna newankubadde ab’ Bubiro bamu bafunangamu obuzibu ku munnabwe Siira Nkakya eyaliko Kiggye okusigala nga akyeyita Kiggye kubanga ye yali ekyapa kya mailo ky’ettaka eryo.
Obujulizi webuli obulaga ddala nti ennyimbe zonna okuva mu b’ekika ky’Empeewo bayanjalurirwanga Erisa Ssonko Kibaale eri Kabaka.

Ebyaaliwo ku nkomerero y’Omulembe gwa Ssekabaka Daudi Chwa II ku kika ky’Empeewo

Ssekabaka Daudi Chwa II yazaama
mu Museenene wa 1939, era bino
by’essimba ebyali mu kika
ky’Empeewo mu budde obwo:-

Ø  Omutaka Erisa Ssonko ye yali
Kibaale Omusigire, era Omukulu
w’ekika ky’Empeewo
ng’ebiwandiiko  by’abasika
byonna bwebiraga (1933-1941).
Ø  Ekika ky’Empeewo kyalimu amasiga 8 gokka n’olunyiriri lwa Kulubya olw’akasolya omuva abalya Obwakibaale nga lukelembera Wycliff Andrew Sekamwa Mudeka.
Ø  Essiga lya Kiggye e Bubiro mu Kyaggwe nga likulemberwa. Omutaka Kazimiri Lusonzi eyadda mu bigere bya Siira Kibuuka Nkakya eyagobwa olw’okunyooma Kabaka n’ekiragiro ekya 1919 nti Kibaale ye Mukulu w’ekika ky’Empeewo kyonna!
Erisa Ssonko agobwa ku bwakibaale olw’okuvuma olukiiko mu 1941
Obudde obwo bwali bwabwerinde nnyo nga kiva ku kufumbirwa kwa Namasole Druscilla Namaganda ne Peter Kigozi Abataka abakulu bangi baakiwakanya, naye Katikkiro n’abaami abamu bwebeebuuza ku bakadde b’ekkanisa  nebakisemba Kino kyatabula embeera Ku ludda lw’ekika ky’Empeewo Omutaka Erisa Ssonko Kibaale yakkiriziganya ne Katikkiro kuba bombi baali bantu bannaddiini.
Mu bakulu abaasemba Namasole addemu okufumbirwa mwemwali ne Erisa Ssonko Kibaale, Ham Mukasa Ssekiboobo ne Festo Manyang’enda, era n’emikolo baagiriko. Mu kuvaayo emotoka zaabwe abantu baazikuba amayinja, era Omutaka Erisa Ssonko n’avuma ab’Olukiiko olw’obutamanya nti mu Buganda Kabaka asobola okudibya akalombolombo konna!

Ab’Olukiiko e Mmengo webaava okunyiigira Erisa Ssonko, era bonna nebassa kimu agobebwe ku bwa Kibaale nga balaba tabeere Musigire mulungi mu kuwabula Kabaka. (Naye olowooza ani yakunga ab’Olukiiko nga ne Silas Mpiima Musajjalumbwa omwana wa Siira Nkakya eyaliko Kiggyen’agobwa mu 1929 yali mukiise?

Bwekityo bwekyali era Kabaka n’alonda Katikkiro omupya nga ye Samwiri Wamala eyali owesaza Ssebwana ate nga mukwano gwe. Mu 1943 nga wakayita emyaka ebiri Erisa
S. Sonko bukyanga agobwa, Kabaka Edward Mutesa II yasaba Abaami be abakulu abeddira Empeewo bamulondere Kibaale kubanga ab’e Kkungu baali beeremye nga tebalaba nsonga egobye Erisa Ssonko ku bukulu bwa kika nga ate ye mukulu eyaliwo.

Mu kiseera ekyo (1943) Omwami Silas Mpiima Musajjalumbwa eyali mukwano nnyo gwa Katikkiro Samwiri Wamala era nga baava dda u bibiina by’obwegaasi e Kyaggwe era nga yali alondeddwa okuba Omuwanika y’Enkuluze ya Kabaka, era nga y’omu ku Bakaba ab’enjawulo aba Kabaka mu lukiiko weyasinziirira n’amera. Yamera ddala nga ayagala okuwoolera eggwanga olwa ab’e Kkungu okugovya kitaawe ku bukulu bw’essiga n’okutussa emirerembe gy’okuboola bazzukulu ba Kayimbye-obutega.

Ani yalondebwa ku bwa Kibaale Omusigire, era Omukulu w’ekika ky’Empeewo nga Erisa Ssonko avuddewo?
Ebyaddawo biraga nti Omw. Amos Musoke Senkaali ye yalondebwa mu 1941, era abaamulonda nga beeyiita b’amasiga agaali gatamanyiddwa mu kika ky’Empeewo, era nga bamuyita mutabani Lubuulwa, mutabani wa Sseryazi muzzukulu wa Kiggye.

Okulondebwa kwe kwali kwamankweetu kubanga n’abaamulonda beeyiita bamasiga 24 agaali gatawuulirwangako mu kika ky’Empeewo Ekyo kyonna kyava ku bukulupya bwa Silas Mpiima Musajjalumbwa. Omuntu gwebaaleeta bamujja Kibone era nga wa Lunyiriri lwa Kulubya lwannyini omuva abalya Obwakibaale, naye ng’oluggya olwo lw’emabega ddala Gwebaaleeta baali tebasobola kumulambika buzaale bulungi nga bwekiragiddwa waggulu. Omuntu alya Obwami mu mpisa y’Abaganda tayanjulibwa mu kiboggwe atyo! Baali balina okulaga okutambula kwa Amos M. Ssenkaali okutuuka ku jjajjawe bo gwebaali bamanyi nti yalya ku ng’oma ya Kibaale ku Kabaka yenna!

Bazzukulu ba Lukka Sekamwa baakola ki nga balabye Kibaale omulala alondeddwa?

Nga bakulembeddwa oweesiga Timutewo Bbwaddene Kalyankolo n’baamasiga abalala ku gali 7 agaali gamanyiddwa baawandikira Kabaka okuyitira ewa Katikkiro ku nsonga eyo.

Byebaategeeza Kabaka tubifuna okuva mu bbaluwa ya Kabaka yennyini ng’abaddamu.

Ekisinga obukulu nti Kabaka Sir Edward Muteesa II Ensonga enkulu ez’okwekeneenya obuzaale bw’omuntu eyaweebwa eng’oma ya Kibaale yagiwewa, era eng’oma n’agisobya!


Ssekabaka Sir Edward Muteesa II awubisibwa okumenya ekiragiro No. 6139 ekya kitaawe ne Gavana ku kika ky’Empeewo

No. 567/129/K.
Office ya Ssabasajja Kabaka w’e Buganda
Mmengo – Lubiri,
25th May 1943


Ya Temitewo B. Kalyankolo ne banne.
C/o Gombolola ya Ssabawali – Kyaddondo.
Kkungu
u.f.s. Katikkiro n’Olukiiko – Mmengo
1. Nkuwandiikidde okukutegeeza nti maze okufuna ebbaluwa yammwe ey’olunaku 1st May 1943, era n’ebbaluwa endala ezaasooka nga muntegeeza nga bwemutaasiima nsala ya Lukiiko ey’empaka zammwa ku nsonga ya Kibaale.
2. Bwemaze okulaba ebigambo byonna ebifa ku mpaka zino, era n’okuva mwebyo byemwannyinyonyola nga muli mu maaso gange, nendaba ng’ensonga enkulu ezibakaayanya ze zino:-
1. Mugamba nti Erisa Sonko yagobwa mu bukyamu ku bwa Kibaale awatali nsonga.
2. Mugamba nti Ssekabaka Daudi Chwa yagumala era n’alagira n’obutaguddamu lwakubiri.
3. Mugamba nti enda eya Sekamwa y’erya Obwakibaale.
4. Mugamba nti amasiga gali 24 temugamanyi mu kika kyammwe, wabula mumanyi amasiga 8 gokka.
5. Mugamba nti ennonda ya Kibaale teyagoberera mpisa ey’edda erya
Obwakibaale.
Ensonga ezo etaano nzinyonyola bwenti:-
(a). Okuva mu kulaba kwange Erisa Sonko yaliko omusango si kubanga yali ku ludda lwa Martin Nsibirwa eyali Katikkiro mu kiseera ekyo, naye lwakuba yavuma Olukiiko, era okugobwa kwene kwakakasibwa n’oweekitiibwa Gavana.

Bwewali wano mu maaso gange ku lunaku lwa 15th May 1943 wakkiriza nti Erisa Sonko yaliko omusango era wayatula nti yasaanira ekibonerezo.

