OBUVO N’OBUDDO KU MUSIGIRE WA KABAKA
KIBAALE OW’EMPEEWO
EKITABO EKIFUNZA BYONNA EBIZZE BIBAAWO
MU NKAYANA N’ENGERI BA KABAKA GYEBAZZE BASALA EMPAKA KU KIBAALE E KKUNGU NE
BAZZUKULU BE AB’E BUBIRO.
Ebiri munda
Amasiga mu kika ky’Empeewo
………………………………………………………………...……2
ENNYANJULA …………………………………………………………………………………..……3
Ebisooka eby’omukung’anya …………………………………………………………………….
....6
Entandikwa y’okwkutulamu kw’ekika ky’Empeewo……………………………………………......9
Ensibuko y’ekika ky’Empeewo ebatabula
mu 1913…………………………………………...…..9
Ensala y’Omusango gw’ensibuko y’ekika
kyEmpeewo mu 1915……………………………....11
Kabaka atongoza Kibaale n’Omukulu
w’ekika ky’Empeewo kyonna – 1919……………..…..15
Ab’e Bubiro baakola ki nga Kabaka
ayongedde okutangaaza ku bukulu bw’ekika?..............17
Ekiragiro ku busika ekya 1924…………………………………………………………………..…22
Kiggye agaanira ddala okukkiriza
Kibaale ng’Omukulu w’ekika, era yeefuula Omukulu w’ekika eyeetuukira obutereevu
ku Kabaka……………………………………………………....23
Kabaka abonereza Siira Nkakya Kiggye
olw’obujeemu eri Kibaale n’Obwakabaka………....23
Okugobwa kw’Omutaka Siira Matama Kibuuka
Nkakya Kiggye………………………………..24
Emirimu gy’Abeekika ky’Empeewo ku
Kabaka…………………………………………………...30
Ebbanga 1933-1939………………………………………………………………………………...33
Erisa Ssonko agobwa ku bwakibaale
olw’okuvuma olukiiko mu 1941……………………..….34
Ani yalondebwa ku bwa Kibaale
Omusigire, era Omukulu w’ekika ky’Empeewo nga Erisa ssonko
avuddewo?.................................................................................................................35
Ssekabaka Sir Edward Muteesa II
awubisibwa okumenya ekiragiro No. 6139 ekya
kitaawe ne Gavana ku kika ky’Empeewo…………………………………………………………36
Amos Musoke Ssenkaali akulembera ekika
ky’Empeewo nga ye Kibaale Omusigire, era Omukulu w’ekika okuva mu 1942 okutuuka
lwebyatabuka……………………………………..38
Ab’e Kkungu bagondera Kabaka era
bakkiriza Amos M. Ssenkaali Kibaale………………….39
Ekiwandiiko Rev. P. Kakooza ky’ajuliza
Ssabataka mu 1992 nga kya 26.01.1960…………..40
Ekika ky’Empeewo mu biseera bya Sir
Edward Muteesa II ebyasembayo……………………41
Bazzukulu ba Kibaale e Kkungu baali ku
ki mu budde obwo 1960-1966……………………...42
Ekika ky’Empeewo lwekyayawulwamu mu
butongole…………………………………………...44
Omutaka Daniel Nanziri Nadduli Kibaale
kyayinza okugamba Ssabataka gabalabaganye maaso ku maaso…………………………………………………………………………………….51
Tusaze magezi ki okutereeza ekika
ky’Empeewo?................................................................56
Ebifa ku kisolo kyebayita Empeewo……………………………………………………………….58
EBIGAMBO
EBIKWATA KU MUSIGIRE KIBAALE
NE
JJAJJA WE KAYIMBYE-OBUTEGA MUNNE WA SSEKABAKA
KINTU.
ENNONO Y’EKIKA KY’EMPEEWO E KKUNGU MU
KYADDONDO
Amasiga mu kika ky’Empeewo
1.
Olunyiriri
lwa Kulubya olw’akasolya e Kkungu – Kyaddondo.
2.
Lule
Kalyankolo e Bulyankolo – Kkungu, Kyaddondo.
3.
Ssenjala
e Kkungu – Kyaddondo.
4.
Kibirango
Kiggye e Bubiro – Kyaggwe.
5.
Ggombe
e Kiwangaazi – Kyaddondo
6.
Basazelubabi.
e Kiryowa – Kkungu – Kyaddondo
7.
Mugambe
e Zzinga – Ssingo (Gwali mutuba ewa Ssenjala).
8.
Ssenkubuge
e Luttisi – Mt III Namayumba – Busiro
9.
Ssemannya
e Nkoma – Kyaddondo (Gwali mutuba ewa Ssenjala).
10. Kiryowa Walaga e Bulyowa – Kkungu –
Kyaddondo
11. Kachuchu mu Kibinge – Buddu (Gwali
mutuba ewa Kalyankolo).
12. Mugenyl e Kakundi e Lwamaggwa – Buddu.
ENNYANJULA
Abaganda baalugera, Eddimu eddene
likummya obwami; amakulu nti bw’olabikanga ng’alinawo keweekoledde
abatalina bingi batera okukukonjera n’okukulimirira eri bakama bammwe.
Naye n’ebigambo ebyatandikanga nga
eby’olusaago mu mwaka gwa 1913 ku mulembe gwa Ssekabaka Daudi Chwa II
naye oluyiira lwebaakoleeza lukyalanda n’okutuuka ku saawa ya leero mu kika
ky’Empeewo ku mulembe guno ogwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Mutebi II.
Teebereza abazzukulu ddala abaali
bakuze nga bakimannyidde ddala nti beddira Mpeewo ng’omu asibuka mu
ssiga lya Kiggye e Bubiro mu Kyaggwe nga mu budde obwo lye lyali essiga
4 mu kasolya k’ekika ku butaka obukulu e Kkungu, ate ng’omulala ava mu ssiga
lya Ssenjala e Bugambe – Kkungu mu Kyaddondo nga lye lyali essiga 6.
Ekinuusi
kyennyini ekyabaleetera okukoleeza olutalo luno yali nsaalwa mu Baganda bangi
mu buddo obwo ku Baami ba Kabaka basatu Sir Apollo Kaggwa Katikkiro, Stanslaus
Mugwanya, Zakalia Kisingiri n’abo bonna bebaakola nabo mu biseera bya Kabaka
nga akyali muto nga kyava ku ngabana ya mailo.
Abavubuka
n’abataka abamu mu bika bingi baalonda Omutaka Miti Kabazzi ow’Akasimba
nebawawaabira Abaami 3 nga babalanga obutabeera beenkanya bwebaali bagaba mailo
ng’Endagaano ya 1900 bweyali eteekeddwateekeddwa. Omusango gwakandalira naye
oluvannyuma mu myaka gya 1920 gwawulirwa Kabaka yennyini era negutuuka ne mu
kkooti y’Abafuzi b’ettwale. Newankubadde bwalimu ensonga mu kiseera ekyo, naye
abawaabi kyebaali basaba eky’okuddamu okugaba mailo tekyasoboka. Ebyo byakoma
awo.
Kale
buli kika kyalina abazzukulu mu kyo abataali bamativu naddala abo abataali
baana ba Baami ku mitendera egy’enjawulo ng’Abaamasaza, amagombolola oba
abataka mu bika ng’aboobusolya n’abamasiga. Engaba yennyini yalimu kyekubirira
nga kyasinziirira ku nzikiriza y’eddiini era amasaza gayawulibwamu ku musingi
gwa nzikiriza ng’abasomesa ebyafaayo bya Buganda ebitali bijaabulule bwebayinza
okuteeka obulungi.
Ffe
mu kika ky’Empeewo abazzukulu abasing obungi baali mu mbuga enkulu e Kkungu
baali bakulisitaayo, naye nga n’abakulisitu baali bawera ku mbuga y’e
kitinkokola, era nga n’abasiraamu abaali ku lusegere lwa Ssekabaka Kalema
n’Omulangira Noho K. Mbogo twalinamu bangi ne mu luggya lwennyini olwa Lukka
Ssekamwa Kibaale ng’abaana be babiri baali basiraamu ddala, era ne Zakayo
Nadduli kitange yawalirizibwa okubeera omusiraamu mu biro ebya Ssekabaka Kalema
ng’abaganda be baagala abakuumire abaana.
Mu
kika ky’Empeewo olw’okuba mwemwali musinga abaana ab’enda emu eya Lule Kantinti
Kibaale abaali abatabaazi ennyo era kumpi ng’entabaalo zonna ezaaliwo
ez’eddiini nga Kabaka Mwanga II atabukkidde abasomi eby’okugabana mailo
webaatuukira nga baalina okufuna omugabo ogubagwanidde ng’abantu ssekinoomu,
ate era ng’abaami ba Kabaka, ate era ng’abakulu b’ekika ku kasolya ne ku
masiga.
Mu
ngabana eyogerwako kitange yagabana mailo 13 n’obuyitamu, ate muto we Y. L.
Musajjalumbwa eyali Kaggo era Omuwanika naye n’afuna, ne muto waabwe Keirupa
Mujeebeejo yasukka mu mailo 9, nkugabye enda yonna eya Lukka Ssekamwa Kibaale neganyulwa
mu buweereza bwayo eri Obwakabaka bwa Buganda. Amasiga gonna ag’ekika
ky’Empeewo 8 amatongole mu kiseera ekyo bafuna mailo emu n’abalala okusinga,
era ekika nekyiggumira bulungi mu ttaka.
Kaakati
essiga lya Kiggye mu Bubiro mu Kyaggwe lyali mu mikono gya lulyo lwanzikiriza
ya Bakulisitu, ate nga abantu abo tebeetaba mu lutalo nga bwekyali enkizo
ennene ku baagabana. Kale munnaffe Ezekyeri Ssekiwala eyali mukwano ennyo owa
Siira Kibuuka Nkakya yafuba nga bw’asobola munne bwebabadde e Kabula ate ow’enzikkiriza
ye wakiri afune mailo emu alema kuviiramu awo.
Abeekika
bwebaatuula abasibuka mu ssiga erya Kiggye baaganira ddala okulonda Siira
Kibuuka kubanga ava mu mutuba gwa Mpiima Ndyemala ogwakola ekivve nga Kiggye 2
Sikubulwe afudde, era nekisalibwawo ku mulembe ogwo ogwa Ssekabaka Namugala
obutaddamu kulonda mu lulyo olwo. Siira yali asibuka mu Mpiima, ate ng’Obusika
obulya Obwakiggye bwali mu mutuba gwa Kagiri Kinonoko e Toja Kale Ezekyeri
Ssekiwala bweyalaba nga tasobola kweyambisa kika kutuusa munne Siira Kibuuka
kufuna mailo, kyeyava amutwala butereevu eri Katikkiro Apollo Kaggwa nti oyo ye
waffe gw’obeera owa mailo y‘essiga ly’e Bubiro. Bazzukulu ba Kiggye bangi naye
bonna bali ku mailo eyo emu yokka!
Ogwo
gwe musingi gwennyini egw’empalana eyatandikibwa abantu babiri n’eranda ku
lulyo lwonna era nga kati mu budde buno abazzukulu bennyini bali mu kweboola
mbu ndi w’e Bubiro bali ab’e Kkungu banywanyi baffe. Ebyo nze mbiyita bya kito
kubanga ekyaleeta n’empalana ezo lyali ttaka era nga bangi ku bazzukulu b’abo
abaaligabana lyabavaako dda neridda ku bazzukulu b’abo abaali bakaayana.
Kyerabirwa
mugambi, si nze nalugera naye abasajja b’e Bubiro eyo baatusaako ekigambo mu
mwaka gwa 1939 nga byonna byebaagezaako kutuzza ebbali bibalemye okumala emyaka
25 bukanga batandika mpaka zaabwe, naye kitufukidde ebbwa lya kkookolo
eritawona nga baluubirira okutuboola. Kyebaalbirira butafiirwa bibiri ettaka
ate n’eddoboozi mu kika, era ky’ova olaba nga bawalampa ebifo ebikulu ennyo mu
ffe ddala ekya Kibaale Omusigire n’ekya Kaggo w’e Kasubi. Singa abaafa baali
badda Ssekabaka Daudi Chwa II yandikomyewo n’anyumyamu ne Siira Nkakya Kibuuka
ng’ali ne mutabani we Silas Mpiima Musajjalumbwa ng’ate Zakayo Nadduli ali
ludda ne Katikkiro Martin Luther Nsibirwa mu maaso ga Chief Secretary
n’Owekitiibwa Gavana.
Obuzibu
bwonna obukyagaanye empaka mu kika kyaffe eky’Empeewo okuggwa eva ku Baami ba
Kabaka abamuli ku lusegere abeddira empeewo ng’abazzukulu ba Kiggye ne mikwano
gyabwe. Ssekabaka Daudi Chwa II yasala empeka zaffe emirundi 4 nga ffe ab’e
Kkungu twawangulwako gumu gwokka ogwasooka mu 1915 n’okujulira kwakwo, kyokka netuwangula
emirundi 3 n’okujulira kwako, era nekubaako Memorandum No. 6139
mu 1925 eyaggalawo empaka zonna ku kika ky’Empeewo. Naye maama
laba ate abalyolyomi abaagera Kabaka oyo akisizza omukono nebatusaako ekigambo
ky’okuboolebwa n’okuwabya Kabaka Muteesa II era ekika n’akikutulamu mu 1960!!
Kati
omusomi w’ekitabo kino njagala ogoberere ebigambo kimu ku kimu nga bwebizze
bibaawo, era bw’obeera oyagala original copy ku nsonga yonna ojjanga mu
mbuga yange e Nnaakukuba – Kkungu – Kyaddondo tugeregaranye.
Nkwagaliza
okusoma okulungi obeere mwenkanya ku buli nsonga mu ndowooza yo ng’omuzzukulu
wa Kayimbye-obutega, era naawe olwanirire ng’ekyo obulamu bwo bwonna.
Nze
Munnammwe Omutaka Daniel Nanziri Nadduli Kibaale.
Omukulu
w’ekika ky’Empeewo e Kkungu, era Omusigire wa Kabaka.
Ntenvu
1, 2013, Bbunga –
Makindye Division – Kampala
Ebisooka
eby’omukung’anya
Omuwandiisi
eyasooka okunoonyereza n’okuwandiika ku bika
by’Abaganda
yali Omumisane. The Right Reverand John
Roscoe
nga yakikola ku
mulembe gwa Ssekabaka Mwanga II
ekitundu
ekyasembayo (1889-97), era byeyazuula yabiwandiika
mu
kitabo kyeyatuuma, BAGANDA: their cutoms and beliefs’,
kyeyafulumya
awo mu 1911. Mu kukyanjula agamba nti
yayambibwako
Katikkiro Apollo Kaggwa eyamukung’anyizanga
abantu
abakulu ddala mu myaka era abaali batanasabululwa
kigambo
kya Katonda.
Bw’atuuka
ku kika ky’Empeewo ku muko 157 atulaga nga kyatandikibwa ku musajja
Kayimbye-obutega eyajja ne Ssekabaka Kintu nga ba mukwano nnyo, era Abataka Walusimbi
(Ffumbe), Nankere (Mmamba) ne Nakaswa (Nte) be baaleeta
ekiteeso mu lukiiko lwa bannabwe ku mulembe gwa Ssekabaka Chwa I Nabakka abeera
Omulamuzi alina obuyinza okulaamula Kabaka yennyini, era ekiteeso ekyo
nekisanyusa nnyo Kabaka oyo kubanga gwe baali bayogerako yali mukwano gwa
kitaawe nnyo, era awo weyava okubeera Omusigire n’ebiralla bingi mu lubiri! Mu
buli ngeri yabiggya ku bakibaale basatu ab’obudde obwo Lukka Ssekamwa
Kibaale, Yakobo Lule Musajjalumbwa ne Zakayo Nadduli Kibaale.
Omuwandiisi
y’omu bw’atuuka ku kika ky’Emmamba atulaga nti baalimu obutakaanya ku
nsibuko yaabwe ng’era baawufu. Bw’atuuka ku kika ky’Enjaza atulaga nti jjajja
bwe eyasooka yali Lutimba eyaliwo mu biseera Kintu weyajjira nga yali
musenze mu Mabira mu Kyaggwe.
Ekitabo
ekyadddako ku bika kyali kya Katikkiro Sir Apollo Kaggwa kyeyatuuma, Ebika
ky’Abaganda, era naye atulaga nti ekika ky’Empeewo jjajja akyo ye
Kayimbye-obutega eyali abeera e Kiwawu mu Busujju.
Omuwandiisi Joseph. S. Kasirye
ku muko 81 mu kitabo
Chevalier
Stanislaus Mugwanya ekya 1955’ agamba nti,
…Nga mu mwaka 1913-15 Mugwanya yawozesa
omusango
gw’ekika
ky’Empeewo. Omutaka Kiggye ow’e Bubiro mu
Kyaggwe
ng’akayana ne munne Kibaale owo mu nda ya
Kantinti,
bazzukulu ba Nanziri. Zakayo Nadduli ye yali
Kibaale
. Omusango ogwo gwanyuma nnyo; kubanga
Ebyafaayo
bingi eby’edda ennyo biwanuulizibwa
ku nfumo
Bufumo ezitaliimu kitangaala kimala, omusango gwagenda gujulira ne
kkooti y’Abazungu ng’Omulamuzi Omuganda Mugwanya okugusala gusinze ab’e
Kkungu. Abazungu gwabasobeza nnyo. Kubanga ebigambo eby’enfumo ebigamba
nti, “Bwe twava egendi okujja engindi….. ejjinja lyaffe Kkungu ne ligamba nti…”
Abazungu
okwo kwe baasinziira okugamba nti emisango gy’ebika by’Abaganda
gisaanira kusalibwanga Kabaka nnannyini bika, ggwe w’olabira ejjinja nga
litambula ate ne lyogera!’
Omuwandiisi
eyaddako ye M. B. Nsimbi mu kitabo, ‘Amannya Amaganda n’ennono yaago’
ekya 1956, era n’alaga ku muko 299 nti jjajja w’ekika ky’Empeewo ye Kibaale,
era n’aleeta n’amaloboozi agava ewa Kiggye nga bweyabinyumya mu 1913-15. Weyawandiikira
ng’ebigambo bikyuse nnyo, era yasanga Kibaale ye Amos Musoke Ssenkaali
eyamugamba ebibye, ate ne Silas Mpiima Musajjalumbwa naye n’amuwa
ebibye. Omuwandiisi y’omu ono eyasooka okutulaga nti Kayimbye-obutezi-n’okukwakkuliza
ye jjajja w’ekika ky’Enjaza ow’e Kiwawu mu Busujju, era nga ye yali azaala Kitanda
owakasolya k’ekika kyaabwe. Omuwandiisi ono alaga bulungi nti Kabaka Kintu ne
banne webajjira nga jjajja w’ekika ky’Enjaza eyaliwo yali Kitanda
ekiraga nti ono Kayimbwe-obutezi yali yafa dda, era nga si Kayimbye-obutega
munne wa kintu N’ekirala lwaki teyalaga Lutimba nga jjajja w’ekika ky’Enjaza
nga Roscoe bweyakifuna mu myaka egy’edda ennyo gityo?
Wabula
byeyawandiika tebyesigika ku Kayimbye-obutezi kubanga engeri gy’alaga nti ate
naye yali w’e Kiwawu mu Busujju n’owepeewo Kayimbye-obutega gy’asuubirwa, ate
nga byeyawandiise ku Mpeewo teyakoona ku ddoboozi wantu wonna liraga Kayimbye-obutega
eyajja ne Kintu ng’amutegera enkwale ng’empoza eza 1913-5 bwezakirambika
kuludda lwa Zakayo Nadduli Kibaale Omuwandiisi y’omu teyawandiika wantu
wonna katulaga nti waaliwo empaka ku nsibuko y’ekika ky’Empeewo
mu budde obwo. Ono yalimu kyekubirira era nga tekyewunyisa kubanga yali mukungu
mu gavumenti ya Ssabataka mu budde obwo ate nga ne Silas Mpiima Musajjalumbwa
Mweyali aweereza.
Omutaka
ow’essiga lya Jjumba Erisa Muwanga (Ku myaka 98!) ng’ali wamu n’abaana
be abemituba bawandiika ekitabo ky’essiga lya Jjumba ekitongole mu 1961-63, era
mwebawandiika nti; ‘Mu kuttikira
Omutaka Jjumba ku mikolo gy’abataka bannansangwa ab’e Bunjakko
negitandika ne bamutwala ku lusozi Mpala ku katunnumba akayitibwa
Nakatatya. Omusigire wa Jjumba ow’oluberyeberye ow’Empeewo y’akulembera.
Omusigire oyoasibuka Zzinga mu ssiga lya Mugambe Embuga ye ebeera
Kirega – Bunjakko – Mawokota.Bwebatuuka ku ntunnumba Nakatyatya,
omusigire n’amulengeza ennyanja era n’amulengeza n’e Ssese ewa Lubaale Mukasa’.
Okuva
ku bawandiisi bombi abo tukizuula nti; waaliwo emisango ku nsonga ezimu mu kika
ky’empeewo ku mulembe gwa Ssekabaka Daudi Chwa II, era tetukiraba nti mu
Buganda ku mulembe gwa Ssekabaka Kimera mwalimu abeddira Empeewo Kabaka Kimera
waatuukira okwesiga omuntu (Mugambe Owempeewo) n’amusindika ng’Omugabe ayingize
Oulangira Jjumba (Nkima) mu mbuga ye ate ab’e Bunjakko nebamumanya nti Mutaka
Nnansangwa e Bunjakko, kyongera okututangaaza nti kituufu abempeewo ku
Ssekabaka Kintu baaliwo.
Kale
ffe abayize obuyizi ku bika byaffe nga tuyitira mu biwandiiko wetusoboledde
okubitegeera era ne bannannyini byo nebatwesiga, kyassanyu nnyo okufuna ekitabo
nga kino ku kika ky’Empeewo okuviira ddala mu musaayi gw’obusika bwa Zakayo
Nadduli Kibaale eyasooka okuwandiika ku kika kye, era eyali ddala mu mpaka
z’ensibuko y’ekika ky’Empeewo mu myaka 1911-1919, ate nga negweyali awoza naye,
yaliko omuzito Owek. Stanslaus Mugwanya mukoddomi we, ate nga mukwano gwe nnyo
nga bwetukisoma mu kitabo kya Joseph S. Kasirye.
Bwekityo
netulaba nga ebyaliwo okuva emabega yonna okutuusa ku Ssekabaka Daudi Chwa II
ekika ky’Empeewo kisibuka mu Kayimbye-obutega era nga ye Kibaale Omusigire.
Ku
ludda olwaffe abanoonyereza tulaba ng’ensonga Ssekabaka Sir Edward Muteesa II
kweyasinziirira okumenyawo ensala zonna eza kitaawe ku bukulembeze bw’ekika
ky’Empeewo yali awubisidwa omukungu we eyali Omuwanika w’enkuluze era Omubaka
we mu Lukiiko ayitibwa Silas Mpiima Musajjalumbwa nga bwekirabikira mu nsala za
Kabaka eza 1960-2, era okukakkana ng’ekika akyikutudde ebiwayi bibiri kyokka
nga awoza kimu nga bwatamenyeewo nsala ya kitaawe eyakireka obumu wansi wa
Mutaka Zakayo Nadduli Kibaale ne Erisa Ssonko Kibaale eyamuddako.
Mwalim R. N. Sserunjogi, Bsc/Ed (M.U.K) – Director
Akange Cultural Research Bureau – Bulenga. Omutegesi,
era omusunsuzi w’ekitabo kino (0772617808/0704936067).
Entandikwa
y’okwekutulamu kw’ekika ky’Empeewo
Emirandira
givira ddala mu mwaka 1913, abasajja babiri amanya;-
1.
Oweesiga
Kiggye Siira Kibuuka Nkakya Nnundaannungi (1865-1954)
2.
Omuzzukulu
Eria Ssekamwa Lubinga okuva mu ssiga lya Ssenjala.
Batuuka
nga basoma mu kitabo ky’Ekika ky’Empeewo ekyasookera ddala okuwandiikibwa awo
mu 1901 nga eyakiwandiika ye mukulu w’ekika Omutaka Zakayo Nadduli
Kibaale n’abataka abakulu mu kika abaaliwo. Naye essuula ku nsibuko y’ekika
kyabwe yali tetabagana bulungi nekyebaali bamannyi.
Abasajja abo ababiri be Bawaabi, naye katusooke
n’ekigambo bo bennyini kyebaasoma mu kitabo ky’ekika ky’Empeewo nga
bwekyawandiikibwa omukulu w’ekika.
Ensibuko
y’ekika ky’Empeewo ebatabula mu 1913
Guno
gwe musango ogulabika nti gwegwaleetera Kiggye ekinyegenyege ky’okwewang’amya
ku bukulu bw’ekika ky’Empeewo.
Ensibuko
y’ekika ky’Empeewo okusinziira ku Mutaka Zakayo Nadduli Kibaale
Omutaka
Z. N. Kibaale yagamba nti abeekika ky’Empeewo batandikira ku jjajjabwe Kayimbye-obutega
eyajja ne Ssekabaka Kintu, era olutabaalo lwa Bbemba Musota bwerwaggwa
Kabaka n’akuba olubiri lw’e Magonga mu
Busujju ne Kayimbye-obutega n’akuba olulwe okumpi ne munne e Kiwawu mu
Busujju; era ng’omulimu gwa Kayimbye-obutega omukulu ku Kabaka
kumutegeranga nkwale n’aziwa bawala be nebategekera mukama w’enva.
Bwewaayita
ekiseera Ssekabaka Kintu ng’asoowaganye ne Kisolo Muwanga Kyoto (Ng’onge)
yamufumita effumu era n’afa era n’abulako effiire. Abataka abakulu bwebalaba
biri bityo ne bamuyita mukama waabwe abanyonyole ensonga nga bweziri, naye ye
n’agaana olw’ensonyi eri banne abaali bamwesize okubakulembera mukuteesa so si
kubafuga bumbula nga Bbemba Musota gwebaali bakamala okukunkumula omukono mu
kibya.
Abataka
baakanda kulindirira mukama waabwe Kintu nga buteerere, era ekyavaamu kulonda
mwana we Omulangira Chwa Nabakka amuddire mu bigere. Mu ngeri y’okutangira
bakabaka abaliddako okuyiga okufuga obusungu abataka Walusimbi (jjajja w’ekika
ky’Effumbe), Nakaswa (jjajja w’ekika ky’ente ya Lubombwe) ne Nankere (jjajja
w’ekika ky’Abakererekere) baasaba. Kabaka akkirize Omutaka Kayimbye-obutega
eyali mukwano gwa kitaawe abeere omulamuzi we, era omuwabuzi we asobole okumukakkanyanga
obusungu, era bateesenga naye byonna ebikwata ku baana be n’abaami be.
Eky’okumulondera
Kayimbye-obutega Kabaka Chwa Nabakka kyasanyusa nnyo kuba gwebalonda yali
mukwano nnyo era nga munne wa Kabaka Kintu. Awo Chwa Nabakka weyava okutandia
okulekanga Kayimbye-obutega n’obuvunaanyizibwa mu Lubiri (Omusigire), era
Kayimbye bweyafa n’asikirwa Ssejjuuko baasigala bakolagana bulungi.
Eky’erinnya
okukyuka Z.N. Kibaale yawandiika nti lyakyukira ku Ssekabaka Mutebi I eyayagala
ennyo Omusigire eyaliwo ayitibwa Lubuulwa Kayimbye-obutega, era nga ye
yayongera okumukakkasa ku Busigire, era n’amwongerako erya Kibaale kubanga
yabeeranga kumpi n’olusozi olunene Kkungu ate ng’ejjinja abantu b’edda
baaliyitanga ibaare.
Amaliriza
agamba nti abataka abamasiga bonna amakulu baali baana ba Lubuulwa Kibaale
oyo, era yali mutabaazi nnyo eyatabaala ne muliranwa waabwe Kalali okuwangula
Obusujju okuva ku b’enseenene n’ekitundu ky’e Ssingo. Awo Kabaka weyava ne
Kalali n’amutuuma erya Kasujju Lubinga, ate ye Lubuulwa n’amwongerako erya
Kibaale, era Lubuulwa oyo ye yakuba embuga y’e Kitinkokola nga Kabaka
amuwadde Obwamukwenda mu Ssingo, weyava okudda e Luttisi mu Busiro, naye
oluvanyuma n’afiira ku mbuga ye eyasooka e Kitinkokola. Lubuulwa Kibaale
taliiko malaalo naye weyabulira ku kkookoowe buli omu amanyiiwo. Kigambibwa nti
yali akaddiye nnyo ng’awalulibwa ku ddiba, era nga bayinza okubanga
baamwerabira okumujja mu kasana ensolo nezimulya.
Abaana
ba Lubuulwa Kibaale omusika 13 owa Kayimbye-obutega, omwana wa Migadde muzzuku
wa Nkulabantyo;
- Lule Kalyankolo e Bulyankolo – Kkungu
- Kulubye e Buyozi – Kkungu
- Ssenjala e Bugambe – Kkungu
- Kibirango Kajoba Kiggye e Bubiro – Kyaggwe
- Gombe e Kkungu
- Basazelubobi e Kkungu.
Lubuulwa
– Kibaale yasikirwa mutabani we Kulubya nga Kikulwe ye Kabaka okutuusa ku
Ndawula. Kulubya Kibaale embuga yagikuba Kkungu mu Kyaddondo.