(b). Omusango guno gwa njawulotegufaanana ogwasooka. Omusango ogwasooka gwali ku nsibuko ya kika kyammwe naye guno gwa kulonda Kibaale n’olwensonga eyo ekiragiro ekyaweebwa ku musango ogwasooka obutagukomyawo lwakubiri tekikwata ku guno.*

(c). Bwewali wano mu maaso gange wagamba nti Amos Senkaali naye ava mu lunyiriri olulya Obwakibaale. Obanga kino kiri bwekityo atenga yalondebwa abantu ab’ekika kyammwe abasinga obungi era ne Kabaka n’amala okumukakasa siraba nsonga ky’ova ogamba nti si mutuufu.

(d) Ekigambo ky’Amasiga 24 oba makakafu oba nedda ekyo si kiyingiddemu kubanga ekika kyekirina obuyinza okwesizaawo amasiga.

(e). Olw’okubanga mwe mwaweebwa eddembe okulonda Kibaale naye nemulemererwa Olukiiko kyerwava lusiimako omuntu eyalondebwa abantu abangi.

Olw’okubanga Senkaali ava mu lunyiriri olulya Obwakibaale atenga yalondebwa abantu abasinga obungi era n’akakasibwa ne Kabaka kizibu okumujjako Obwakibaale.

Amos Musoke Ssenkaali akulembera ekika ky’Empeewo nga ye Kibaale Omusigire, era Omukulu w’ekika okuva mu 1942 okutuuka lwebyatabuka

Mu kusooka nga yakalondebwa amasiga 24 agaagunjibwawo Kiggye okuva mu mituba gy’essiga eryo n’empya enkulu mu Kyaggwe. Omwami Amos M. Ssenkaali obuwanguzi bweyafuna okuva eri Ssekabaka Sir Edward Muteesa II nga tubusomye waggulu bwamuwaliriza okubeera omwetowaze eri Omukungu wa Ssabasajja oyo Silas Mpiima Musajjalumbwa eyali akoze ennyo ekinene okumuyisaawo. Kale mu ngeri eyo yasalawo amakanda mw’akakkaliriza eby’Obukulu bw’ekika okugassa e Kibuye awaali akabanja ka Siira Nkakya eyaliko Kiggye nga Daudi Chwa II tanamugoba mu 1929 olw’emputtu.

Kyeyasookerako mu 1944 mbu kwefuna ebbaluwa eyava ew’Omutaka Kitanda ow’akasolya k’ekika ky’Enjaza eyali ayagala bazzukulu be abe’nda ya Lule Kantinti abasibuka mu Nanziri eyatta omukago ne Nadduli Kibaale ku mulembe gwa Ssekabaka Ssemakookiro! Mu buli ngeri naye yasooka n’abuguumirira kubanga aboogerwako be baali baagala okumusuuza eng’oma y’Obwakibaale!

Ekikolwa kino kyali kisukka obugwi bw’eddalu, naye nga byonna abijweteka teyali mulala wabula enda ya Siira Kibuuka Nkakya ne munywanyi we Eria Ssekamwa Lubinga abaali baakakkanyizibwa Ssekabaka Daudi Chwa II ku kiragiro Memorandum No. 6139 ekya 1925 n’okugobwa kwa Siira Nkakya ku bwa Kiggye mu 1929!

Mu kiseera ekyo badyekadyeka Omwami Amos M. Ssenkaali Kibaale nti ye abeera Musiige eri Kabaka asiigibwayo Jjaajjawe Omutaka Kiggye, n’alyoka afuuka Omusigire wa Kabaka! Ekyo butereevu kyali kikyamu naye olw’engeri eya mankwetu Amos Ssenkaali gyeyalondwamu ng’ate tamanyi kikolebwa tanenyezebwa.

Oluvanyuma lw’okuwabulwa Amos Musoke Ssenkaali Kibaale yakyusa embuga ye okuva ewa Kiggye eyali atandise okubuzabuza n’adda e Nateete mu Kyaddondo ng’ebbaluwa zonna ez’obuddee 1943 – 1966 zetwakalabako bweziraga mu kwanjula enyimbe n’obusika obwaliko mailo.

Ebya Amos M. Ssenkaali okuboola ab’enda ya Kantinti Kibaale ng’ayitidde mu b’Enjaza tebyalanda nnyo mu budde obwo, era yabyeenenyeza ddala!

Ab’e Kkungu bagondera Kabaka era bakkiriza Amos M. Ssenkaali Kibaale
Embeera mu kika ky’Empeewo 1943 – 1960


Omutaka Amos Senkaali Kibaale yafuna obuvumu ng’ayambibwako bazzukulu ba Lukka Ssekamwa Kibaale bennyini. Enda eyo eya Sekamwa baakwata ensonga y’obuboorebwa mu ngeri ya kikungu ddala kuba baali bayivu ddala ate nga baana ba bannaddiini ddala omuli ne Canon Nathanel Ssesanda Mudeka (yagalamizibwa ku Namirembe Cathedera!). Mu lutabaalo luno baalagira ddala enjawulo wakati w’obuyivu n’obugunjufu obuli mu bantu abeempeewo e Kkungu ewa Kibaale aba Kiggye e Bubiro.

Mu kiseera kino ekkonda ly’okuboola ab’e Kkungu nga likulemberwa Silas Mpiima Musajjalumbwa eyali afunye ku ddoboozi eri Ssabataka lyeyubulira ddala, era nekyeraga lwatu nti yali amaliridde okutuukiriza ekyalema kitaawe Siira Nkakya Kibuuka eyaliko Kiggye.

Muddu awulira y’atabaaza engule ya Mukamaawe, era bwebatyo bazzukulu ba Kayimbye – obutega yaabondera Ssabataka nebakkiriza Amos M. Ssenkaali nga Kibaale, era ennyimbe zonna ezaaliwo mu budde obwo mu Lunyiriri lwa Kulubya  nga kuliko omukono gwa Wycliff Mudeka eyakolanga ne Zakayo Nadduli Kibaale nga baziyisa wuwe. Laba ebbaluwa z’ennaku 11.02.1958 ne 6.05.1958.

Kinajjukirwa nti obuzaale bwa Amos Musoke Ssenkaali obutuufu buli mu Lunyiriri lwa Kulubya e Buyozi – Kkungu – Kyaddondo mu mbuga ddala eya jjajjaawe Kibaale, era eyo gyebaamusa mbu mu ssige lyea Sseryazi e Bbula – Kkungu – Kyaddondo byabwewussa!

Obuwandiika bungi ddala naffe obuyambye okulambika ekitabo kino bwanonyezebwa Wycliff A, Mudeka wakati 1953-1960 ng’ayagala okumanya engeri Ssekabaka Daudi Chwa II ne Gavana gyebaasalamu omusango ku bukulu bw’ekika ky’Empeewo mu 1925 (Memorandum No. 6139).

Ekiwandiiko Rev. P. Kakooza ky’ajuliza Ssabataka mu1992 nga kya 26.01.1960
Kino sinafuna mukisa kukisomako, naye Rev. Polycarp Kakooza eyali Ssentebe w’Akakiiko akasookerwako kunsonga z’ebika nga tebinagenda wa kkooti eyali eteereddwa okutaawuliza empaka mu busika mu bika atulaga ku nyiigo 4 nti:-

Ensonga z’obukulu bw’ekika ky’Empeewo zeeyongera okuyingirwamu Ssekabaka Muteesa II eyalangirira mu KIWANDIIKO ekya 26/1/1960 nti KIGGYE ye mukulu w’ekika ky’Epeewo nga KIBAALE MUSIIGE WA KIGGYE eri KABAKA”.

Ekyo nkiyita kuwubisa bakulu ddala! Kimanyiddwa nti empaka zonna okuva mu 1913 zaggweera ku kiragiro Memorandum 6139 ekya 1925, era ng’omuweereza w’Obwakabaka bw’e Buganda yenna omwesimbu ky’alina okunoonya amazima gaakyo g’akisima n’okugya kwaakyo.

Ebyo nkiyita kuwubisa bakulu ddala! Kimanyiddwa nti empaka zonna okuva mu 1913 zaggweera ku kiragiro Memorandum 6139 ekya 1925, era ng’omuweereza w’Obwakabaka bw’e Buganda yenna omwesimbu ky’alina okunoonya amazima gaakyo g’akisima n’okuggya kwaakyo.