Ebyava
mu kunyonyola kw’abawaabi ku nsibuko y’ekika ky’Empeewo
·
Tebaaliwo
ku mulembe gwa Ssekabaka Kintu kubanga baasenga Ssekabaka Mutebi I era n’erinya
lya Kayimbye-obutega tebaliwulirangako.
·
Baava
mu nsi y’Abamasaaba era nga jjajja bwe yayitibwa nga Mpiima ataggya n’abaana
be, era nga yabakwasa munnabwe Kibirango Kajoba Kiggye era nga ye jjajja
w’ekika kyabwe ku mbuga e Bubiro.
·
Baggya
ne Muganda waabwe nga kikulekule eyayitibwanga Kkungu, era eyafa n’afuuka olusozi
Kkungu.
·
Kibaale
yali ayitibwa Sseryazi Ssebbaale era nga mwemwava erinnya Kibaale.
·
Kkungu
teyalabanga ku Kabaka olw’enkula ye embi kyebaava baddira Sseryazi omwana wa
Mayungwe abayungenga ne Kabaka era wewava abempeewo okuba n’Omusigire wa Kabaka
mu Lubiri n’ebyo byonna by’akolayo.
Ensala
y’Omusango gw’ensibuko y’ekika ky’Empeewo
Mu
1915
Omulamuzi
omukulu yali Owek. Chevaller Stanslaus
Mugwanya n’Olukiiko.
Okusalawo
kw’Omulamuzi n’Olukiiko nga 12.02.1915 era
Ng’Omusango
gwawozebwa emyaka ebiri (1913-5).
Ebyava
mu kunoonyereza
Mu
kunoonyereza kw’Omulamuzi n’Olukiiko batuuka ku
butaka
abali mu mpaka bombi gyebaali bagamba nti
gyebasibuka
(Bubiro-Kyaggwe ne Kiwawu – Busujju).
Kyebaazuukayo
kyakuba nti abatuuze abakulu ddala e
Bubiro
bakkiriza nti e Bubiro butaka bwa ba Mpeewo, era
nga
abasing bagamba nti abeempeewo baava ku ludda lwo
mu
nsozi z’Abamasaaba. Ate e Kiwawu abatuuze kumpi
bonna
baagamba kimu nti baali tebawulirangako nti
Abeempeewo
balina ebibanja ku Kiwawu.
Ekirala
abalamuzi kyebeesigamako bwe bujulizi obwa ku Mulangira Noho Mbogo owa Ssekabka
Ssuuna II bamanyibwa ku Bwakibaale ku Ssekabaka Mutebi I, naye eri ku Ssekabaka
Kintu yali takimanyi.
Omulamuzi
kyeyasalawo nti, ‘Abawaabi kyebagamba kyikyirako ku ky’omuwawaabirwa
jjajjabwe Kibaale’.
Omuwawaabirwa
Zakayo Nadduli Kibaale yajulira ewa Ssekabaka Daudi Chwa II ku lunaku olwo
lwennyini.
Ebyava
ewa Kabaka ku nsonga y’okujulira kw’omuwawaabirwa Zakayo Nadduli Kibaale.
Guno
gwe musango Kabaka gweyasookerako era nga waali waakayita omwaka gumu
ng’abakuza be bawumuziddwa kuba yali amaze okuweza emyaka 18, era nga amaze
n’okukuba ekirayiro ky’okuweereza abantu mu mazima n’obwenkanya mu 1918, era
n’okuba omuwulize era Kabaka n’Obwakabaka
bw’e Bungereza.
Ng’asinziira
ku byava ku Babaka abaasindikibwa ku Butaka obwogerwako, era nga
n’omuwawaabirwa yalinako omubaka owuwe mutoowe Erisa Ssonko, Ssekabaka Daudi
Chwa II afundikira akkiriziganya n’Omulamuzi Stanslaus Mugwanya n’Olukiiko, era
ng’ekinuusi ekya Kabaka kyali ku kigambo ky’abasika ba jjajja Kayimbye-obutega
12 abaali bawandiikiddwa Kibaale nti baagwa Kiiwawu naye newalemwa okujuulwawo wadde
Omutaka eyasigalayo ku butaka ate nga n’emirambo wennyini wegyagalamizibwa teri
amanyiwo.
Amakulu
agaali mu nsala ya 1915
Ssekabaka
Daudi Chwa II n’Omulamuzi Stanslaus Mugwanya bakkiriziganya n’eky’Omutaka
Oweesiga Kiggye e Bubiro mu Kyaggwe nti Kayimbye-obutega teyaliiko bujjajja
bumannyiddwa mu Buganda kuba n’e Kiwawu gy’asuubirwa nti gyeyagwa talinaayo
malaalo, naye Kiggye Kibirango Kajoba jjajja w’ekika nga abawaabi bwebaali
bagamba, aliko obujulizi nti ye yakulembera banne okubajja mu nsi y’Abamasaaba
awasuubirwa nti kitaawe Mpiima gyeyasigala.
Weetegereze
kino Kabaka n’Omulamuzi tebasalangako nti engeri empaka bweziwedde zityo,
abawangudde bebanannyini kika era bebalina okubeera abakulu b’ekika. Omusango
guno gwali ku nsibuko ya kika kya Mpeewo nga gwesigamizidwa ku bannansi
abazaaliranwa n’gabajulizi abasooka.
Lwaki
tulowooza tutyo nti ago ge gaali amakulu nsala ya 1915?
·
Ssekabaka
Daudi Chwa II mu 1917 ye yakyatula nti Kibaale ye mukulu w’ekika
ky’Empeewo kyonna, ate n’abawaabi tebaawooza bukulu bwa kika.
·
Ssekabaka
Sir Edward Muteesa II mu 1943 yagamba mu mpaka z’Obwakibaale nti ye yali
tamenyeewo nsala ya Ssekabaka Daudi Chwa II eya 1915.
·
Omutaka
Zakayo Nadduli bweyafa mu 1932, Kabaka ab’enda ya Lukka Ssekamwa
beyasaba Kibaale Omusigire we.
Abawaabi
Siira Nkakya ne Eria Ssekamwa Lubinga baalowooza ki ku buwanguzi bwaabwe?
·
Obujjajja
bw’ekika ky’Empeewo buli Bubiro mu Kyaggwe
·
Kiggye
y’abeera jjajja w’ekika ky’Empeewo.
·
Kibaale
alina okuba nga asiigibwa jjajjawe Kiggye mu Lubiri.
·
Zakayo
Nadduli abaddize ekifo awali ejjinja lyabwe kuba yali muntu eyava e Bubiro
n’afuuka ejjinja wamu ne mukazi we Namyangule owolugave.
Ebyaddako
ng’Omutaka Zakayo Nadduli Kibaale asingiddwa omusango mu kkooti ebbiri ezisooka
Zakayo
Nadduli Kibaale yagaana ebigambo bya Kiggye Siira Nkakya ne munne Eria Ssekamwa
ebiwanuulizibwa ku nfumo bufumo ezitaliimu kitangaala kimala okuba ng’Omulamuzi
omukulu Mugwanya gweyesigamye okumusingisa omusango. Yasibira ku bigambo
kubanga byeyakula amanyi ne kitaawe gweyasikira mu butongole mu 1902 byeyakula
abagamba. Awo weyava omusango n’agwongerayo mu kkooti y’Omulamuzi w’ettwale
ng’ayitira ew’omuwandiisi w’ettwale (Chief Secretary).
Biki
ebyali eri ebyava mu Kkooti y’Omulamuzi w’ettwale (British Protecorate
Government)?
Tetulina
biwandiiko bya kkooti n’empozang’anya, naye mu bawandiisi b’ebitabo waliwo Omw.
Joseph S. Kasirye mu kitabo, ‘Abateregga ku Nnamulondo’
eky’omwaka 1955 (Omuko 90) n’ekirala ekifa ku Chavier Stanslaus Mugwanya
(Omuko 81) ekya 1956 mw’atuwala ekifaananyi ku butabanguko mu kika ky’Empeewo.
Okusinzira
kumusika wa Zakayo Nadduli Kibaale nga ye Mutaka Danieri Nanziri Nadduli Kibaale
nga yatubedde mu kukola ekitabo kino agamba nti, kitaawe bweyamala okuyitibwa
okuwa ensonga lwaki yali ajulidde mu maaso g’Omulamuzi w’ettwale bali banne
bebaasooka okuwa empoza yaabwe era tebalina nakimu kyebakyusaamu mu bigambo
ebyava ew’Omulamuzi Stanslaus Mugwanya. Ye bweyasituka okuwoza baalabira awo nga
ajjayo kisibaawo kye ng’akikuba ku mmeza ya Mulamuzi! Bagenda kulaba ng’ajjamu ejjinja
ery’ekigero kulikuba ku mmeza! Yasamba Omulamuzi alagire Kiggye oba munne
Eria Sekamwa alagire ejjinja eryo litambule, era bw’amala okukikola ye
ng’akkiriza nti omusango gumumezze!
Kigambibwa
nti Omulamuzi yakanula amaaso nga n’abawawaabirwa batunule mpewere ebigambo bibakalidde
ku matama. Omulamuzi n’asooka ava enseko, era n’asooka ayimirizaamu kkooti.
Olwadda n’abalaga olunaku olw’okudda.
Ebyava
mu kkooti y’Omulamuzi Omungereza ow’ettwale mu 1916-7
Olunaku
lwamala nerutuuka, era abaali mu mpaka nebabasomera ekyasaliddwawo wakati wa
Governor ne Ssabasajja. Ekyasalibwawo abakulu abo bombi kyali nti, “Ensonga
zonna ezitwata ku Bika zaali zirina kuggwera wa Kabaka kuba ye nannyini
byo, era kyonna ky’alibanga asazeewo kiribeera kya nkomeredde!”
(Laba Chavalier Stanslaus Mugwanya ekya Kasirye ku muko 81 akatundu 3).
Omusango
bweggwaddizibwa Ssekabaka Daudi Chwa II mu1917 yasalawo atya?
Wano
abawabuzi ba Ssekabaka Sir Edward Muteesa II beyasaawo okukwatizaako ku nsonga
z’ebika (Standing Committee) weebaabuusa amaaso, era ekintu ky’ekimu n’ekituuka
ne ku kakiiko Ssabataka keyasaawo mu 1992 aka Ssentebe Rev. Polycarp
Kakooza!
Ebbaluwa
eziddako zongera okutuwa ekitangaala ekimala ku byasalibwawo Ssekabaka Daudi
Chwa II, era n’abiweereza Kamalabyonna n’Olukiiko lwa Katikkiro ku mbeera nga
bweyali mu budde obwo mu Buganda ku kika ky’Empeewo.
Ssekabaka
Daudi Chwa II mu kiseera kino yali aweza emyaka eegy’obukulu 21 era nga muyivu
ddala ku ddala ly’Abangereza era ng’Olulimi Olungereza alukuba budinda okusinga
abantu be bonna nga bwetulaba Omuwandiisi Joseph S. Kasirye amwesimisa mu
kitabo Abateregga ku Nnamulondo ya Buganda ku ssula emukwataako.
Kabaka
atongoza Kibaale ng’Omukulu w’ekika ky’Empeewo kyonna – 1919
KABAKA’S OFFICE – MMENGO
17th September 1919
Copy
to Kibaale
“ Sekamwa
The Lukiiko – Mmengo
This
is my statement to Mpeewo clan, as this case has been pending for observation
to the Chief Justic – Entebe;
- In the Chief Justice’s letter dated 26th October 1918 in reply to my letter addressed to him dated 23.10.1918, together with my interview with him on addressed to him dated 23.10.1918, together with my interview with him on 19.10.1918. Therefore I write this letter to the Lukiiko and to the Empeewo clan dispuntants in the case.
- Now I write and confirm that Kibaale is the Head of all Mpeewo clan.
- Also Kibaale has got undisputed powers to bring all heirs of his clan before the Kabaka and Lukiiko for confirmation or his representative appointed by him.
- Any heirs who will not be brought by Kibaale or in his absence by his representative before the Kabaka will not be confirmed according to the Baganda custom.
- Whoever wants to challenge the Kibaale as to his Headship of the Mpeewo clan can do so on the understanding that the present case is finally settled and that no retrial will take place.
Sgined
Daudi Chwa II
KABAKA WA BUGANDA
Okuvuunula
kw’ensala eyo mu bufunze:-
Ensala
Kabaka Daudi Chwa II gyeyawandiikira Olukiiko e Mmengo ku nsonga z’Obukulu
bw’ekika ky’Empeewo.
Olw’okubanga
omusango guno gubadde gulindiridde kigambo kyange eri Omulamuzi omukulu owe
Entebe, bino by’ebikulu byendabye;
1.
Oluvannyuma
lw’okkwogeranyamu n’Omulamuzi omukulu nga 19.10.19, namuwandikira ebbaluwa nga
23.10.19, ate naye n’aziramu nga 26.10.19, nsazeewo mbawandiikire mwe
Aboolukiiko n’Abeempeewo abawozanganya mu musango guno.
2.
Mu
kiseera kino mpandiika era nenkakasa nti Omukulu w’ekika ky’Empeewo kyonna ye Kibaale.
3.
Mu
ngeri y’emu, Kibaale (oba omubaka we ye kennyini gweyerondedde) yalina obuyinza
bwonna obwanjula abasika abasibuka mu kika kye eri Olukiiko ne Kabaka.
4.
Abasika
bonna Abeempeewo abanaaletebwa nga tebareteddwa Kibaale oba omubaka we
gw’asiimye tebajjanga kukakasibwa okusinziira ku buwangwa bw’Abaganda.
5.
Oyo
yenna ayagala okuwakanya Obukulu n’Obujajja bwa Kibaale mu kika ky’Empeewo
waddembe lye, naye nga alina okukimanya nti mu mbeera nga bweri wano mu kiseera
kino omusango gukomerezeddwa era tejja kuba kujjulirwa kuwlirizibwa.
Katikkiro Sir Apollo Kaggwa olwafuna
ensala eyo, naye n’awandiikira Omutaka Zakayo Nadduli – Kibaale nga amuweereza
omubaka okumukakasa mu bukulu bwe nga Omukulu w’ekika ky’Empeewo kyonna.
OLUKIIKO LW’E MMENGO OLWA KABAKA WE BUGANDA
September 19,1919.
Omwami
Zakayo Nadduli – Kibaale
Omukulu
w’ekika ky’Empeewo
Kakano
nkuwandiikidde nga maze okulaba ebbaluwa
Ya
Kabaka ekakasa mu bukulu bw’ekika
Ky’Empeewo
kyonna.
Era
nkuweereza gy’oli Yozefu Muwanguzi ye Mubaka
w’Olukiiko
aze okukunyweza mu bukulu bw’ekika
kyonna
eky’Empeewo.