Ebyo ebinokoddwawo Rev. P. Kakooza kisaana kimanyibwe nti yali katundu ku nnyiigo y’ekitabo ekyawandiikibwa mu 1945 abaawangulwa mu mpaka z’ekika bo bennyini zebatandika mu 1913, era ng’ekyokwebuuza kiri nti, Lwaki baakandirira bwebatyo okuva mu 1915 nga bawangudde, ate nebawandiika mu 1945 nga n’abaali mu mpaka bonna bafudde baweddewo, era n’ekitabo n’ekyijula byali mu musango nga tebalambika buzaaliranwa bwa kika nga Zakayo bweyakola mu kitabo ky’ekika ky’Empeewo ekya 1901?

Bwekiba ng’ekyo Ssabataka kweyasinziirira okukakasa Paul Dan Mbazzi ku bukulu bw’ekika ky’Empeewo kyonna nga bwekirabika mu bbaluwa ya Ssebataka eya 2nd December 1992, eri Ssentebe wa Court ewozesa emisango g’Ebika, abaddu be bamuwubisa. Era mbeera kubanga nze muwa amagezi nandimusabye abyite buto, era nebwebaba baafa wakiri abaabasikira bayitibwe bawoze ku lwa bakitaabwe babitebye kuba kyali kibaddewo mu Byafaayo by’ekika ky’Empeewo ku Ssekabaka w’e Wamala.

Bassekabaka ba Buganda abamannyiddwa nti betanira nnyo okumanyi amazima baali ow’e Kasubi nee Daudi Chwa II. Sir Apollo Kaggwa ye yawandiika nti Mukaabya bweyakizuulanga nti omulimbye ng’eyiyo bavunika. Ate Daudi Chwa II nze muwandiise lwakuba bwensoma engeri gyeyakwatamu omusango gw’obukulu bw’essiga lya Kagolo mu 1931 mu kika ky’Olugave yali naambulukufu nnyo.

Ekika ky’Empeewo mu biseera bya Sir Edward Muteesa II ebyasembayo
Ekika kyali kulemberwa Omutaka Amos Musoke Ssenkaali Kibaale nga ye Musigire wa Kabaka, era Omukulu w’ekika ky’Empeewo kyonna.

Olw’okuba waaliwo olutabaalo olwakolezebwa Omukungu wa Kabaka nga ye Silas Mpiima Musajjalumbwa olwali tutanaba kugguka, ate ng’alaba ne Amos Senkaali anywedde olw’amaanyi agava mu mbuga e Kkungu, olwalondebwa ku busika bwa kitaawe mu 1954 n’awaga!

Ebiwandiiko bya mutabani we biraga nti yasikira kitaawe Siira Nkakya Kibuuka Matama eyali Kiggye nga 13.09.1954, era bweyamala ‘abamasiga’ ga Kiggye nebamulonda okuba Kiggye, era n’akola n’emikolo nga bwegibeera. Wano baamenya akalombolombo akakadde, ate nebateekawo akapya nga bwebagamba.

Okulondebwa kwe kwawakanyizibwa George Mukasa Mpiima n’abalala, era nga baamuvunaana nga 21st August 1961 ogweyita Kiggye (kuba Kiggye yali amanyiddwa nti Kazimiri Lusonzi eyalondebwa mu 1929 okudda mu kya Siira Nkakya), era n’okweyita Jjajja w’ekika ky’Epeewo, ate ng’ekituufu jjajja w’ekika ye Katimbye-obutega! Tebyakka mirembe kubanga n’abo abayitibwa abamasiga ga Kiggye abalala beeyunga ku Omwami Silas Mpiima Musajjalumbwa (ndowooza olw’ebibanja byabwe okubeera ku mailo eyali efuuse eyiye mu busika), era nebawandiikira Katikkiro M. Kintu nga 4th Nov 1961! Mu bbaluwa eyo mu katundu akasembayo balaga nti aba Kiggye beewaggula nebafuna obujajja obwabwe obutali bwa Kayimbye-obutega (Ebbaluwa y’Abamasiga ga Kiggye bano Kkooti ya Kisekwa egirinako copy ku musango NO. KD, 02/99)

Okwewoza kw’omuwawaabirwa kuli mu bbaluwa ye eri Owekittibwa Katikkiro Maichael Kintu eya 25th January 1962, era nga mu nyiigo 5 ayogera ku nsala ya Ssabataka gy’ataaawereza copy! (Okwewozako kuno Kkooti ya Kisekwa egirinako copy ku musango No. KD, 02/99)

Mu kuwumbawumba, ebbanga 13.09.1954 – 25.01.1962, ekika ky’Empeewo balina Omutaka Amos M. Ssenkaali Kibaale ataliiko amuwakanya nga Jjajja, era Omukulu w’ekika k’Empeewo. Ate mu kiseera ky’ekimu waliwo Omwami Silas Mpiima Musajjalumbwa eyeeyita Kiggye Jjajja w’ekika ky’Empeewo naye nga siyakyikyikirira mu Lukiiko lw’Abataka, era ng’agamba nti Ssebataka naye ye yamutongoza. Ekibuuzo: Ssabataka ataamenyawo nsala za kitaawe, era eyagaana okujja Obwakibaale ku Amos M. Ssenkaali mu 1943, ate kati nga 25.01.1960 yasala ki?

Bazzukulu ba Kibaale e Kkungu baali ku ki mu budde obwo 1960-1966
Olunyiriri lwa Kulubya (nga bakulemberwa Wycliff Ssekamwa) lwasigala luwulize eri Omutaka Amos M. Ssenkaali, era nebagezaako okumunoonyeza ebiwandiiko ebitongole okuva ewa Chief Secretary ategeerere ddala obukulu bweyali ayambadde webunywerera mu mateeka ng’Obwakabaka bwa Buganda n’Abafuzi b’ettwale.

W.K.S Mudeeka,
P.O.BOX 544,
KAMPALA
26th April, 1960.

The Honourable Chief Secretary,
Entebbe
Dear Sir,
Your ref. No. 6139 dated 22nd July, 1925

I am interested in the decision of his Excellency the governor referred to above. This was a decision in an inter-clan dispute as to the headship of the Mpeewo clan.

There is a fresh disput on simial line and as this decisison would be of great help to members of the clan in reaching a decision. I shall be most grateful if you would favour me with a copy thereof. I undertake to pay the necessary fees if any.

I am  Sir,
Your obedient servant,
(W.S.K. MUDEEKA, Esq)

Okufunza Wycliff Mudeeka ky’asaba;
Ayagala kumannya Governor ky’eyasalawo mu mwaaka gwa 1925 ekyali kiraga ekirowoozo kye ku kuwozanganya wakati w’Abataka mu kika ky’Empeewo. Awa ensonga nti, kirabika okusika omuguwa ku nsonga y’emu kukomezeddwawo, era nga akiraga nti, ekyasalibwawo ku luli kyandiyamba okulaga abakayana ekkubo.

Wycliff Sekamwa Mudeka addibwamu

S.M.P No. 6139
Chief Secretary’s Office
P.O.Box 5 Entebe-Uganda.
7th May 1960.
Sir,
I have the honour to refer to your letter dated April 26, 1960 requesting a copy of Memoreandum No. 6139 dated July 22, 1925 from this office to the Provincial Commissioner Buganda then, and to advise that you should contact the Resident Buganda direct, who will advise and assist you in this matter as may consider desirable and fit.


Okufunza ekyandibwamu Wycliff Sekamwa Mudeka.

Omungereza ono gweyawandiikira amuwa amagezi ensonga ye akyokereze eyateekebwa okukwasizako Abagereza ku nsonga za Buganda (Resident Buganda), kubanga mu kulaba kwe, oyo ye muntu omuntu asobola okusalawo kyalaba ekisaanidde.

W.K.SMudeka teyawumula era yawandikira Resident Buganda, naye temuteguwa namuwa okusalawo kwa Kabaka Daudi Chwa II okwa 1919. Era n’amutangaaza nti omusango ogwo gwegwavaako Governor ne Kabaka Daudi Chwa II okubaga Endagaano y’emisango gy’Ebika by’Abaganda eya 1924 – The Uganda Agreement (clan cases) 1924.

Ekika ky’Empeewo lwekyayawulwamu mu butongole
Owek. Katikkiro wa Buganda Micheal Kintu nga bakava ku Meefuga mwebaasobola okumegga Ben Kiwanuka ne DP yonna yali yakatuula mu Office ye, ensonga y’abazukulu ba Kayimbye-obutega n’ekomawo, era nga ku luno baali baagala busigire bwabwe n’Obukulu bw’ekika kubanga baali balabye nti Amos M. Senkaali takyabiyinza olw’amaanyi amangi agaali gava ku Mukungu  wa Ssabasajja Omwanika w’Enkuluze, era Omubaka wa Kabaka mu Lukiiko lw’e Mmengo Silas Mpiima Musajjalumbwa eyali atandiikiriza okweyita jjajja era Omukulu w’ekika, ate nga bo baali bamukkiriza ng’oweesiga lya Kiggye e Bubiro.