Apollo Kaggwa
Katikkiro – Omukulu w’Olukiiko.
Weetegereze
kino: Mu nsala eno
eya 1919, Kabaka
Akyinogaanya
bunogaanyi eri Katikkiro n’Olukiiko
N’ebigambo
ebyenkomeredde okuva mu byeri azudde mu ngeri eyiye, era n’akyiggumiza nti,
Kibaale ye mukulu w’ekika ky’Empeewo, era y’alina obuvunaanyizibwa okuleeta
abasika bonna mu kika ky’Empeewo okubaanjulira Kabaka.
Kino
bwekyali okuva edda n’edda era n’olumbe lwa Basiiga jjajja wa Siira Nkakya
Kibuuka Kiggye yali Lukka Ssekamwa Kibaale eyalugereka!
Ab’e
Bubiro baakola ki nga Kabaka ayongedde okutangaaza ku bukulu bw’ekika?
Eyo
y’empalana kakkuzi ekyalanda na buli kati!
Eria
Sekamwa ne Siira
Kibuuka Nkakya Kiggye kino kyabakuba wala ddala, ate nga tebaali beetegefu
kudda nnyuma ng’eng’ombo bweyali mu budde obwo! Wabula baajulira mu kkooti
enkulu ew’Omululamuzi w’ettwale – Entebe! Ebbaluwa yennyini abawaabi
kwebaajulira sigirinako kyeeyubulo (copy), naye ebaaluwa eyava mu b’ekika
ky’Empeewo Abaamasiga nga baatuulanga Bulyankolo mu mbuga y’Oweesiga Kalyankolo
Bedenego Lubuulwa gyebawandiikira Ssekabaka Daudi Chwa II yo weeri
ey’olunaku 21.09.1921, era nga Omulamuzi (Chief Justice), Omukungu
eyakola ku nsonga za Buganda (Provincial Commissioner – Buganda) bonna
baaweebwako copy. Ebyali mu bbaluwa eno bye bimu ku bigambo byonna nga
Zakayo bweyali abirambika okuva ku Kayimbye – obutega jjajjawe okutuuka ku ye
Zakayo Nadduli n’ebikolebwa abeempeewo mu Lubiri n’engeri gyebaatutumuka ennyo
ku Lubuulwa Kayimbye-obutega ow’e Kitinkokola ne Luttisi
eyasooka okwongerwako erya Kibaale nga bwayabiwoza mu 1913-5.
Okwanukula
kwa Ssabasajja Kabaka mu 1921
Tewali
bujulizi nti yabaddamu mu kiseera ekyo anti nebyali batangaaza tebyali bipya,
wabula bo abaajulira obubaka bwabwe bwatuuka ku Mulamuzi w’ettwale (Chief
Justice), era mu kujulira kwabwe baatobekamu n’ebyobubbi bw’ettaka lyabwe
awaali watudde jjajjabwe Kkungu eyafuuka enjjinja nga mu kiseera ekyo waali ku
mailo 8 eza Z. Nadduli Kibaale.
Bino
birambikiddwa bulungi mu bbaluwa okuva ewa Z. Nadduli Kibaale eri
Ssabasajja eya 27.04.1921. Mu bbaluwa eno tukiraba nti Chief Justice
yamuyita, era awamu n’eyali amuvunaana Eria Ssekamwa Lubinga, era naye
n’abazaayo mu Lukiiko e Mmengo gyebeewuuba emirundi ebiri! Tulaba nga Zakayo
Nadduli yali yeemulugunya mu kulaba kwe nga bwetaali mpisa yansi abantu ababiri
bokka abali mu mpaka z’ekika kyonna okuyitibwanga so nga kyali kyetagisa
abamasiga n’abantu abakulu okubaawo. Kale Eria Sekamwa yali afuukidde Zakayo
Nadduli ekyambika!
Kiki
ey’enkomeredde Kabaka kyeyasalawo ku kika ky’Empeewo mu 1923?
Bino
nabyo bibadde bikisibwa nnyo abawabuzi ba Kabaka naddala abaali ku Muteesa II
n’abali ku Ssabasajja Kabaka ono omwagalwa waffe!
Bino
by’ebigambo bya Kabaka (Daudi Chwa II) mu mukono gwe eri Chief Justice –
Entebbe:-
Ssebo
Owekitiibwa Omulamuzi,
Nkutegeeza
nti ekiragiro kyo kimaze okutuukirizibwa,
Era
abamasiga 7 balonze nadduli Kibaale okuba
Omukulu
waabwe. Wabula essiga lya Kiggye
lyerigaanyi
okutabagana. Naye ng’empisa y’ebika mu Buganda bw’eri, abamasiga abasiinga
obungi bwebalonda omukulu waabwe baleetera Kabaka, ye n’akakasa bukakasa.
Abamasiga 7 abo bazze bennyini nembalaba bonna nebatuula mu maaso gange nga
bwebalonze Nadduli okuba omukulu waabwe.
Obukulu
n’Obwakibaale Kabaka Mwanga ye yabuwa Nadduli. Kaleno bwekyali kireeteddwa
gyendi oluberyeberye kino tekyasoboka kuntegezebwa, naye nkivumbudde mu nnaku
zino nga yakakasibwa Kabaka Mwanga. Naye singa nakimanyirawo oluberyeberye mu
musango sandikkiriza kuguwulira olw’okuba nga Kabaka Mwanga yali amaze okukakasa
Kibaale Nadduli (Kyeyazuula kyali nti nga 5.07.1887 Zakayo Nadduli
lweyakakasibwa mu bwa Kibaale nga Kabaka Mwanga II ye yakikola, era nga ne
Stanslaus Mugwanya yali akimannyidde ddala bulungi kubanga ye yali
abakulembedde mu lutabaalo lwa Manyweema,. Amazima ngo Mugwanya yagasirikira
munsala ya 1915, kubanga omusango gwali ku nsibuko so sis ku bukulu bwa
kika!).
Weetegereze
kino:
1.
Mu
kitabo ‘Chavaller Stanslaus Mugwanya’. Ekya Joseph S. Kasirye ku muko 62
akatundu 4 (page 6 paragraph 4):-
‘…….Mugwanya
olutabaalo (lw’e Manyweema) yaluwoza mu maaso ga Kabaka (Mwanga II) nga 5.07.1897.
kabaka n’agabirawo n’Obwami kw’olwo. Yakobo Lule Musajjalumbwa
eyali Kibaale n’aba Kaggo, Paulo Bakunga eyali Kaggo n’afuuka Mukwenda, Zakayo
Nadduli n’aba Kibaale …………..’
2.
Tukikakasiiriza
wano nti Amasiga amatongole mu kika ky’Empeewo mu 1923 gaali 8, era abantu abo
beebaatukira Ssekabaka Sir Edward Muteesa II mu 1943 nga bakulembeddwa Omutaka
Temutewo Bwaddene Kalyankolo okumutangaaza kyokka ku masiga agaali
gamwanjuliddwa 24 agaalonda Amos M. Senkaali ku bwa Kibaale kyokka n’akyiwewa!
Kabaka
(Daudi Chwa II) bweyamala okusalawo eky’enkomeredde ku bukulu bw’ekika
ky’Empeewo byaggwa mirembe?
Nedda!
Kitalo nnyo! Newankubadde gwali gutyo, Siira Sekamwa yadduumira basajjabe Eria
Sekamwa Lubinga ne Serwano Lubowa okweyongerayo, era baasigala bakakanyavu nno
mu mitima, era nebatuuka n’okugaanira ddala okuwa omutaka Zakayo Nadduli
Kibaale ekitiibwa kye ng’omukulu w’ekika ky’Empeewo!
Beerayirira
kufa n’obutanyagwa bwebatagenda kukkiriza Z. kibale muzzukulu wa
Kayimbye-obutega gwebatali bujjajja bwe bumu nga bwebakiraga mu buwanguzi
bwabwe mu 1915, era bwebatyo nebawandiikira Governor ebbaluwa No.
1072/40 ne No. 1072/41 ku lunaku 25.06.1925.
Chief
Secretary Akaayukira ab’e Bubiro olw’okunyooma n’okunjoloonga ekiragiro kya
Kabaka w’e Buganda
Ogunywanga
negukuteeka, nayeno Eria Ssekamwa Lubinga ne munne abaajulira waggulu ebyavayo
tebyali birungi n’akatono! Chief Secretary ensonga yazongerayo okutuuka owa
Governor, era ekigambo ekyenkomeredde ku nsonga y’ekika ky’Empeewo
nekiyisibwa nga tekiganya wa kika Mpeewo yenna kuddamu kwesulumbiza ku kitebe
kya bafuzi b’ettwale n’ewa Kabaka w’e Buganda ku nsonga y’emu. Ekyo ky’Ekiragira
Memorandum 6139 ey’olunaku 22.07.1925!
Ebikulu
mu Memorandum No. 6139; 22nd June 1925
Ø
Okusinziira
ku Kabaka (Daudi Chwa II). Kibaale ye Mukulu w’ekika ky’Empeeewo kyonna kubanga
ku masiga 8 agakila ekika 7 gaayongera kukakasa Kibaale Zakayo Nadduli,
Ø
Ekya
Kibaale nebyakola mu Lubiri ng’Omusigire, tewali n’omu alina buyinza
kukyawukanako oba okukiddamu nate.
Ø
Yategeeza
Kabaka nti emputu y’abo abaali baajulira nate (Eria Sekamwa ne Serwano Lubowa)
teyakoma ku kunyooma Kabaka waabwe yekka wabula eweebuula ekitiibwa ky’eggwanga
Buganda awamu n’empisa zaalyo ezisaana ezaafuula Abaganda abasukkulumu engeri
gyebajjanga bakikuumamu obutiribiri nga bayitira mu kugondera abakulu ne Kabaka
waabwe ng’ekitikkiro.
Ø
Governor
yasiima nnyo Kabaka (Daudi Chwa II) olw’okwolesa amazima, obwegendereza
n’obwenkanya ng’akolera ku magezi ag’ekikugu okutaanya ensonga y’ekika ky’Empeewo
eyalanze ennyo obutava mu ddiiro.
Ekiragiro
ku busika ekya 1924
Omusango
gw’ekika ky’Empeewo ku mulembe gwa Ssekabaka Daudi Chwa II gwamala emyaka 12,
era gwamuwa nnyo ekizo okuteekerateekera. Obuganda ebiwandiiko mu ngeri
y’ebiragiro ebiyamba abakulembeze mu Buganda okuyiga okukwatamu ensonga z’ebika
n’empisa y’ensi. Muno mwemwava Ekiragiro ku Busika mu Buganda ekya 1924
ekyayisibwa Kabaka ne Gavana.
Ebiraga
nti ddala Memondarundum No. 6139 yaliyo
Ø
Omutaka
Zakayo yasigala akola emirimu gye
egy’Obusigire n’okwanjula abasika era
ng’omukulu w’ekika ddala, era ne Siira
Nkakya
n’asigala ga mutaka wa ssiga lya
Kiggye e
Bubiro mu Kyaggwe.
Ø
Ssekabaka
Daudi Chwa II yamulekanga mu
Lubiri e Mmengo okukuuma Obuganda
ng’ebbaluwa ezirabwako ebbiri
bweziraga;
lweyali agenda mu Buddu okulaba ensi
n’okufuna ku mpewo, era nga yasulanga
wa
Ppokino Alikisi Ssebbowa eya
25.08.1925, ate endala yali agenda era Buddu ku kijaguzo eky’emyaka 25 bukyanga
basasedooto Abaganda bakkirizibwa mu Eklezia Katolika, era mu bbaluwa ezo zonna
amusiibula nga munne Daudi Chwa Kabaka.
Ø
Ab’e
Bubiro tebaddamu kuwawaabirwa olw’okukugirwa ekiragiro ekyo, naye nebatandika
bujeemu eri mukulu wa kika n’okutandiikiriza okumuboolera ddala nga bwatali wa
kika kyabwe eky’Empeewo nebamusaa mu kirala.
Ø
Kabaka
yayingira mu bujeemu obwali butandise okukolebwa Siira Nkakya Kibuuka Kiggye ne
basajja be ab’emputu (Eria Sekamwa Lubinga).
Kiggye
agaanira ddala okukkiriza Kibaale ng’Omukulu w’ekika, era yeefuula Omukulu
w’ekika eyeetuukira obutereevu ku Kabaka
Omutaka
Siira Nkakya Kibuuka Kiggye engeri gyeyali afunye mailo emu okuli ebyalo
by’abeempeewo byonna mu mu saza ly’e Kyaggwe ku mutala gw’e Bubiro yalina enkizo
nnene ku bannakyaggwe abeddira empeewo. Kale yakozesa omukisa ogwo ne basajjabe
okuwanga ebiragiro ku bantu bonna okutandika okwabye ennyimbe bazimuletere ye
azanjule ewa Katikkiro zisobole okutuuka ku Kabaka nga teziyitidde wa mukulu wa kika Kibaale e Kkungu
mu Kyaddondo Kino kyali kitegeeza nti yali afudde Omutaka Kiggye jjajja w’ekika
era Omukulu w’ekika ky’Empeewo nga akyesigamizza ku buwanguzi bweyafuna mu
kusooka obwa 1915.
Kabaka
abonereza Siira Nkakya Kiggye olw’obujeemu eri Kibaale n’Obwakabaka
Mu
bbaluwa nnamutaayiika eri Katikkiro ku nsonga
Y’obujeemu
bwa Kiggye No. 91/29 ey’olunaku 27th
May
1929 Kabaka
yalambulila engeri
bw’azze
akwatamu ensonga z’ekika ky’Empeewo
okufiira
mu ntandikwa, era n’ensonga lwaki
yasalawo
ennyimbe zonna ziyitire ewa Kibaale nga
kyava
ku bataka abaamasiga mu kika ky’Empeewo
bonna
okukakasa nti Kibaale ye Mukulu w’ekika.
Yalaga
n’ebbaluwa eziwera zeyali aze awandiikira Omutaka Siira Kibuuka Kiggye
ng’amusaba alekera awo okuleeta ennyimbe obutereevu nga bweyai atandiise.
Ebyo
byonna Kabaka yalaga nti bunyoomi obw’enkukunala eri Kabaka, era
n’akyifundikira nga eyali asazeewo okugoba Omutaka ku bukulu bw’essiga eryo,
era n’alagira Omutaka Zakayo Nadduli Kibaale akole enteekateeka ezirondesa
oweesiga ly’e Bubiro omuntu omulala.
Okugobwa
kw’Omutaka Siira Matama Kibuuka Nkakya Kiggye
Kabaka
Daudi Chwa II yagoba Omutaka Siira Matama Kibuuka Nkakya ku bukulu bw’essiga
lya Kiggye e Bubiro era n’asibwa emyezi 6! Ani yalondebwa okuba Kiggye?