Katikkiro yawandiikira Omukungu oyo Silas Mpiima Musajjalumbwa, era kuno kwekwali okuddamu kwa Nnantagambwako oyo ku muko oguddako mu butujuvu.

Mu byonna yalaga nti mu mwaka ogwo ye yali amaze okukwasa bazzukulu ba Kayimbye-obutega bonna eri Omutaka Kitanda ow’Enjaza kubanga yali abamusabye nga jjajja waabwe kubanga baali banywanyi ba mukago era nga kyebafuula baganda baabwe okuva ku mukago wakati wa Nanziri ne Omusigire Nadduli Kibaale wa Ssekabaka Ssemakookiro.

Byonna ebiraga omukago ogwogerwako byali si bipya mu kaweefube wa ab’e Bubiro okwagala okwekutula ku b’e Kkungu, naye nga ekibalemesa baali bayimiridde ku nsonga yakujingajinga bigambo.

Ekyo kiwandiika lwa nsonga nti, empaka zino zaaliwo ebbanga ddene nnyo bwetugerageranya okuva mu mwaka gwa 1913 okutuuka ku mulembe Silas Mpiima Musajjalumbwa gw’awandiikirako mu keetaalo ka 1962. Mu mpaka zonna ezo okutuukira ddala mu 1929 Ssekabaka Daudi Chwa II lweyafuumuula Omutaka Siira Nkakya ku Bwakiggye tewaliwo buwandiike bwonna wadde ensala yonna eyalaga nti omuwawaabirwa Zakayo Nadduli Kibaale yali wa kika kirala; kubanga eyo yandibabadde nsonga erimu eggumba, era eyali teyiinzibwa kubuuka liiso lya Kabaka n’erya Gavana Kaleno ekyo amazima eky’OBUBOOLA abantu be Kkungu ab’enda ya Nanziri lyali kkubo lya Kiggye kwetengerera nga bweyali akyagala kuva dda. Nanziri teyagwa Nama nga bwebabijweteka!

Ate wootegeerera nti byali bintu bigunje kyakuba nti ababoola tebasobola kulambika buzaale bwa Nanziri ayogerwako bulungi. Bagamba mbu Nanziri yali mwana Kaweke ow’enjaza, era nga Kaweke oyo y’azaala Lule Kantinti Kibaale ekintu ekitali kituufu n’akatono. Kaweke ayogerwako teyaleka mwana ku nsi, ate era Kaweke oyo ye mwana bwana owa Nanziri e Kitinkokola mu Ssingo.






Office y’omutaka Kiggye.
Omukulu w’ekika ky’Empeewo
Kibuye Kyaddondo
9th November 1962

Oweekitiibwa Katikkiro n’Olukiiko,
Mmengo – Buganda
Oweekitiibwa,

Bwenali musaango nga 7th September 1962 wandagira nkunyonyole ku nsonga z’abazzukulu ba Kayimbye-obutega ze baleeta gyoli nga balina obweralikirivu eri nze Kiggye Omukulu w’ekika ky’Empeewo ne Kibaale omusiige wange eri Kabaka gwawa obusigire bwe mu Lubiri.

Oweekitiibwa ensonga ezo zombi zamaladda okusalibwa Ssaabataka. Laba mu bbaluwa ya Ssaabataka Kabaka gyeyakuwandiikira eya No. 44/C/III, ey’olunaku 23rd March 1960. Mu kitundu eky’okubiri ne ekyokusatu ebigamba biti:  - “Kirungi bano obayite obategeeze nti: Obukulu bw’ekika era n’Obujajja, namala okubusala, Kiggye ye jajja era ye mukulu wekiika ky’Empeewo.” Gyewamperezako copy yayo.

Ate laba bbaluwa ya Ssaabataka Kabaka eya No. 44/C/III, ey’olunaku 27th March 1961. Mu kitundu ekyokubiri, ekigamba nti,” ensonga z’obukulu bw’ekika ky’Empeewo nazimala dda era nga ne Kibaale gwebansigira akyaliwo sinaba kusaba mulala.”

Era wetegeereze ensala ya Ssabataka Kabaka eya 15th February 1915 neya 25th May 1943 ku nonda ya Kibaale Amos M. Senkaali.

Era wetegeereze n’ensala ya Ssaabataka ku by’Obusiige n’Obujajja eya No. 44/C/III eyo lunaku olwa 26th January 1960. Copies z’ensala z’emisango egyo janjuliddeko ziizo nzikuweereza, zombie eya 25th May 1945 neya 26th January 1960 mweyagattira ensala zonna.

Ensala za Ssaabataka ezo zendaze waggulu tetwawukana nazo era zetunywerereko ddala.

Eky’enkomerero, Owekittibwa, nsaba n’obuwombeefu okukakasa nti bazzukulu ba Kayimbye – obutega- nokutegulula namala dda okubakwasa jajjaabwe oyo ayogadwako waggulu nga 29th September 1962; n’olwekyo byonna ebibakwatako mu ngeri y’ekika bateekwa kubikolagana ne jajjaa bwe oyo Kayimbye – obutega – nokutegulula.





Nze Ssebo
Akusaamu ekitiibwa
S.M. Musajjaalumbwa
Kiggye.
Omukulu w’ekika ky’Empeewo.




Weetegereze kino: Mu keetalo ka Bannayuganda
Okufuna Amefuga mu 1962 nga bw’okyiraba mu
Kifaananyi wansi, ye Silas Mpiima Musajjalumbwa
Akulaga nti Ssekabaka Sir Edward Muteesa II mu
Budde bwennyini obw’emikolo mbu bweyasalirawo
Nga ye Kiggye bwali jjajja, era Omukulu w’ekika
Ky’Empeewo!

Ebiseera bino byali bya bwerinde nnyo
Olw’empalana kakkuzi abavubuka ba KY gyebaali
baguddewo ku bawagizi bonna aba DP mu
kunoonya obululu. Eby’okulonda kwonna Kabaka
yabirimu  ng’ayitira mu babaka be 6 ab’Olukiiko e
mmengo, era nga ne Silas yali omu ku bo. Awo
weyasinziira ndowooza okwagala okuwudisa buli omu

Ani alina ensala ya ssekabaka Sir Edward Muteesa II eya 1962

Bazzukulu ba Lukka Ssekamwa Kibaale kyebajja ewa
Chief Secretary nga 7th May 1960 tubiteggedde nti
byonna byetoloredde ku Memorandum No. 6139 eya
1925, era ng kimanyidwa bulungi nti siira Nkakya
Kibuuka Matama yali yagobwa ku bukulu bw’essiga lya
Kiggye   neriweebwa Kazimiri Lusonzi mu 1929. 
Tubadde tukyalowooza ku nsala ekwanjuliddwa
Omwami Silas Mpiima Musajjalumbwa eya 25.10.1962,
Ate netulaba nti n’obukulu bweyali yeeyimirizaamu
Okuboola enda Luuka Ssekamwa Kibaale tebwali
Bubwe mu kiseera ekyo , era nebwebandibadde obubwe
bwali tebulina buzito kuboola mutaka w’akasolya kubanga  kiggye mutaka wa ssiga e Bubiro mu kyaggwe, eyandibadde yetaaga abamasiga gonna 8  agamannyiddwa nga bwegalagwa Kibaale nti bebakola ekika mwebamuwoleza, so si gali 24 amajweteke omutaali ssiga na limu
ku masiga 8 Kabaka ne Gavana gebaamenya batuuke n’okuwa Memorandum
No. 6139 eya 1925.

Okwewoza kwo’omuwawaabirwa Silas Mpiima Musajjalumbwa olw’okweyita Kiggye era mbu jjajja Omukulu w’ekika ky’Empeewop era ekiwayi ky’e Kkungu n’akissa mu kika ekirala kuli mu bbaluwa ye eri Owekitiibwa Katikkiro Macheal Kintu eya 25th January 1962, era nga mu nyiigo 5 ayogera ku nsala ya Ssabataka Gy’ataaawereza copy! (Okwewozako kuno Kkooti ya Kisekwa egirinako copy ku Musango No.KD, 02/99).

Wetutuukidde wano kibeera kiraga nti ensala ya Ssabataka Edward Muteesa ll eyogerwako eya 25.01.1962 ebeera tekyalamula nga tetugoberadde kya butuufu oba bukyamu bwayo; lwa nsonga nti Owoolunyiriri lwa Kulubya ababoolebwa mwebava ajuliza ebivudde ewa Chief Secretary nga bwobigatta n’ebiri ewa Owek,katikkiro M.kintu byonna bizzeewo luvannyuma lw’ensala eyogerwako.