Kalagala, Kyaggwe
30th October
1929
Ya,
Omukulu w’ekika ky’Empeewo
Zakayo
Nadduli Kibaale
Ssebo,
1.
Tukuwandiikide nga tudda mu bbaluwa yo eya 13/19/29. Gyewatuwandiikira nga
otuweereza copy ye bbaluwa ya Ssabasajja H. H the Kabaka, eya No. 91/29, eya
11/10/29.
2.
Ssebo ffe aboomusiga lya Kiggye e Bubiro – Kyaggwe abo mu lulyo olusibukamu
abalya obwa kiggye, tulonze Kazimiri Lusonzi omwana wa Mwanzi okulya obwa
Kiggye. Kubanga ye mwana wa mu lulyo oluvaamu ba Kiggye.
3.
Okwongera okunnyonyola nga okuzaalibwa kwe bwekulanda okuva ku Mwanzi Kibirango
azaalibwa Lubanga Nkambwe, yeyali Kiggye ku Kabaka Muteesa I Mukaabya. Ate
Lubanga Nkambwe azaalibwa Mannyo, oyo yali Kiggye ku Kabaka Kamannya.
Ffe kyetuvude tukakasa nti Kazimiri
Lusonzi yaba alya obukulu bw’essiga obwa Kiggye.
Ffe,
Falasiko Kaguli e Toja Kyaggwe
Semu
Maset, a e Kasi Kyaggwe
Bulasiyo
Kinonko, e Nvugala Kyaggwe
James
Kyazike, e Kibumba Kyaggwe
Yosia
Wasswa Sekirevu, e Kalamba Kyaggwe
Abataka ku kasolya k’ekika ky’Empeewo
baagamba ki Kabaka n’Olukiiko?
MMENGO
2nd
November, 1929
Ya, Ow’ekitiibwa Katikkiro,
Mmengo
Ssebo,
Ffe
abatadde emikono gyaffe wansi w’ebbaluwa eno tukuwandiikidde n’obuwombeefu nga
tukutegeeza nti tumaze okuteesa ku nsonga y’okulonda Kiggye mu kifo ky’Omwami
Siira Nkakya eyagobebwa.
2.Ssebo
tukunganye netudamu okuteesa nga e copy ye bbaluwa ya Ssaabasajja H.H the
Kabaka eya No. 91/29 eya 11/10/29, bwetulagira, naffe netukakasa omwami
Kazimiri Lusonzi okuba Kiggye n’okufuga essiga erye Bubiro. Era ab’Olukiiko lw’essiga
nabo balonda oyo nga ebaluwa yabwe bweri gyebawandiikira omukulu w’ekika nga
30/10/29. era tukugiwereza nga kuliko emikono gy’Abeemituba n’abo mu Lunyiriri
olulya obwa Kiggye.
Ffe
Ssebo abakusaamu ekitiibwa,
v Zakaayo Kibaale omukulu w’ekika e Kkungu
v Aberenego Kalyankolo ekyalo mwalira
essiga Bulyankolo
v Eriya Senjala ekyalo mwalira essiga
Bugolombe
v Yoweri S. Basaze Lubobi ekyalo mwalira
essiga Kiryowa
v Isaako Gombe ekyalo mwalira essiga
Kiwangaazi
v Kavubya Lurera E. B Mugambe wa mutuba
e Bugambe Zinga
v Elenesiti Senkubuge we mutuba Kitaka
Omutaka Kazimiri Lusonzi akakasibwa
okuba Omutaka Kiggye Oweesiga
No D. 1027/9/30
OBWAKABAKA BWE BUGANDA
Mmengo, Lukiiko
17th
September, 1930.
Oweesaza Sekiboobo.
Kyaggwe.
Copy, eri Z. Kibaale omukulu w’ekika
ky’Empeewo.
Nkuwandiikide nga mpeereza gy’oli
Omwami Kazimiri Lusonzi, Ssaabasajja Kabaka, gwakakasiza mu siga lya Kiggye,
nga amuza mu kifor omwami Siira Kibuuka, eyali Kiggye Ssabasajja, gweyagoba mu
bwa Kiggye.
Ye Siira Kibuuka, abeera mu mairo ze.
Ono Ssabasajja gwawadde esiga anabeera mu kifo gyabadde.
M.L.Nsibirwa
KATIKKIRO
Kabaka Daudi Chwa II akakasa Kazimiri
Lusonzi – Kiggye e Bubiro – Kyaggwe
No.984/29/30
Obwakaba bwe Buganda
Mmengo-Lukiiko
September 8, 1930
Ya Zakayo N. Kibaale,
Omukulu w’ekika ky’Empeewo.
Nkuwandiikidde nga nkutegeeza,
Ssaabasajja Kabaka, amaze okukakasa Omwami Kazimiri Lusonzi mu siga lya Kiggye,
nga okulonda kw’ekika bwekuli,
M.L.Nsibirwa
Katikkiro.
Ssaabasajja Daudi Chwa II alina
kyayagala okumannya!
NO” D. 830/65/29
OBWAKAKABA BWE BUGANDA
Mmengo-Lukiiko
7th
November, 1929
Ya
Omwami Zakayo Nadduli – Kibaale,
Omukulu
w’ekika ky’Empeewo.
Nkuwandiikidde
nga nkutegeeza, ndagiddwa Ssaabasajja Kabaka, nga yeetaaga okumannya ensonga
eyagaana Omwami Kiggye eyagobebwa okubeera mu kuteesa nga balonda Kazimiri
Lusonzi okulya obwa Kiggye.
Era
yeetaaga okumannya obuzaale bwe gyyafuluma okujja okulya essiga lya kiggye.
Neetaaga obimpereeze, nange ndyoke mbiweerezayo.
M.L.
Nsibirwa
Katikkiro.
Weetegereze
kino;
Omutaka
Zakayo Nadduli Kibaale yamuddamu era n’alaga nti olulyo olwo alutegeera bulungi
okuviira ddala ku Mwami Basiiga jjajja wa Siira Nkakya kubanga n’olumbe
olwo lwagerekerwa kitaawe Lukka Ssekamwa Kibaale.
Biki Kabaka Daudi Chwa II byeyali
okumannya ku bwa Kibaale?
No. 399/30.
OFFICE YA
KABAKA,
Mmengo,
BUGANDA
17th
March, 1930.
Ya Kibaale (Zakayo Nadduli e
Mmengo).
Kale neetaaga ompandiikire emirimu gya
Kibaale n’emizizo gye gy’akola ku Kabaka. Kino nkyetaaga nnyo! Era neetaaga
owandiike byonna obimalireyo ddala! Tolekaayo nakimu ne bwekiba kitono kitya,
nakyo kiwandiike. Ne ndyooka ntegeerera ddala emirimu n’emizizo nga bwebyali mu
biro bye Bassekaba ab’edda. Kino kikole mangu.
Daudi Chwa
KABAKA
Emirimu gy’Abeekika ky’Empeewo ku
Kabaka
1.
Mu
Bwakakaba bwa Buganda kimannyiddwa nti, Kabaka ye muntu akkira bonna ekitiibwa
okuva edda lyonna, era addirirwa Kamalabyonna. Naye mu nonno zaffe ng’Abaganda,
Kabaka tawoleza Kamalabyonna ntabaalo, wabula Omutaka Kibaale ye musigire wa
Kabaka mu lubiri nga agenze mu lutabaalo, era ye Kibaale tatabaala.Omutaka
Kibaale, Kabaka gwawoleza olutabaalo nga akomyewo. Omutanda bweyadda nga,
yasanga Omutaka Kibaale amulinze awo ku Wankaaki w’olubiri ku ggombolola, olwo
n’alyoka amuwoleza olutabaalo lwonna nga bwe lugenze. Kibaale amujjako effumu
n’alimennya (okumenya omunyago). Kabaka bw’amala okuwoza olulwe, ate nga adda
mu bukulu bwe nga Kabaka, olwo nga Kibaale adda ku mirimu gye emirala mu
lubiri, ate nga n’abatabaazi abalala bawoleza Kabaka entabaalo zabwe. Awo
Abaganda wettwajja engero enkulu bbiri zino: ‘Mpeewo kinene kyetwala, ne
Kabaka atwalibwa Kibaale’, ne; ‘Kiri mulaala, Omusigire teegulira engabo’.
2.
Omutaka
Kibaale ye yekka alina obukulu obw’ennono obuwozesa Kabaka nga wabaddewo muka
Kabaka alina ensonga gye yeemulugunyiza ku bba. Kino bwekibadde okuviira ddala
ku Ssekabaka Mutebi I eyakibawa.
3.
Omutaka
Kibaale Kutawula Abakungu ba Kabaka nga babadde basoowaganye.
4.
Omutaka
Kibaale yaggula Kabaka nga wabaddewo olumbe lw’omwana w’Engoma lw’ayabizza.
Kino bakikola n’Omutaka Nakatanza owoolugave, naye nga Kibaale yakulembedde.
5.
Omutaka
Kaayimbyobutega ye yayiggiranga Ssekabaka Kintu enkwale, anti abeekika
gy’empeewo baggya ne Ssekabaka Kintu.
6.
Okulasa
mujaguzo; Kibaale, Namasole, ne Mulamba(Ngabi). Kibaale ne Kabaka bebasuula
kamuntu mu mujaguzo, eregebwa Kiregga ow’empologoma.
7.
Okumala
abalongo e Kajjaga.
8.
Omubaka
wa Kibaale yakulembera enjole ya Kabaka, nga
bwekyali ku Ssekabaka
Mwanga II Y.L.Musajjaalumbwa
Kibaale eyakulembera
enjole ya Ssekabaka Daudi Chwa II
yali Asoni Kitamirike ate
lubuga yali Victor Nampakubi,
muwala wa Zakayo Nadduli
Kibaale, ate ku Muteesa II yali Amos Ssenkaali Kibaale ne Mbazira Kelement
Kaggo we Kasubi.
9.
Kabaka
bweyalwalanga, nga Lubuga wa Kibaale nga yamukuuma.
10. Okuwanda abalongo, n’abaana abalala ba
Kabaka ku ssanga(olubalaza) owa Wankaaki. Ente ya kyasa mwemwava nga omuzigo
ogwakolanga emikolo gya Ssekabaka. Ebintu bingi Omutaka Kibaale byakola ne
Kabaka bingi ebyatwekisize.
11. Omutaka Kibaale ne Kabaka bokka
bebakozesa omulyango Naalongo Kagerekamu ku Lubiri n’ebirala bingi ebiri
ebyekyaama wakati wa Kibaale ne Kabaka.
No. 399/31.
Office ya Kabaka.
Mmengo – Buganda
27th
March, 1930.
Ya Kibaale.
Mmaze okulaba ebbaluwa eya March
20,1930 nga ontegeeza ebigambo byonna ebifa ku Bwaami bwa Kibaale, era byonna
byowandiise mu bbaluwa birungi ddala era mbitegedde bulungi. Naye neetaaga
ontegeeze engeri ddala nga Kibaale bweyalondebwanga nga Kibaale omulala abadde
afudde oba nga avudde mubwa Kibaale.
Daudi Chwa II
Kabaka
Biki
ebyaddirira nga Omutaka Zakayo Nadduli-Kibaale azaamye?
No. 399/32
OFFICE YA
SSAABASAJJA KABAKA
LUBIRI –
MMENGO
P.O.BOX 58,
KAMPALA, UGANDA
16th
AUGUST, 1932
Ya
Baana ba Sekamwa,
Mbasaba Kibaale omusigire wange.
Omusika namulaba naye nga ebigambo bwebiri eby’enjawulo ennaku zino era nga
engoma y’Obwakibaale bwenjagala okugirongosa erabikeko mu ngeri y’ebiro
bino, ndabye nga nsaana okubera ne Kibaale amanyiko ku bya wano wendi,
era abantu gwebamanyi gyebanatwalanga ekigambo nakyanjula eri Kabaka.
2. Mbasaba mulowoze nnyo ku kigambo
kino kubanga kikulu nnyo era mwe bennyini batabani ba Sekamwa, era kikulu nnyo
eri ekika ky’Empeewo era kikulu nnyo eri Kabaka n’Obuganda bwe.
Nze munnamwe.
Daudi Chwa,
KABAKA
Copy eri Katikkiro Mmengo
Kimannyiddwa nti oluvannyuma lw’okufuna
obweralikirivu bwa Kabaka Daudi Chwa II nga bwekyeyoleka mu bbaluwa eyo, abaana
ba Luka Sekamwa basalawo nebalonda munnabwe Omutaka Erisa S.Sonko, era tulaba
nga abaana ba Kibaale Lukka Ssekamwa Kibaale ababiri Abasiraamu Sahibu
Mukasa ne Sale Tegawoma Kibaale bajukiza Owek. Katikkiro Martin
Luther Nsibirwa mu bbaluwa eya 23rd December, 1932
(Emikono gyabwe gyali mu mpandiika ya Luwalabu).
Ebbanga 1933-1939
Awo tewaaliwo ndoliito zonna mu kika
ky’Empeewo era Omutaka Erisa.S.Sonko Kibaale ye yali Omukulu w’ekika ky’Empeewo
kyonna newankubadde ab’ Bubiro bamu bafunangamu obuzibu ku munnabwe Siira
Nkakya eyaliko Kiggye okusigala nga akyeyita Kiggye kubanga ye yali ekyapa kya
mailo ky’ettaka eryo.
Obujulizi
webuli obulaga ddala nti ennyimbe zonna okuva mu b’ekika ky’Empeewo
bayanjalurirwanga Erisa Ssonko Kibaale eri Kabaka.
Ebyaaliwo
ku nkomerero y’Omulembe gwa Ssekabaka Daudi Chwa II ku kika ky’Empeewo
Ssekabaka Daudi Chwa II yazaama
mu Museenene wa 1939, era bino
by’essimba ebyali mu kika
ky’Empeewo mu budde obwo:-
Ø
Omutaka
Erisa Ssonko ye yali
Kibaale Omusigire, era
Omukulu
w’ekika ky’Empeewo
ng’ebiwandiiko by’abasika
byonna bwebiraga
(1933-1941).
Ø
Ekika
ky’Empeewo kyalimu amasiga 8 gokka n’olunyiriri lwa Kulubya olw’akasolya omuva
abalya Obwakibaale nga lukelembera Wycliff Andrew Sekamwa Mudeka.
Ø
Essiga
lya Kiggye e Bubiro mu Kyaggwe nga likulemberwa. Omutaka Kazimiri Lusonzi
eyadda mu bigere bya Siira Kibuuka Nkakya eyagobwa olw’okunyooma Kabaka
n’ekiragiro ekya 1919 nti Kibaale ye Mukulu w’ekika ky’Empeewo kyonna!
Erisa Ssonko agobwa ku bwakibaale
olw’okuvuma olukiiko mu 1941
Obudde
obwo bwali bwabwerinde nnyo nga kiva ku kufumbirwa kwa Namasole Druscilla
Namaganda ne Peter Kigozi Abataka abakulu bangi baakiwakanya, naye Katikkiro
n’abaami abamu bwebeebuuza ku bakadde b’ekkanisa nebakisemba Kino kyatabula embeera Ku ludda
lw’ekika ky’Empeewo Omutaka Erisa Ssonko Kibaale yakkiriziganya ne Katikkiro kuba
bombi baali bantu bannaddiini.
Mu
bakulu abaasemba Namasole addemu okufumbirwa mwemwali ne Erisa Ssonko Kibaale,
Ham Mukasa Ssekiboobo ne Festo Manyang’enda, era n’emikolo baagiriko. Mu
kuvaayo emotoka zaabwe abantu baazikuba amayinja, era Omutaka Erisa Ssonko
n’avuma ab’Olukiiko olw’obutamanya nti mu Buganda Kabaka asobola okudibya
akalombolombo konna!
Ab’Olukiiko
e Mmengo webaava okunyiigira Erisa Ssonko, era bonna nebassa kimu agobebwe ku
bwa Kibaale nga balaba tabeere Musigire mulungi mu kuwabula Kabaka. (Naye
olowooza ani yakunga ab’Olukiiko nga ne Silas Mpiima Musajjalumbwa omwana wa
Siira Nkakya eyaliko Kiggyen’agobwa mu 1929 yali mukiise?
Bwekityo
bwekyali era Kabaka n’alonda Katikkiro omupya nga ye Samwiri Wamala
eyali owesaza Ssebwana ate nga mukwano gwe. Mu 1943 nga wakayita emyaka ebiri
Erisa
S.
Sonko bukyanga agobwa, Kabaka Edward Mutesa II yasaba Abaami be abakulu
abeddira Empeewo bamulondere Kibaale kubanga ab’e Kkungu baali beeremye nga tebalaba
nsonga egobye Erisa Ssonko ku bukulu bwa kika nga ate ye mukulu eyaliwo.
Mu
kiseera ekyo (1943) Omwami Silas Mpiima Musajjalumbwa eyali mukwano nnyo gwa
Katikkiro Samwiri Wamala era nga baava dda u bibiina by’obwegaasi e Kyaggwe era
nga yali alondeddwa okuba Omuwanika y’Enkuluze ya Kabaka, era nga y’omu ku
Bakaba ab’enjawulo aba Kabaka mu lukiiko weyasinziirira n’amera. Yamera ddala
nga ayagala okuwoolera eggwanga olwa ab’e Kkungu okugovya kitaawe ku bukulu
bw’essiga n’okutussa emirerembe gy’okuboola bazzukulu ba Kayimbye-obutega.
Ani
yalondebwa ku bwa Kibaale Omusigire, era Omukulu w’ekika ky’Empeewo nga Erisa Ssonko avuddewo?
Ebyaddawo
biraga nti Omw. Amos Musoke Senkaali ye yalondebwa mu 1941, era
abaamulonda nga beeyiita b’amasiga agaali gatamanyiddwa mu kika ky’Empeewo, era
nga bamuyita mutabani Lubuulwa, mutabani wa Sseryazi muzzukulu wa Kiggye.
Okulondebwa
kwe kwali kwamankweetu kubanga n’abaamulonda beeyiita bamasiga 24 agaali
gatawuulirwangako mu kika ky’Empeewo Ekyo kyonna kyava ku bukulupya bwa Silas
Mpiima Musajjalumbwa. Omuntu gwebaaleeta bamujja Kibone era nga wa
Lunyiriri lwa Kulubya lwannyini omuva abalya Obwakibaale, naye ng’oluggya olwo
lw’emabega ddala Gwebaaleeta baali tebasobola kumulambika buzaale bulungi nga
bwekiragiddwa waggulu. Omuntu alya Obwami mu mpisa y’Abaganda tayanjulibwa mu
kiboggwe atyo! Baali balina okulaga okutambula kwa Amos M. Ssenkaali okutuuka
ku jjajjawe bo gwebaali bamanyi nti yalya ku ng’oma ya Kibaale ku Kabaka yenna!
Bazzukulu
ba Lukka Sekamwa baakola ki nga balabye Kibaale omulala alondeddwa?
Nga
bakulembeddwa oweesiga Timutewo Bbwaddene Kalyankolo n’baamasiga abalala ku
gali 7 agaali gamanyiddwa baawandikira Kabaka okuyitira ewa Katikkiro ku nsonga
eyo.
Byebaategeeza
Kabaka tubifuna okuva mu bbaluwa ya Kabaka yennyini ng’abaddamu.
Ekisinga
obukulu nti Kabaka Sir Edward Muteesa II Ensonga enkulu ez’okwekeneenya
obuzaale bw’omuntu eyaweebwa eng’oma ya Kibaale yagiwewa, era eng’oma
n’agisobya!
Ssekabaka
Sir Edward Muteesa II awubisibwa okumenya ekiragiro No. 6139 ekya kitaawe ne
Gavana ku kika ky’Empeewo
No. 567/129/K.
Office ya Ssabasajja Kabaka w’e
Buganda
Mmengo – Lubiri,
25th May 1943
Ya Temitewo B. Kalyankolo ne
banne.
C/o Gombolola ya Ssabawali –
Kyaddondo.
Kkungu
u.f.s. Katikkiro n’Olukiiko – Mmengo
1. Nkuwandiikidde okukutegeeza nti
maze okufuna ebbaluwa yammwe ey’olunaku 1st May 1943,
era n’ebbaluwa endala ezaasooka nga muntegeeza nga bwemutaasiima nsala ya
Lukiiko ey’empaka zammwa ku nsonga ya Kibaale.
2. Bwemaze okulaba ebigambo byonna
ebifa ku mpaka zino, era n’okuva mwebyo byemwannyinyonyola nga muli mu maaso
gange, nendaba ng’ensonga enkulu ezibakaayanya ze zino:-
1. Mugamba nti Erisa Sonko
yagobwa mu bukyamu ku bwa Kibaale awatali nsonga.
2. Mugamba nti Ssekabaka Daudi Chwa
yagumala era n’alagira n’obutaguddamu lwakubiri.
3. Mugamba nti enda eya Sekamwa y’erya
Obwakibaale.
4. Mugamba nti amasiga gali 24
temugamanyi mu kika kyammwe, wabula mumanyi amasiga 8 gokka.
5. Mugamba nti ennonda ya Kibaale
teyagoberera mpisa ey’edda erya
Obwakibaale.
Ensonga ezo etaano nzinyonyola
bwenti:-
(a).
Okuva mu kulaba kwange Erisa Sonko yaliko omusango si kubanga yali ku ludda lwa
Martin Nsibirwa eyali Katikkiro mu kiseera ekyo, naye lwakuba yavuma Olukiiko,
era okugobwa kwene kwakakasibwa n’oweekitiibwa Gavana.
Bwewali
wano mu maaso gange ku lunaku lwa 15th May 1943 wakkiriza nti Erisa
Sonko yaliko omusango era wayatula nti yasaanira ekibonerezo.
(b).
Omusango guno gwa njawulotegufaanana ogwasooka. Omusango ogwasooka gwali ku nsibuko
ya kika kyammwe naye guno gwa kulonda Kibaale n’olwensonga eyo ekiragiro
ekyaweebwa ku musango ogwasooka obutagukomyawo lwakubiri tekikwata ku guno.*
(c).
Bwewali wano mu maaso gange wagamba nti Amos Senkaali naye ava mu lunyiriri
olulya Obwakibaale. Obanga kino kiri bwekityo atenga yalondebwa abantu
ab’ekika kyammwe abasinga obungi era ne Kabaka n’amala okumukakasa siraba
nsonga ky’ova ogamba nti si mutuufu.
(d)
Ekigambo ky’Amasiga 24 oba makakafu oba nedda ekyo si kiyingiddemu
kubanga ekika kyekirina obuyinza okwesizaawo amasiga.
(e).
Olw’okubanga mwe mwaweebwa eddembe okulonda Kibaale naye nemulemererwa Olukiiko
kyerwava lusiimako omuntu eyalondebwa abantu abangi.
Olw’okubanga
Senkaali ava mu lunyiriri olulya Obwakibaale atenga yalondebwa abantu abasinga
obungi era n’akakasibwa ne Kabaka kizibu okumujjako Obwakibaale.
Amos
Musoke Ssenkaali akulembera ekika ky’Empeewo nga ye Kibaale Omusigire, era Omukulu
w’ekika okuva mu 1942 okutuuka lwebyatabuka
Mu
kusooka nga yakalondebwa amasiga 24 agaagunjibwawo Kiggye okuva mu mituba
gy’essiga eryo n’empya enkulu mu Kyaggwe. Omwami Amos M. Ssenkaali obuwanguzi
bweyafuna okuva eri Ssekabaka Sir Edward Muteesa II nga tubusomye waggulu
bwamuwaliriza okubeera omwetowaze eri Omukungu wa Ssabasajja oyo Silas Mpiima
Musajjalumbwa eyali akoze ennyo ekinene okumuyisaawo. Kale mu ngeri eyo
yasalawo amakanda mw’akakkaliriza eby’Obukulu bw’ekika okugassa e Kibuye awaali
akabanja ka Siira Nkakya eyaliko Kiggye nga Daudi Chwa II tanamugoba mu 1929
olw’emputtu.
Kyeyasookerako
mu 1944 mbu kwefuna ebbaluwa eyava ew’Omutaka Kitanda ow’akasolya
k’ekika ky’Enjaza eyali ayagala bazzukulu be abe’nda ya Lule Kantinti
abasibuka mu Nanziri eyatta omukago ne Nadduli Kibaale ku mulembe gwa Ssekabaka
Ssemakookiro! Mu buli ngeri naye yasooka n’abuguumirira kubanga aboogerwako be
baali baagala okumusuuza eng’oma y’Obwakibaale!
Ekikolwa
kino kyali kisukka obugwi bw’eddalu, naye nga byonna abijweteka teyali mulala
wabula enda ya Siira Kibuuka Nkakya ne munywanyi we Eria Ssekamwa
Lubinga abaali baakakkanyizibwa Ssekabaka Daudi Chwa II ku kiragiro Memorandum
No. 6139 ekya 1925 n’okugobwa kwa Siira Nkakya ku bwa Kiggye mu 1929!
Mu
kiseera ekyo badyekadyeka Omwami Amos M. Ssenkaali Kibaale nti ye abeera
Musiige eri Kabaka asiigibwayo Jjaajjawe Omutaka Kiggye, n’alyoka afuuka
Omusigire wa Kabaka! Ekyo butereevu kyali kikyamu naye olw’engeri eya mankwetu
Amos Ssenkaali gyeyalondwamu ng’ate tamanyi kikolebwa tanenyezebwa.
Oluvanyuma
lw’okuwabulwa Amos Musoke Ssenkaali Kibaale yakyusa embuga ye okuva ewa Kiggye
eyali atandise okubuzabuza n’adda e Nateete mu Kyaddondo ng’ebbaluwa zonna
ez’obuddee 1943 – 1966 zetwakalabako bweziraga mu kwanjula enyimbe n’obusika
obwaliko mailo.
Ebya
Amos M. Ssenkaali okuboola ab’enda ya Kantinti Kibaale ng’ayitidde mu b’Enjaza
tebyalanda nnyo mu budde obwo, era yabyeenenyeza ddala!
Ab’e
Kkungu bagondera Kabaka era bakkiriza Amos M. Ssenkaali Kibaale
Embeera mu kika ky’Empeewo 1943 – 1960
Omutaka
Amos Senkaali Kibaale
yafuna obuvumu ng’ayambibwako bazzukulu ba Lukka Ssekamwa Kibaale bennyini.
Enda eyo eya Sekamwa baakwata ensonga y’obuboorebwa mu ngeri ya kikungu ddala
kuba baali bayivu ddala ate nga baana ba bannaddiini ddala omuli ne Canon
Nathanel Ssesanda Mudeka (yagalamizibwa ku Namirembe Cathedera!).
Mu lutabaalo luno baalagira ddala enjawulo wakati w’obuyivu n’obugunjufu
obuli mu bantu abeempeewo e Kkungu ewa Kibaale aba Kiggye e Bubiro.
Mu
kiseera kino ekkonda ly’okuboola ab’e Kkungu nga likulemberwa Silas Mpiima
Musajjalumbwa eyali afunye ku ddoboozi eri Ssabataka lyeyubulira ddala,
era nekyeraga lwatu nti yali amaliridde okutuukiriza ekyalema kitaawe Siira
Nkakya Kibuuka eyaliko Kiggye.
Muddu
awulira y’atabaaza engule ya Mukamaawe, era bwebatyo bazzukulu ba Kayimbye – obutega yaabondera
Ssabataka nebakkiriza Amos M. Ssenkaali nga Kibaale, era ennyimbe zonna
ezaaliwo mu budde obwo mu Lunyiriri lwa Kulubya nga kuliko omukono gwa Wycliff Mudeka
eyakolanga ne Zakayo Nadduli Kibaale nga baziyisa wuwe. Laba ebbaluwa z’ennaku 11.02.1958
ne 6.05.1958.
Kinajjukirwa
nti obuzaale bwa Amos Musoke Ssenkaali obutuufu buli mu Lunyiriri lwa Kulubya e
Buyozi – Kkungu – Kyaddondo mu mbuga ddala eya jjajjaawe Kibaale, era eyo
gyebaamusa mbu mu ssige lyea Sseryazi e Bbula – Kkungu – Kyaddondo
byabwewussa!
Obuwandiika
bungi ddala naffe obuyambye okulambika ekitabo kino bwanonyezebwa Wycliff A,
Mudeka wakati 1953-1960 ng’ayagala okumanya engeri Ssekabaka Daudi Chwa
II ne Gavana gyebaasalamu omusango ku bukulu bw’ekika ky’Empeewo mu 1925 (Memorandum
No. 6139).
Ekiwandiiko
Rev. P. Kakooza ky’ajuliza Ssabataka mu1992 nga kya 26.01.1960
Kino
sinafuna mukisa kukisomako, naye Rev. Polycarp Kakooza eyali Ssentebe
w’Akakiiko akasookerwako kunsonga z’ebika nga tebinagenda wa kkooti eyali
eteereddwa okutaawuliza empaka mu busika mu bika atulaga ku nyiigo 4 nti:-
“Ensonga
z’obukulu bw’ekika ky’Empeewo zeeyongera okuyingirwamu Ssekabaka Muteesa II
eyalangirira mu KIWANDIIKO ekya 26/1/1960 nti KIGGYE ye mukulu
w’ekika ky’Epeewo nga KIBAALE MUSIIGE WA KIGGYE eri KABAKA”.