Ayinza okututangaaza ku kituufu ekirala ekyasalibwawo y’oyo aleeta okuddamu kwa Katikkiro M. Kintu okugoberera ebbaluwa za Silas Mpiima Musajjaluimbwa bbiri e’okwewozaako mu 1962. Ebbaluwa ezogerwako ze zino: eya 25.01.196 n’eya 9.11.1962.

Wetutuukidde wano kibeera kyeraga lwaatu nti abakulu b’e Bubiro baali basaba kwekutula ku Mpeewo y’e Kkungu eya Kibaale, era nga yali Ssekabaka Daudi Chwa II eyali abasibye bweyaddira ekika kyonna mu 1919 n’akireka wansi w’Omutaka Kibaale Zakayo Nadduli. Kale bwebaasembera ennyo ku mmeza ku Ssekabaka Sir Edward Muteesa II olwa Silas Mpiima Musajjalumbwa nebaagala okutuukiriza ebyalema Siira Nkakya ne Eria Ssekamwa Lubinga. Ekyalema S. Mugwanya okwatula kyali yali amaze okugemulira mukoddomi we obukulu bw’ekika ekirala, nekiba nti emirerembe gyonna gyatandikira awo.

Okuyitimuka n’okuddirira kw’Omutaka Danieri Nanziri Nadduli Kibaale.

Obwakabaka bwa Buganda bwebwajjibwawo n’obulala mu
1967 mu kaweefube w’eyali Ssabaminista Dr. A. M. Obote
okweddiza obuyinza ng’asuula President ya Uganda
eyasookera ddala Sir Edward Muteesa II ensi yatabanguka,
era Uganda n’eyita mu magongo ng’abamanyi Ebyafaayo
bw’obufuzi bwebayinza okubirambika obulungi.

Mu byonna Obwakabaka olw’okuba ye yali entabiro yonna
Ey’Obuwangwa n’ennono by’Abaganda omwoyo ogutafa gwasigalawo. Abaana b’abaami ba Kabaka baatirimbulwa abalala nebasibwa nga balangwa bwemage, naye ekinuusi kyali nti baalina obugagga obumala okufaamu ensimbi ezisobola okuyamba mu lutalo olumaamula gavument. Mu bano tulaba okuttibwa kwa Micheal Kawalya Kaggwa muzzukulu wa Sir Apollo Kaggwa ne bannyuganda bangi.

Mu mwoyo ogwo gwennyini tulaba ate ng’enda ya Lukka Ssekamwa esituka buto ng’erandira mu Mutaka Nadduli Kibaale e Bbunga bweyayitimuka ennyo olw’eddimu eddene lyeyakola mu kuzzaawo Obwakabaka n’okusaba Ebyaffe okuva eri Gavumenti ya wakati ekulemberwa His Excellence Yoweri Kaguta Museveni.

Abantu bangi baali bafuddeyo okulaga nti baagala kulwanirira bwa Kabaka, naye byonna ebibiina ebyafaayo ekibiina ky’Abataka Abakulu b’Ebika by’Abaganda Ab’obusolya kyekyabakira. Ekibiina ekyo kyekolamu omulimu nga bamaze okufuna amawulire g’okudda kw’Omulangira Ssabataka Ronald Muwenda Mutebi II mu 1985, era buli mukulu wa kika n’asowokayo gye yali yeekukuma nebakungaanira ku somero erimu erimu e Mmengo, era nebeerondamu akakiiko akabakulembeze.

Ekika ky’Empeewo kyali mu kiseera ekyo kirimu ebiwayi bibiri nga bwetwalabye gyebaggwera mu 1960, era ng’abaali abakulembeze b’ebiwayi ebyo bombi baafa dda. Ab’e Bubiro baalinanga Silas Mpiima Musajjalumbwa Kiggye, ate b’e Kkungu baalinanga Amos Senkaali Kibaale, eyakoma okulabika mu kukulembera enjole ya Ssekabaka Sir Edward Muteesa II mu 1971 ne munne Ssalongo Kantinti eyali Kaggo w’e Kasubi.

Mu kulonda kuno ab’e Kkungu baalina Danier Nanziri omwana ddala owa Zakayo Nadduli Kibaale, era nga ye yali akyaliwo mu budde obwo, ate ab’e Bubiro nga tebalina muntu yali yeesowoddeyo kulaga nti ye yalondebwa abeeyo! Abataka bwebatuuka mu kulonda Danieri Nanziri neeyowolayo nga Kibaale Omukulu w’ekika ky’Empeewo y’e Kkungu eya Kayimbye-obutega munne wa Ssekabaka Kintu, buli omu yakkiriza bukkiriza, era n’alondebwa okumyuka Omutaka Grace Semakulu Ndugwa Omukulu w’ekika ky’Olugave. Abalala abaalondebwa mwalimu Hajji Kateregga Namuguzi ow’empologoma ne Nakigoye Rev. Gwayambadde ow’ekinyomo, era eyali amannyidde ddala obulungi nti Empeewo y’e Bubiro gy’eri era neyasikira Silas Mpiima Musajjalumbwa yali amumanyi kubanga n’okwabye olumbe yaliyo!

Okuva olwo Omutaka Nadduli Kibaale yabakana n’egy’embuga g’alambuza Ssabataka Obuganda bwonna awatali buyambi bwa nsimbi bubaweereddwa, era omulim n’agukolera ddala bulungi ne Ssabataka n’amusiima ng’amulonda okubeera omu ku bakiise abe enkalakkalira ku lukiiko lwe olwa Ssabataka Supreeme Committee mu 1991.

Olw’okubanga baanoonya ensonga eyinza okulaga Gavument nti Obwakabaka tebulina bulabe eri bya kwerinda kwa ggwanga baasokera ku kya Mupiira gwa Bika, era wadde byabeetolooza olwa bakungu ku kitebe gy’ebyemizannyo e Lugogo obutagulabamu kigatta bannayuganda, naye era Nadduli Kibaale ng’akulembedde banne ebyo baabiyitamu, era Omupiira negutandika ne President yennyini n’abeerawo mu mpaka z’akamaliirizo mu 1987.

Omutaka Nadduli Kibaale ajjukirwa nnyo e Buddu eyo olw’okulaangirira nti Abaganda bafunye Kabaka newankubadde teyali Katikkiro wabula nga ye Musigire w’Obuganda ng’empisa y’ensi bwemukyimukakasaako okukuuma Obuganda obulungi.

Nadduli Kibaale ng’ali ne Ssentebe w’Abataka abakulu abo baakulembera bannabwe okubatuuka ku President newankubadde waaliwo abakungu ba Gavumenti abaali bagezaako okubalemesa nga bawoza kimu nti, ebyo ebya Kabaka bituzza mabega bo baagala bya kwekukulanya. Mu bano mwe mwali ne Hon. Kibirango alina oluganda ku Silas Mpiima Musajjalumbwa eyatawaanya ennyo ensonga z’ekika ky’Empeewo ku Muteesa II, era n’ono yali afuba okulemesa ensonga eno lwakuba yali akyali mu kakuku kali ak’emabega.

Ebirowoozo by’okuwandiika obuto Ssemateeka bwebyali binonyeezebwa Akakiiko akaakulemberwa Justice Odooki, Omutaka Nadduli Kibaale yali omu ku Bantu abaali ku kakiiko akaakung’anya eby’Abaganda mu buli kanyomero. Olw’okubanga ensonga eyajjisaawo Obwakabaka mu 1967, yali nti tewaaliwo teeka libutangira kujjibwawo mu Ssemateeka Abataka bano baasalawo ensonga bazitambulize mu mateeka, era owoolugave Senior Councel J.W. Katende ne banne bwebaasoma amateeka webaasingira okubeeyungako.

Omutaka Nadduli Kibaale asinga kutitimuka nnyo mu April wa
1992 bweyayitibwa His Excellence Museveni okumuwa ebyali
bisaliddwawo Army Council e Gulu Miltary Barracks ku nsonga
y’abakulembeze ab’ennono. Wano Col. Sserwanga Lwanga
y’asinga okujjukirwa olw’okwagala okulemesa Abaganda banne
okufuna Ebyaffe ne Kabaka bweyategeeza nga nti ebifo
byonna eby’obuwangwa omwali n’olubiri lw’e Mmengo byali
byagulibwa dda Gavumenti.

Nadduli Kibaale bweyadda okuva e Gulu ate n’afuna Obubaka
nga Ssabataka bweyali amujje mu nsonga zonna ez’Obwabaka!! Ebisingawo awo biri wakati w’abakulu abo bennyini abaabilimu, naye ffe abaaliwo mu kiseera ekyo twasaalirwa nnyo okuteeka Omutaka Nadduli Kibaale ebbali. Kino kyaddiriza nnyo amaanyi ge mu mirimu gy’Obwakabaka!

Omutaka Nadduli Kibaale teyalaga busungu bwona, era ye yasalawo kusirika awatali kulumba muntu yenna. Ebyogerwa bingi ku nsonga z’Obukulu bwa Nadduli Kibaale mu kika n’ensonga lwaki Kabaka yamusuula ebbali. Wabula ye addamu kimu nti, buli bwaali Bwami mwenali nkolera emirimu gya Kabaka, ate Obwami tebubeera bwa nsikirano nga bw’olaba Bukulu bwa kika.

Ku nsong y’Obukulu bw’ekika ky’Empeewo mu Lukiiko lw’Abataka agamba nti ekyo kiri eri Kabaka kubanga ye yasalawo nga bweyakola, ate nze nga tebaampise. Oyo aliyo y’amanyi eyamulonda okumusaayo nga kitaawe tabeerangako mukulu wa kika wabula okukyeyita obweyisi. Ffe wetwali tukomye, nga mukama waffe Kibaale ye Amos Musoke Ssenkaali, era bweyafa tewaaliyo muntu mulala alowoozebwako okujjako nze eyali akuze, era eyasikira kitange mu 1932. Wenabeerera mu Lukiiko lw’Abataka nalimu nga Kibaale Omukulu w’ekika ky’Empeewo ya Buganda ey’e Kkungu eya jjajjange Kayimbye-obutega. Kati oyo aliyo eyeeyita Omukulu w’ekika ky’Empwewo asana ayongereko nti Empeewo y’e Bubiro kuba ye yeeteekawo ku Ssekabaka Sir Edward Muteesa II ng’adduka mu Lubiri, ate ffe tuve eri mabega ddala ku ntandikwa y’Obwakabaka bwe Kintu.

Omutaka Daniel Nanziri Nanziri Nadduli Kibaale kyayinza okugamba Ssabataka gabalabaganye maaso ku maaso

“Ssebo Ssabasajja Kabaka, Nze musajja bwetwatabaala nga
tuzaawo ebyaffe. Nze nina ekifundukwa ky’oyo musajja wa
Jjajjawo Lule Kantinti Kibaale wa Ssekabaka Kamaanya ne
bakibaale bonna okuvaawo okutuuka ku kitange Omugenzi
Zakayo Nadduli Kibaale ayogerwako mu Memorandum
No.6139 eya 1925. Kusaba kimu naffe tukyikirirwe mu lukiiko
lw’Abataka Abakulu b’Ebika Ab’obusolya kuba kati tuli baboole
mu Buganda tetulina akukyikirira, era twebuuza nti ani akola
byetwakolanga, era nga yatandika ku Kabaka ki okubikola?”

Ebyalekebwaayo mu Report eyasooka (1992) eyaweebwa
Ssabataka

Engeri gyekiri nti omutaka Dan Mbazzi Kiggye yamala dda
okukomyawo form, Akakiiko kano katandiika wa Mutaka Dan
Nanziri Nadduli Kibaale omutuuze ku mutala Bbunga-Makinye
Kampala nga bwekiragwa mu bbaluwa eyamuwandikirwa nga March 9, 2010.
Bwewetegereza ennyo ebyava mu Kakiiko aka 1992, essira baalisa nnyo ku nsala y’Omulamuzi Stanslaus Mugwanya nekatalondoola biki ebyaddako.

Oluvannyuma lw’okukwatagana n’Omutaka Dan Nanziri Nadduli Kibaale twakiraba nti; Report ya 1992 bino yabibuusa amaaso.

1.    Memorandum No. 6139 eya 1925, okuva ewa Chief Secretary ne HE. Governor.

2.    Ensala ya Kabaka Daudi Chwa II mu 1919 eri mu lulimi Olungereza ku nsonga y’obukulu n’obujajja bwekika ky’Epeewo. Report egikonako katono ate bagitwalanga eky’okwekwasa!, era wano nebeerabira okujuliza ebyava ew’Omulamuzi w’ettwale, Chief Secretary ne Governor.

3.    Obusika bw’Omutaka Zakayo Nadduli mu 1933, n’okolondebwa kwa Erisa Ssonko-Kibaale.

4.    Okulekurila kw’Omutaka Erisa S. Ssonko-Kibaale mu 1941 n’okulondebwa kwa Amos M. Senkaali mu 1943 ku bwa Kibaale nga awakanya ekya Kabaka Edward Muteesa II okukkiriza Namasole Druscilla Namaganda okugumbirwa.

5.    Okugobwa kwa Siira Matama Nkakya ku bwa Kiggye n’okulondebwa kwa Kazimiri Lusonzi mu 1929.

6.    Mailo ye Bubiro mu bwanannyini n’Obutaka obw’essiga

7.    Enkolagana wakati wa Siira Matama ne Kabaka Daudi Chwa II mu 1929

8.    Kyajja kitya okuba nga Omutaka Kigye yasiiga Kaggo we Kasubi, ate nga ebiwandiiko byonna biraga nga Kaggo waayo eyasooka ye Kkaaya omwana wa Lule Kantinti – Kibaale nga n’abaddako bonna banda y’emu eyo?

9.    Mayungwe Ssekamwa ayogerwako Omutaka Kigye yali ku Kabaka ki era yali akola mulimu kimu Lubiri ogwamusembeza ennyo ku Kabaka afune n’omukisa okuwa ekirowoozo ekyo?

10. Olukalala lwa basiige ba Kibaale aba Kigye lweruliwa okuviira ddala kwa’asooka era baasikibwa wa?

11. Okuboola mu butereevu ab’e Bubiro kwebaakola mu 1960 – 62 nga balaga nti ab’enda ya Lule Kantinti Kibaale yeddira muziro mulala.

12. Omutaka Daniel Nanziri Nadduli Kibaale bweyajja nga Kibaale omukulu w’ekika ky’Empeewo teyajjira kukulira n’abeempeewo b’e Bubiro abaali beekutulako edda mu 1962 nga balinze kiva eri Kabaka.

Okukubira kwaffe okusooka
Oluvannyuma lw’okutaganjula ebitabo n’okubuuza ennyo abantu ab’enjawulo, bino byetuzudde:-

1.    Mu butuufu omusango gwaliwo mu 1915 era Omulamuzi Stanslaus Mugwanya yasalanga alaga nti Obujjajja bw’Empeewo obw’e Bubiro bukyirako ku buli e Kiwawu nga Omutaka Zakayo Nadduli Kibaale bweyali agambe, era bweyawandiika mu ktabo ky’ekika ky’Empeewo. Naye ate waaliwo okujulira eri Omulamuzi w’ettwale – Entebe nebituukayo ku Kabaka Daudi Chwa II era okutuusa Kabaka okutangaaza mu 1919 nti Kibaale y’akulira ekika ky’Empeewo kyonna. Kabaka okutangaaza mu 1919 nti Kibaale y’akulira ekika ky’Empeewo kyonna. Kabaka ne Governor Sir Geofrey Archer baakwatagana era nekisalibwaawo nti okuva ku musango ogwo, emisango gyonna egikwata ku bika binaggwerawa wa Kabaka. Mu kino mwemwava Kabaka Daudi Chwa II okuyisa ekiragiro ky’emisango gy’ebika mu Buganda mu 1924. Naye ekiwandiiko ky’Omutaka Kigye talaga ani yalondebwa okudda mu kifo kya Kibaale Omusigire wa Kabaka Daudi Chwa II. Era byonna mwe muve mu Kiwandiiko Memorandum No. 6139 ekya 1925.

2.    Kayimbye – obutega yajja ne Ssekabaka Kintu era yeyamutegeranga enkwaale, era ebya MB. Nsimbi ye yemuwandiisi eyasooka mu 1956 okutulaga nti n’Abenjaza nabo balina jjajjabwe Kayimbye-obutezi eyabeeranga e kiwawu kyetulowooza nti kyamuweebwa Silas Mpiima Musajjalumbwa bwebaakolanga mu Bwakabaka bwa Buganda, Ebiwandiiko ebyasooka biraga jjaja w’ekika ky’Enjaza ye Lutimba mu Mabira g’e Kyaggwe tabangako Kayimbye-obutezi e Kiwawu oyo yali katemba wa Silas Mpiima okwongera okuboola ab’enda ya Nanziri abaali balidde Obwami ku Bassekabaka ba Buganda bangi ku Ssemakookiro okutuuka ku Ssabataka ono atwesiimisa.