Ekyo
nkiyita kuwubisa bakulu ddala! Kimanyiddwa nti empaka zonna okuva mu 1913
zaggweera ku kiragiro Memorandum 6139 ekya 1925, era ng’omuweereza w’Obwakabaka
bw’e Buganda yenna omwesimbu ky’alina okunoonya amazima gaakyo g’akisima
n’okugya kwaakyo.
Ebyo
nkiyita kuwubisa bakulu ddala! Kimanyiddwa nti empaka zonna okuva mu 1913
zaggweera ku kiragiro Memorandum 6139 ekya 1925, era ng’omuweereza w’Obwakabaka
bw’e Buganda yenna omwesimbu ky’alina okunoonya amazima gaakyo g’akisima
n’okuggya kwaakyo.
Ebyo
ebinokoddwawo Rev. P. Kakooza kisaana kimanyibwe nti yali katundu ku nnyiigo
y’ekitabo ekyawandiikibwa mu 1945 abaawangulwa mu mpaka z’ekika bo bennyini
zebatandika mu 1913, era ng’ekyokwebuuza kiri nti, Lwaki baakandirira
bwebatyo okuva mu 1915 nga bawangudde, ate nebawandiika mu 1945
nga n’abaali mu mpaka bonna bafudde baweddewo, era n’ekitabo n’ekyijula byali
mu musango nga tebalambika buzaaliranwa bwa kika nga Zakayo bweyakola mu kitabo
ky’ekika ky’Empeewo ekya 1901?
Bwekiba
ng’ekyo Ssabataka kweyasinziirira okukakasa Paul Dan Mbazzi ku bukulu bw’ekika
ky’Empeewo kyonna nga bwekirabika mu bbaluwa ya Ssebataka eya 2nd
December 1992, eri Ssentebe wa Court ewozesa emisango g’Ebika, abaddu be
bamuwubisa. Era mbeera kubanga nze muwa amagezi nandimusabye abyite buto, era
nebwebaba baafa wakiri abaabasikira bayitibwe bawoze ku lwa bakitaabwe
babitebye kuba kyali kibaddewo mu Byafaayo by’ekika ky’Empeewo ku Ssekabaka w’e
Wamala.
Bassekabaka
ba Buganda abamannyiddwa nti betanira nnyo okumanyi amazima baali ow’e Kasubi
nee Daudi Chwa II. Sir Apollo Kaggwa ye yawandiika nti Mukaabya bweyakizuulanga
nti omulimbye ng’eyiyo bavunika. Ate Daudi Chwa II nze muwandiise lwakuba
bwensoma engeri gyeyakwatamu omusango gw’obukulu bw’essiga lya Kagolo mu
1931 mu kika ky’Olugave yali naambulukufu nnyo.
Ekika
ky’Empeewo mu biseera bya Sir Edward Muteesa II ebyasembayo
Ekika
kyali kulemberwa Omutaka Amos Musoke Ssenkaali Kibaale nga ye Musigire wa
Kabaka, era Omukulu w’ekika ky’Empeewo kyonna.
Olw’okuba
waaliwo olutabaalo olwakolezebwa Omukungu wa Kabaka nga ye Silas Mpiima
Musajjalumbwa olwali tutanaba kugguka, ate ng’alaba ne Amos Senkaali anywedde
olw’amaanyi agava mu mbuga e Kkungu, olwalondebwa ku busika bwa kitaawe mu 1954
n’awaga!
Ebiwandiiko
bya mutabani we biraga nti yasikira kitaawe Siira Nkakya Kibuuka Matama
eyali Kiggye nga 13.09.1954, era bweyamala ‘abamasiga’ ga Kiggye
nebamulonda okuba Kiggye, era n’akola n’emikolo nga bwegibeera. Wano baamenya
akalombolombo akakadde, ate nebateekawo akapya nga bwebagamba.
Okulondebwa
kwe kwawakanyizibwa George Mukasa Mpiima n’abalala, era nga baamuvunaana
nga 21st August 1961 ogweyita Kiggye (kuba Kiggye yali
amanyiddwa nti Kazimiri Lusonzi eyalondebwa mu 1929 okudda mu kya
Siira Nkakya), era n’okweyita Jjajja w’ekika ky’Epeewo, ate
ng’ekituufu jjajja w’ekika ye Katimbye-obutega! Tebyakka mirembe kubanga
n’abo abayitibwa abamasiga ga Kiggye abalala beeyunga ku Omwami Silas Mpiima
Musajjalumbwa (ndowooza olw’ebibanja byabwe okubeera ku mailo eyali efuuse
eyiye mu busika), era nebawandiikira Katikkiro M. Kintu nga 4th Nov
1961! Mu bbaluwa eyo mu katundu akasembayo balaga nti aba Kiggye beewaggula
nebafuna obujajja obwabwe obutali bwa Kayimbye-obutega (Ebbaluwa y’Abamasiga ga
Kiggye bano Kkooti ya Kisekwa egirinako copy ku musango NO. KD, 02/99)
Okwewoza
kw’omuwawaabirwa kuli mu bbaluwa ye eri Owekittibwa Katikkiro Maichael Kintu
eya 25th January 1962, era nga mu nyiigo 5 ayogera ku nsala
ya Ssabataka gy’ataaawereza copy! (Okwewozako kuno Kkooti ya Kisekwa egirinako
copy ku musango No. KD, 02/99)
Mu
kuwumbawumba, ebbanga 13.09.1954 – 25.01.1962, ekika ky’Empeewo balina
Omutaka Amos M. Ssenkaali Kibaale ataliiko amuwakanya nga Jjajja, era Omukulu
w’ekika k’Empeewo. Ate mu kiseera ky’ekimu waliwo Omwami Silas Mpiima
Musajjalumbwa eyeeyita Kiggye Jjajja w’ekika ky’Empeewo naye nga
siyakyikyikirira mu Lukiiko lw’Abataka, era ng’agamba nti Ssebataka naye ye
yamutongoza. Ekibuuzo: Ssabataka ataamenyawo nsala za kitaawe, era
eyagaana okujja Obwakibaale ku Amos M. Ssenkaali mu 1943, ate kati nga
25.01.1960 yasala ki?
Bazzukulu
ba Kibaale e Kkungu baali ku ki mu budde obwo 1960-1966
Olunyiriri
lwa Kulubya (nga bakulemberwa Wycliff Ssekamwa) lwasigala luwulize eri Omutaka
Amos M. Ssenkaali, era nebagezaako okumunoonyeza ebiwandiiko ebitongole okuva
ewa Chief Secretary ategeerere ddala obukulu bweyali ayambadde webunywerera mu
mateeka ng’Obwakabaka bwa Buganda n’Abafuzi b’ettwale.
W.K.S Mudeeka,
P.O.BOX 544,
KAMPALA
26th April, 1960.
The Honourable Chief Secretary,
Entebbe
Dear Sir,
Your ref. No. 6139 dated 22nd
July, 1925
I
am interested in the decision of his Excellency the governor referred to above.
This was a decision in an inter-clan dispute as to the headship of the Mpeewo
clan.
There
is a fresh disput on simial line and as this decisison would be of great help
to members of the clan in reaching a decision. I shall be most grateful if you
would favour me with a copy thereof. I undertake to pay the necessary fees if
any.
I am
Sir,
Your obedient servant,
(W.S.K. MUDEEKA, Esq)
Okufunza Wycliff Mudeeka ky’asaba;
Ayagala kumannya Governor ky’eyasalawo
mu mwaaka gwa 1925 ekyali kiraga ekirowoozo kye ku kuwozanganya wakati
w’Abataka mu kika ky’Empeewo. Awa ensonga nti, kirabika okusika omuguwa ku
nsonga y’emu kukomezeddwawo, era nga akiraga nti, ekyasalibwawo ku luli
kyandiyamba okulaga abakayana ekkubo.
Wycliff
Sekamwa Mudeka addibwamu
S.M.P No. 6139
Chief Secretary’s Office
P.O.Box 5 Entebe-Uganda.
7th May 1960.
Sir,
I have the honour to refer to your
letter dated April 26, 1960 requesting a copy of Memoreandum No. 6139 dated
July 22, 1925 from this office to the Provincial Commissioner Buganda then, and
to advise that you should contact the Resident Buganda direct, who will advise
and assist you in this matter as may consider desirable and fit.
Okufunza
ekyandibwamu Wycliff Sekamwa Mudeka.
Omungereza
ono gweyawandiikira amuwa amagezi ensonga ye akyokereze eyateekebwa
okukwasizako Abagereza ku nsonga za Buganda (Resident Buganda), kubanga
mu kulaba kwe, oyo ye muntu omuntu asobola okusalawo kyalaba ekisaanidde.
W.K.SMudeka
teyawumula era yawandikira Resident Buganda, naye temuteguwa namuwa okusalawo
kwa Kabaka Daudi Chwa II okwa 1919. Era n’amutangaaza nti omusango ogwo
gwegwavaako Governor ne Kabaka Daudi Chwa II okubaga Endagaano
y’emisango gy’Ebika by’Abaganda eya 1924 – The Uganda Agreement (clan
cases) 1924.
Ekika
ky’Empeewo lwekyayawulwamu mu butongole
Owek.
Katikkiro wa Buganda Micheal Kintu nga bakava ku Meefuga mwebaasobola
okumegga Ben Kiwanuka ne DP yonna yali yakatuula mu Office ye, ensonga
y’abazukulu ba Kayimbye-obutega n’ekomawo, era nga ku luno baali baagala
busigire bwabwe n’Obukulu bw’ekika kubanga baali balabye nti Amos M.
Senkaali takyabiyinza olw’amaanyi amangi agaali gava ku Mukungu wa Ssabasajja Omwanika w’Enkuluze, era
Omubaka wa Kabaka mu Lukiiko lw’e Mmengo Silas Mpiima Musajjalumbwa
eyali atandiikiriza okweyita jjajja era Omukulu w’ekika, ate nga bo baali
bamukkiriza ng’oweesiga lya Kiggye e Bubiro.
Katikkiro
yawandiikira Omukungu oyo Silas Mpiima Musajjalumbwa, era kuno kwekwali
okuddamu kwa Nnantagambwako oyo ku muko oguddako mu butujuvu.
Mu
byonna yalaga nti mu mwaka ogwo ye yali amaze okukwasa bazzukulu ba
Kayimbye-obutega bonna eri Omutaka Kitanda ow’Enjaza kubanga yali abamusabye
nga jjajja waabwe kubanga baali banywanyi ba mukago era nga kyebafuula baganda
baabwe okuva ku mukago wakati wa Nanziri ne Omusigire Nadduli Kibaale wa
Ssekabaka Ssemakookiro.
Byonna
ebiraga omukago ogwogerwako byali si bipya mu kaweefube wa ab’e Bubiro okwagala
okwekutula ku b’e Kkungu, naye nga ekibalemesa baali bayimiridde ku nsonga
yakujingajinga bigambo.
Ekyo
kiwandiika lwa nsonga nti, empaka zino zaaliwo ebbanga ddene nnyo
bwetugerageranya okuva mu mwaka gwa 1913 okutuuka ku mulembe Silas Mpiima
Musajjalumbwa gw’awandiikirako mu keetaalo ka 1962. Mu mpaka zonna ezo
okutuukira ddala mu 1929 Ssekabaka Daudi Chwa II lweyafuumuula Omutaka Siira
Nkakya ku Bwakiggye tewaliwo buwandiike bwonna wadde ensala yonna eyalaga nti
omuwawaabirwa Zakayo Nadduli Kibaale yali wa kika kirala; kubanga eyo
yandibabadde nsonga erimu eggumba, era eyali teyiinzibwa kubuuka liiso lya
Kabaka n’erya Gavana Kaleno ekyo amazima eky’OBUBOOLA abantu be Kkungu
ab’enda ya Nanziri lyali kkubo lya Kiggye kwetengerera nga bweyali akyagala
kuva dda. Nanziri teyagwa Nama nga bwebabijweteka!
Ate
wootegeerera nti byali bintu bigunje kyakuba nti ababoola tebasobola kulambika
buzaale bwa Nanziri ayogerwako bulungi. Bagamba mbu Nanziri yali mwana Kaweke
ow’enjaza, era nga Kaweke oyo y’azaala Lule Kantinti Kibaale ekintu ekitali
kituufu n’akatono. Kaweke ayogerwako teyaleka mwana ku nsi, ate era Kaweke oyo
ye mwana bwana owa Nanziri e Kitinkokola mu Ssingo.
Office y’omutaka Kiggye.
Omukulu w’ekika ky’Empeewo
Kibuye Kyaddondo
9th November 1962
Oweekitiibwa
Katikkiro n’Olukiiko,
Mmengo
– Buganda
Oweekitiibwa,
Bwenali
musaango nga 7th September 1962 wandagira nkunyonyole ku
nsonga z’abazzukulu ba Kayimbye-obutega ze baleeta gyoli nga balina
obweralikirivu eri nze Kiggye Omukulu w’ekika ky’Empeewo ne Kibaale omusiige
wange eri Kabaka gwawa obusigire bwe mu Lubiri.
Oweekitiibwa
ensonga ezo zombi zamaladda okusalibwa Ssaabataka. Laba mu bbaluwa ya
Ssaabataka Kabaka gyeyakuwandiikira eya No. 44/C/III, ey’olunaku 23rd
March 1960. Mu kitundu eky’okubiri ne ekyokusatu ebigamba biti: - “Kirungi bano obayite obategeeze nti:
Obukulu bw’ekika era n’Obujajja, namala okubusala, Kiggye ye jajja era ye
mukulu wekiika ky’Empeewo.” Gyewamperezako copy yayo.
Ate
laba bbaluwa ya Ssaabataka Kabaka eya No. 44/C/III, ey’olunaku 27th
March 1961. Mu kitundu ekyokubiri, ekigamba nti,” ensonga z’obukulu
bw’ekika ky’Empeewo nazimala dda era nga ne Kibaale gwebansigira akyaliwo
sinaba kusaba mulala.”
Era
wetegeereze ensala ya Ssabataka Kabaka eya 15th February 1915
neya 25th May 1943 ku nonda ya Kibaale Amos M.
Senkaali.
Era
wetegeereze n’ensala ya Ssaabataka ku by’Obusiige n’Obujajja eya No. 44/C/III eyo
lunaku olwa 26th January 1960. Copies z’ensala
z’emisango egyo janjuliddeko ziizo nzikuweereza, zombie eya 25th
May 1945 neya 26th January 1960 mweyagattira ensala
zonna.
Ensala
za Ssaabataka ezo zendaze waggulu tetwawukana nazo era zetunywerereko ddala.
Eky’enkomerero,
Owekittibwa, nsaba n’obuwombeefu okukakasa nti bazzukulu ba Kayimbye – obutega-
nokutegulula namala dda okubakwasa jajjaabwe oyo ayogadwako waggulu nga 29th
September 1962; n’olwekyo byonna ebibakwatako mu ngeri y’ekika bateekwa
kubikolagana ne jajjaa bwe oyo Kayimbye – obutega – nokutegulula.