3.    Kayimbwe-obutega yalondebwa Bataka banne okuba okuba omukuza wa Kabaka Chwa I Nabakka oluvanyuma lwa Kabaka Kintu okubula nga asse Mutaka munnabwe Kisolo ow’Enggonge.

4.    Mu nsala ya Kabaka Daudi Chwa II eya 1919, yakizuula nti Kayimbye- Obutega yali wa Mpeewo ddala nga Omuwandiisi Joseph S. Kasirye bwakikoonako mu butabo bwe (i) Abateregga ku Namulondo (ii) Stanslaus Mugwanya.

5.    Bwekibanga kituufu, nti, Zakayo Nadduli yasingibwa omusango gw’Obukulu bw’ekika ky’Empeewo; tukyebuuza nti lwaki ate yasigala nga ye Kibaale Omusigire wa Kabaka era Omukulu w’ekika ky’Empeewo nga ebiwandiiko bwebiraga?

6.    Okuwummula kw’Omulamuzi S.Mugwanya mu 1921 kwatandikira ku bataka be Kkungu kumujjamu bwesige nga Kabaka amaze okuyisa ensala ye mu 1919. ebisingawo  bisome mu katabo akawandikirwa Kabaka Daudi Chwa II akayitibwa, Lwaki Mugwanya Yawummula’

7.    Tetugaanye abenjaza baali bapangiddwa Silas Mpiima, naye okusinziira ku bbaluwa yaabwee gy’ebawandiika mu 1960, baawerezako ekiyubulo kyayo (copy) eri Kibaale Omukulu w’Ekika ky’Empeewo. Kyandiba nti kituufu nabo kyebaali bamanyi nti, Omukulu w’ekika ky’Empeewo abeera Kibaale? Ye abaffe lwaki baalinda ebbanga eryo lyonna ng’emisango gyatandika mu1913, ate ng’abawaabi tebalagirawo nti oyo eyali awoza ava mumusaayi gwa munywanyi wa mukago?

8.    Ebbaluwa Omutaka Amos. M. Senkaali Kibaale gyeyawandiikira Sekamwa ne banne bazzukulu ba Kantinti, yafundikira atadde omukono nti; nze Kibaale Omukulu w’ekika  ky’Empeewo. Kino teekiibe kituufu nti, ddala Omukulu w’ekika ky’Empeewo abeera Kibaale? Omutaka Silas Mpiima Musajjaalumbwa yali waali era nga akolera mu Lubiri munda ng’Omuwanika w’Enkuluze, kakati lwaki Omutaka Amos. M. Ssenkaali – Kibaale yeyita Omukulu w’ekika ky’Empeewo?

9.    Obuwandiike webuli obulaga nti Lule Kalyankolo, mwana wa Lubuulwa Kayimbye-obutega eyayongerwako erya Kibaale. Kalyankolo aliko ekigambo ekikulu eky’ekitongole Ekinyenya egyasingibwawo Kabaka mu Ssingo. Omutaka Kigye okulaga nti Kalyankolo yeddira Endiga asana akirambulule bulungi, era ne Ssemannya Ssenkubuge atulage bw’azaaliranwa bwe mu kika ky’Ennyonyi.

10. Oluvannyuma lw’okwekanya ennyo ekiwandiiko ky’Ebyafaayo by’ekika ky’Empeewo ekyatuweebwa Omutaka P.D.Mbazzi, yalaga Mugambe e Zzinga – Busiro nga ogumu ku masiga ge amazzukulu era natulaga ebituba 2; wabula ate n’omutaka Dan N.Nadduli – Kibaale naye agamba nti Mugambe era alina n’Obujjulizi obukakasa. Obujulizi obwogerwa ko, ky’Ekiraamo y’Omutaka Mukasa Semwendo Mugambe, muzzukulu wa Ezyekeri B. Mugambe eyalwana entalo z’eddiini.

11. Ebiwandiiko byonna ku Basekabaka ba Buganda, biraga nti Ssekabaka Mutebi I yalina Omukyala Nampiima muwala wa Lubuulwa Kibaale gweyazaalamu Omulangira ayitibwa Mpiima. Kikyatuzunza emitwe mu kwawula Mpiima azaala Kigye ne banne mu budde buno bwennyini ate nga waliwo omulangira ono aliko obuzaale n’erinnya eryo. Abataka abamu baatugamba nti Omubala gw’ekika ky’Empeewo mu kusooka gwalingamu ekisoko kimu ekigenda nti, ‘Kali mu nteete’; naye Nampiima bweyazaalira Kabaka Mutebi I eyali abuliddwa omwana, yafuna okunja kungi eri bba n’ekika kye, era awo wewava Omubala okuwaana Nampiima n’omulangira gweyazaala Mpiima, n’Obutaka bwe Kkungu awali ejjinja lyabwe (ly’olaba ku ddiba ky’ekitabo kino).

12. Omutaka Mbazzi Kigye alaga nga ogumu omukulu gw’alina ku Kabaka we, kwe kusiiga yo Kaggo we Kasubi. Okunonyereza kwaffe kulaga nti bukyanga Masiro ge Kasubi gatandikibwawo, Kaggo eyasooka yo ye Kaaya, omwana wa Lule Kantinti – Kibaale, era bweyafa waddawo mutabani Bulayi. Oyo yasikirwa Lutwama omwana Luka Sekamwa, muzzukulu wa Lule Kantinti – Kibaale. Ate oyo n’asikirwa omwana we Kasenya. Kasenya yasikirwa muganda we bwebagatta taata ne maama ayitibwa Kelementi Mbaziira, Era nebalanda bwebatyo okutuuka ku Ssalongo Kantinti ono owajjo. Mu kulaba kwaffe Obwakaggo bwe Kasubi butekeddwa kutambulira mu lulyo lwa Lule Kantinti-Kibaale era nga Omutaka Kibaale yalina okuwaayo Kaggo we Kasubi.

13. Tukirina ko obujulizi nti Omutaka Siira Matama Nkakya Kigye yagobwa ku bwa Kigye mu 1929, era n’asikizibwa Omutaka Kazimiri Lusonzi. Mu kyo n’amannya g’abasika ba Kigye abaaliwo ku Basekabaka Ssemakookiro ne Kamannya nagakonwako, naye bwetwakenenya olukalala lwa abasika ba Kgye olwawerezebwa Akakiiko abo tebalimu. Ekyo kitulese mu bbanga, kubanga tubadde tusuubira okubalaba, nebebandibadde balya nsowole nga bw’olaba Basekabaka Kiweewa ne Rashid Kalema bwebalagibwa mu butongole.

14. Bwetwetegereza ennyo akatabo, ‘Akiika Embuga’ aka Thursday Feb 3, 1966 akasembayo mu mulembe gwa muteesa II, Omukulu w’ekika ky’Empeewo alagibwa ye Kigye ku butaka e Kkungu – Kyaddondo. Wano wetwegengedde obutali bulambukufu bwa S.K.Kinsingiri (Officer in – Charge Standing Committee for Katikkiro). Kimannyiddwa bulungi nt, Omutaka Kigye atuula Bubiro – Kyaggwe, era ku butaka e Kkungu wa Luka Sekamwa – Kibaale weyakuba ettaka lye ng’okusiima kw’Olukiiko lwe Mmengo Obutaka obwo bwadda ku musika we Zakayo Nadduli –Kibaale (Yasika 1902), ate nebulyoka budda mu basika ba Zakayo Nadduli – Kbaale (Yafa 1932). Wali wennyini e Sindo – Buyozi awali ejjinja Kkungu waweeba Zabbuloni Sekamwa Mugiri, mwana wa Zakayo Nadduli – Kibaale. Ebyo byonna tulowooza nti mu 1966 byali bimannyiddwa Olukiiko ne Katikkiro era S.K.Kisingiri tulowooza yali asobola okukifuna nga omuweereza kulwa Katikkiro. Kakati ekyetaaga okulambula obulungi, lwaki akatabo kalaga Omutaka Kigye nga owe Kkungu. Kale awo tulowooza nti, okwo kwali kuwusibwa okuva kwabo abeempeewo abaali ku lusegere lwa Katikkiro.

15. Tukkiriziganya nti, Kabaka Daudi Chwa II bweyagoba Omutaka Siira Matama Nkakya ku bwa Kigye mu 1929, teyamugoba mu ttaka lye erya mailo lyekuba mu ndagaano eya 1900; n’olwekyo tukiraba nti singa ddala Zakayo Nadduli yasingwa omusango ku bukulu bw’ekika ky’Empeewo wandibadde ekiwandiiko ekitongole okuva ewa Kabaka ku nsonga y’Obukulu bw’Ekika ky’Empeewo n’Obutaka bwakyo.