Nze Ssebo
Akusaamu ekitiibwa
S.M. Musajjaalumbwa
Kiggye.
Omukulu w’ekika ky’Empeewo.
Weetegereze
kino: Mu keetalo ka Bannayuganda
Okufuna
Amefuga mu 1962 nga bw’okyiraba mu
Kifaananyi
wansi, ye Silas Mpiima Musajjalumbwa
Akulaga
nti Ssekabaka Sir Edward Muteesa II mu
Budde
bwennyini obw’emikolo mbu bweyasalirawo
Nga
ye Kiggye bwali jjajja, era Omukulu w’ekika
Ky’Empeewo!
Ebiseera
bino byali bya bwerinde nnyo
Olw’empalana
kakkuzi abavubuka ba KY gyebaali
baguddewo
ku bawagizi bonna aba DP mu
kunoonya
obululu. Eby’okulonda kwonna Kabaka
yabirimu
ng’ayitira mu babaka be 6 ab’Olukiiko e
mmengo,
era nga ne Silas yali omu ku bo. Awo
weyasinziira
ndowooza okwagala okuwudisa buli omu
Ani
alina ensala ya ssekabaka Sir Edward Muteesa II eya 1962
Bazzukulu
ba Lukka Ssekamwa Kibaale kyebajja ewa
Chief
Secretary nga 7th May 1960 tubiteggedde nti
byonna
byetoloredde ku Memorandum No. 6139 eya
1925,
era ng kimanyidwa bulungi nti siira Nkakya
Kibuuka
Matama yali yagobwa ku bukulu bw’essiga lya
Kiggye neriweebwa Kazimiri Lusonzi mu 1929.
Tubadde
tukyalowooza ku nsala ekwanjuliddwa
Omwami
Silas Mpiima Musajjalumbwa eya 25.10.1962,
Ate
netulaba nti n’obukulu bweyali yeeyimirizaamu
Okuboola
enda Luuka Ssekamwa Kibaale tebwali
Bubwe
mu kiseera ekyo , era nebwebandibadde obubwe
bwali
tebulina buzito kuboola mutaka w’akasolya kubanga kiggye mutaka wa ssiga e Bubiro mu kyaggwe, eyandibadde
yetaaga abamasiga gonna 8 agamannyiddwa
nga bwegalagwa Kibaale nti bebakola ekika mwebamuwoleza, so si gali 24
amajweteke omutaali ssiga na limu
ku
masiga 8 Kabaka ne Gavana gebaamenya batuuke n’okuwa Memorandum
No.
6139 eya 1925.
Okwewoza
kwo’omuwawaabirwa Silas Mpiima Musajjalumbwa olw’okweyita Kiggye era mbu
jjajja Omukulu w’ekika ky’Empeewop era ekiwayi ky’e Kkungu n’akissa mu kika
ekirala kuli mu bbaluwa ye eri Owekitiibwa Katikkiro Macheal Kintu eya 25th
January 1962, era nga mu nyiigo 5 ayogera ku nsala ya Ssabataka Gy’ataaawereza
copy! (Okwewozako kuno Kkooti ya Kisekwa egirinako copy ku Musango No.KD,
02/99).
Wetutuukidde
wano kibeera kiraga nti ensala ya Ssabataka Edward Muteesa ll eyogerwako eya
25.01.1962 ebeera tekyalamula nga tetugoberadde kya butuufu oba bukyamu bwayo;
lwa nsonga nti Owoolunyiriri lwa Kulubya ababoolebwa mwebava ajuliza ebivudde
ewa Chief Secretary nga bwobigatta n’ebiri ewa Owek,katikkiro M.kintu byonna
bizzeewo luvannyuma lw’ensala eyogerwako.
Ayinza
okututangaaza ku kituufu ekirala ekyasalibwawo y’oyo aleeta okuddamu kwa
Katikkiro M. Kintu okugoberera ebbaluwa za Silas Mpiima Musajjaluimbwa bbiri
e’okwewozaako mu 1962. Ebbaluwa ezogerwako ze zino: eya 25.01.196 n’eya 9.11.1962.
Wetutuukidde wano kibeera kyeraga lwaatu nti
abakulu b’e Bubiro baali basaba kwekutula ku Mpeewo y’e Kkungu eya Kibaale, era
nga yali Ssekabaka Daudi Chwa II eyali abasibye bweyaddira ekika kyonna mu 1919
n’akireka wansi w’Omutaka Kibaale Zakayo Nadduli. Kale bwebaasembera ennyo ku
mmeza ku Ssekabaka Sir Edward Muteesa II olwa Silas Mpiima Musajjalumbwa
nebaagala okutuukiriza ebyalema Siira Nkakya ne Eria Ssekamwa Lubinga. Ekyalema
S. Mugwanya okwatula kyali yali amaze okugemulira mukoddomi we obukulu bw’ekika
ekirala, nekiba nti emirerembe gyonna gyatandikira awo.
Okuyitimuka
n’okuddirira kw’Omutaka Danieri Nanziri Nadduli Kibaale.
Obwakabaka
bwa Buganda bwebwajjibwawo n’obulala mu
1967
mu kaweefube w’eyali Ssabaminista Dr. A. M. Obote
okweddiza
obuyinza ng’asuula President ya Uganda
eyasookera
ddala Sir Edward Muteesa II ensi yatabanguka,
era
Uganda n’eyita mu magongo ng’abamanyi Ebyafaayo
bw’obufuzi
bwebayinza okubirambika obulungi.
Mu
byonna Obwakabaka olw’okuba ye yali entabiro yonna
Ey’Obuwangwa
n’ennono by’Abaganda omwoyo ogutafa gwasigalawo. Abaana b’abaami ba Kabaka
baatirimbulwa abalala nebasibwa nga balangwa bwemage, naye ekinuusi kyali nti
baalina obugagga obumala okufaamu ensimbi ezisobola okuyamba mu lutalo
olumaamula gavument. Mu bano tulaba okuttibwa kwa Micheal Kawalya Kaggwa
muzzukulu wa Sir Apollo Kaggwa ne bannyuganda bangi.
Mu
mwoyo ogwo gwennyini tulaba ate ng’enda ya Lukka Ssekamwa esituka buto
ng’erandira mu Mutaka Nadduli Kibaale e Bbunga bweyayitimuka ennyo olw’eddimu
eddene lyeyakola mu kuzzaawo Obwakabaka n’okusaba Ebyaffe okuva eri Gavumenti
ya wakati ekulemberwa His Excellence Yoweri Kaguta Museveni.
Abantu
bangi baali bafuddeyo okulaga nti baagala kulwanirira bwa Kabaka, naye byonna
ebibiina ebyafaayo ekibiina ky’Abataka Abakulu b’Ebika by’Abaganda Ab’obusolya
kyekyabakira. Ekibiina ekyo kyekolamu omulimu nga bamaze okufuna amawulire
g’okudda kw’Omulangira Ssabataka Ronald Muwenda Mutebi II mu 1985, era buli
mukulu wa kika n’asowokayo gye yali yeekukuma nebakungaanira ku somero erimu
erimu e Mmengo, era nebeerondamu akakiiko akabakulembeze.
Ekika
ky’Empeewo kyali mu kiseera ekyo kirimu ebiwayi bibiri nga bwetwalabye
gyebaggwera mu 1960, era ng’abaali abakulembeze b’ebiwayi ebyo bombi baafa dda.
Ab’e Bubiro baalinanga Silas Mpiima Musajjalumbwa Kiggye, ate b’e Kkungu
baalinanga Amos Senkaali Kibaale, eyakoma okulabika mu kukulembera enjole ya
Ssekabaka Sir Edward Muteesa II mu 1971 ne munne Ssalongo Kantinti eyali Kaggo
w’e Kasubi.
Mu
kulonda kuno ab’e Kkungu baalina Danier Nanziri omwana ddala owa Zakayo Nadduli
Kibaale, era nga ye yali akyaliwo mu budde obwo, ate ab’e Bubiro nga tebalina
muntu yali yeesowoddeyo kulaga nti ye yalondebwa abeeyo! Abataka bwebatuuka mu
kulonda Danieri Nanziri neeyowolayo nga Kibaale Omukulu w’ekika ky’Empeewo y’e
Kkungu eya Kayimbye-obutega munne wa Ssekabaka Kintu, buli omu yakkiriza
bukkiriza, era n’alondebwa okumyuka Omutaka Grace Semakulu Ndugwa Omukulu
w’ekika ky’Olugave. Abalala abaalondebwa mwalimu Hajji Kateregga Namuguzi
ow’empologoma ne Nakigoye Rev. Gwayambadde ow’ekinyomo, era eyali amannyidde
ddala obulungi nti Empeewo y’e Bubiro gy’eri era neyasikira Silas Mpiima
Musajjalumbwa yali amumanyi kubanga n’okwabye olumbe yaliyo!
Okuva
olwo Omutaka Nadduli Kibaale yabakana n’egy’embuga g’alambuza Ssabataka
Obuganda bwonna awatali buyambi bwa nsimbi bubaweereddwa, era omulim
n’agukolera ddala bulungi ne Ssabataka n’amusiima ng’amulonda okubeera omu ku
bakiise abe enkalakkalira ku lukiiko lwe olwa Ssabataka Supreeme Committee mu
1991.
Olw’okubanga
baanoonya ensonga eyinza okulaga Gavument nti Obwakabaka tebulina bulabe eri
bya kwerinda kwa ggwanga baasokera ku kya Mupiira gwa Bika, era wadde
byabeetolooza olwa bakungu ku kitebe gy’ebyemizannyo e Lugogo obutagulabamu
kigatta bannayuganda, naye era Nadduli Kibaale ng’akulembedde banne ebyo
baabiyitamu, era Omupiira negutandika ne President yennyini n’abeerawo mu mpaka
z’akamaliirizo mu 1987.
Omutaka
Nadduli Kibaale ajjukirwa nnyo e Buddu eyo olw’okulaangirira nti Abaganda
bafunye Kabaka newankubadde teyali Katikkiro wabula nga ye Musigire w’Obuganda ng’empisa
y’ensi bwemukyimukakasaako okukuuma Obuganda obulungi.
Nadduli
Kibaale ng’ali ne Ssentebe w’Abataka abakulu abo baakulembera bannabwe
okubatuuka ku President newankubadde waaliwo abakungu ba Gavumenti abaali bagezaako
okubalemesa nga bawoza kimu nti, ebyo ebya Kabaka bituzza mabega bo baagala bya
kwekukulanya. Mu bano mwe mwali ne Hon. Kibirango alina oluganda ku Silas
Mpiima Musajjalumbwa eyatawaanya ennyo ensonga z’ekika ky’Empeewo ku Muteesa
II, era n’ono yali afuba okulemesa ensonga eno lwakuba yali akyali mu kakuku kali
ak’emabega.
Ebirowoozo
by’okuwandiika obuto Ssemateeka bwebyali binonyeezebwa Akakiiko akaakulemberwa
Justice Odooki, Omutaka Nadduli Kibaale yali omu ku Bantu abaali ku kakiiko
akaakung’anya eby’Abaganda mu buli kanyomero. Olw’okubanga ensonga eyajjisaawo
Obwakabaka mu 1967, yali nti tewaaliwo teeka libutangira kujjibwawo mu
Ssemateeka Abataka bano baasalawo ensonga bazitambulize mu mateeka, era
owoolugave Senior Councel J.W. Katende ne banne bwebaasoma amateeka
webaasingira okubeeyungako.
Omutaka
Nadduli Kibaale asinga kutitimuka nnyo mu April wa
1992
bweyayitibwa His Excellence Museveni okumuwa ebyali
bisaliddwawo
Army Council e Gulu Miltary Barracks ku nsonga
y’abakulembeze
ab’ennono. Wano Col. Sserwanga Lwanga
y’asinga
okujjukirwa olw’okwagala okulemesa Abaganda banne
okufuna
Ebyaffe ne Kabaka bweyategeeza nga nti ebifo
byonna
eby’obuwangwa omwali n’olubiri lw’e Mmengo byali
byagulibwa
dda Gavumenti.
Nadduli
Kibaale bweyadda okuva e Gulu ate n’afuna Obubaka
nga
Ssabataka bweyali amujje mu nsonga zonna ez’Obwabaka!! Ebisingawo awo biri
wakati w’abakulu abo bennyini abaabilimu, naye ffe abaaliwo mu kiseera ekyo
twasaalirwa nnyo okuteeka Omutaka Nadduli Kibaale ebbali. Kino kyaddiriza nnyo
amaanyi ge mu mirimu gy’Obwakabaka!
Omutaka
Nadduli Kibaale teyalaga busungu bwona, era ye yasalawo kusirika awatali
kulumba muntu yenna. Ebyogerwa bingi ku nsonga z’Obukulu bwa Nadduli Kibaale mu
kika n’ensonga lwaki Kabaka yamusuula ebbali. Wabula ye addamu kimu nti, buli
bwaali Bwami mwenali nkolera emirimu gya Kabaka, ate Obwami tebubeera bwa
nsikirano nga bw’olaba Bukulu bwa kika.
Ku
nsong y’Obukulu bw’ekika ky’Empeewo mu Lukiiko lw’Abataka agamba nti ekyo kiri
eri Kabaka kubanga ye yasalawo nga bweyakola, ate nze nga tebaampise. Oyo aliyo
y’amanyi eyamulonda okumusaayo nga kitaawe tabeerangako mukulu wa kika wabula
okukyeyita obweyisi. Ffe wetwali tukomye, nga mukama waffe Kibaale ye Amos
Musoke Ssenkaali, era bweyafa tewaaliyo muntu mulala alowoozebwako okujjako nze
eyali akuze, era eyasikira kitange mu 1932. Wenabeerera mu Lukiiko lw’Abataka
nalimu nga Kibaale Omukulu w’ekika ky’Empeewo ya Buganda ey’e Kkungu eya jjajjange
Kayimbye-obutega. Kati oyo aliyo eyeeyita Omukulu w’ekika ky’Empwewo asana
ayongereko nti Empeewo y’e Bubiro kuba ye yeeteekawo ku Ssekabaka Sir Edward
Muteesa II ng’adduka mu Lubiri, ate ffe tuve eri mabega ddala ku ntandikwa
y’Obwakabaka bwe Kintu.
Omutaka
Daniel Nanziri Nanziri Nadduli Kibaale kyayinza okugamba Ssabataka
gabalabaganye maaso ku maaso
“Ssebo
Ssabasajja Kabaka, Nze musajja bwetwatabaala nga
tuzaawo
ebyaffe. Nze nina ekifundukwa ky’oyo musajja wa
Jjajjawo
Lule Kantinti Kibaale wa Ssekabaka Kamaanya ne
bakibaale
bonna okuvaawo okutuuka ku kitange Omugenzi
Zakayo
Nadduli Kibaale
ayogerwako