16. Tukirabye nti ne bino wandibirowozeza ko; Rev. Polycarp Kakooza yali mukwano gwa Silas Musajja-alumbwa Kigye e Budo era yamukwasa n’omwana we Omutaka Paul Dan Mbazzi okumosomesa ku Aggrey Memorial School, ekirala; waaliwo obutakwatagana wakati wa Rev Polycarp Kakooza n’Omutaka Nadduli Kibaale nga Kyava ku nsonga ya ttaka e Kabowa.

Ebirowoozo by’abataka bombi; Kibaale ne Kiggye

1. Omutaka D.Paul Mbazzi – Kiggye.  Ffe wetwasibira weewo kitange weyasibira mu 1962 mu bbaluwa gyewaweereza Katikkiro. Mu bufunze oyo Nadduli si wa kika kyaffe.

2. Omutaka Dan.N. Nadduli – Kibaale. Nze nsibira Kabaka Daudi Chwa II weyasibira mu 1919 ne Kiwandiiko Memorandum No. 6139 eya 1925. Amasiga ffe aba Kibaale Kayimbye-obutega tulina 8 amakulu n’endyo endala ezimanyiddwa bwezeeyunga ku Bwakibaale. Kibaale abeera wa nsikirano ya Kulubya Kibaale era lwe lunyiriri olukulu mu mbuga e Kkungu mu Kyaddondo.

Tusaze magezi ki okutereeza ekika ky’Empeewo?

Kabaka yennyini eyakakasa Kiggye ng’asinzirira ku kunoonyereza kw’eboggwe akw’akakiiko ka Rev. P. Kakooza ne Kkooti etaatukiriza mulimu gwaayo, addemu yeetegereza lipoota eyamuweebwa oba ddala erina wonna wenyonyolere ensonga ezimenyeddwa waggulu Obutakaalubiriza Kabaka, ate nga n’ab’e Bubiro bakyagenda mu maaso n’okuboola ab’e Kkungu, kale tube n’empeewo eyaffe eyedda eya Kayimbye munne wa

Kabaka Kintu ne bannaffe bagenda mu maaso n’empeewo eyabwe eya Mpiima omugishu w’e Masaaba!

Ekirungi amasiga tulina agaffe ate naye emituba gye yagifuula masiga! Ate n’omubala tulina ogwaffe, ate naye yafuna ogugwe. Amannya buli omu asigale ku ga bajjajjabe baamanyi. Akakwakulizo kabeere nti, Abeempeewo zombie tebeewasa, era akikola aboolebwe.

Abataka bombi bakkirizigannya ku nsonga bisatu; 1. Akabbiro: Kayozi 2. Kibaale ye Musigire wa Kabaka asibuka mu kika ky’Empeewo 3. Kayimbye-obutega yali wakulusegere nnyo ne Kabaka Kintu. Kino okirabira ne kunsonga nti Kayimbye-obutega y’omu ku bataka abalina ekibanja e Magonga mu lubiri lwa Ssekabaka Kintu. Omutaka Kayimbye-obutega yabeeranga ku mutala Kiwawu – Busujju, era omulimu gwe mu kusooka gwali gwa kutega nkwale ezaakolanga eva za Kabaka Kintu.

Abataka bombi balina emibala gya njawulo, naye nga gifaanaganamu katono.

Omubala okusinzira ku Bataka be Kkungu

‘Nampiima agenze e Kkungu, ejjinja lino terinyenya’, ekyamukuza kyaali mu jjinja.

Omubala okusinzira ku Bataka b’e Bubiro: ‘Balwampiima bagenze ne Kkungu,’



Fri Mach 12, 2010 – Kkungu. Mu kifanaanyi Omukungu wa Kabaka D.L.Serunyiigo Kasolo ow’Akakiiko akakola ku nnono n’ensibuko y’ebika by’Abaganda (akutte files) ng’akulembeddwa Omutaka Nadduli Kibaale (ali mu kitengi) okumulambuza olusozi Kkungu awali ensibuko n’okusaasaana kw’abazukkulu be. Mwalim.R.N. Sserunjogi nga ye Director wa Akange Cultural Research Bureau abakola kukunoonyereza ku Buzaaliranwa mu Baganda n’amawanga amalala (yellow shirt ne ku Bulange). Abasigadde lulyo lwa Bwakibaale n’emikwano gyabwe.

Mwalimu R.N. Sserunjogi akoze nnyo okunoonyereza ku Byafaayo by’Ebika by’Abaganda byonna ng’ayitira mu bitabo ebyasooka okuwandikibwa. Bweyakizuula ng’ebitabo ebyo bijja ate bikontanamu ku nsonga enkulu ennyo eri Obwakabaka ne Kabaka, n’asalawo okukkira ddala mu Bantu bennyini bannannyini bika. Eyo ate njagenze afuna amazima ku nsonga enkulu ennyo, era n’amanya n’ekizze kiremesa abawandiisi abaasooka obutamaliriza mulimu guno. Ekiruubiriwa kye ekisinga byonna kunyweza Byafaayo bya Buganda ku Kabaka ne ku Bantu be mu Bika byabwe mu ntuumu y’ebitabo ku bika entongole (Buganda Clans’Eucyclopedia)


Ebifa ku kisolo kyebayita Empeewo
                                                Empeewo mu lulimi olungereza bandiba bayiyita,
‘Oribi’ okusinziira ku munnaddiini The Rev. John Roscoe mu Kitabo kye, ‘The Baganda’. Ekyawandiikibwa mu biseera bya Ssekabaka Dan Mwanga II. Waliwo ekisolo mu ttuluba ly’obugabi mu lungereza kyebayita, ‘duiker’ ekyaleetebwa munnaffe omu Taga Nuwagaba nga musiizi wa bifaananyi nnakkinku, eyategeka omwoleso gweyatuuma, ‘Me and My Totem’ ku Ugand
Museum nga Sep 03-2010 era n’omugenyi omukulu yali Omulangira David Wasajja omuggalanda wa Ssekabaka Edward Fredrick Muteesa II. Omwami Taga yategeeza ku mukolo ogwo nti mukakkafu nti Empeewo eyitiba, ‘dukier’, naye nze nsibidde ku oribi nga n’endowooza yange eragiddwa mu biddako wansi.

Empeewo(Oribi) kasolo kaba katono akali mu ttuluba ly’embuzi, Obugulu bwako buba buwanvu, ate bwekaba akalume obuyembe buba bumpi. Bubeera ku ttale naddala mu maserengeta ga ssemakalu waffe ne wano ewaffe. Bundabika yabwo buba bwalujumba oba bweru. Busula mu njazi.


The oribi: African antelope: a small tan antelope with long legs and, in the male, short horns Native to: plains of southern and eastern Africa. Latin name: Ourebia ourebi.



EBIGAMBO EBITOONGOLE KU KIKA KY’EMPEEWO Y’E KKUNGU

Omuziro: Mpeewo.
Akabbiro: Kayozi
Omukulu w’ekika: Kibaale.
Obutaka: Kkungu – Ssaabawaali Gombe – Kyaddondo
Jjajja w’ekika: Kayimbye – obutega eyabeerange e Kiwawu – Busujju munne wa Kabaka Kintu, era eyamutegeranga enkwale, bawala be nebakolera Kintu enva.

Omubala:  Nampiima agenze Kkungu
                 Ejjinja lino terinyenya
                 Ekyamukua kyaali mu jjinja.

Omubala gwabwe gubajjukiza mwannyina bwe Nampiima muwala wa Kibaale Lubuulwa eyawonya Kabaka Mutebi I obugumba, era negwooleka obutaka kweyazaalibwa okuli n’omugga Nampyangule.

Omutaka Kibaale e Kkungu ye Musigire wa Kabaka w’e Buganda. Kale Ssekabaka Mutebi I bweyakakasa Lubuulwa Kayimbye-obutega ku Busigire, era n’amuwa erinnya lya Kibaale olw’ebirungi n’obuzira, waaliwo omukwano mungi, naye ate negunywera nnyo olwa Kabaka oyo okufuna omwana mu bulamu bwe, ekintu ekyamusanyusa ennyo!

Omuwala eyazaala omulangira ewa Kabaka ono yayitibwanga Nampiima, era n’omulangira Kaaka n’amuwa lya Mpiima. Kale Abeempeewo e Kkungu mu mubala gwabwe basuusuuta nnyo ekkula eryo n’obuganzi bwe baalina embuga kumulembe gwa Ssekabaka Mutebe I

3 comments: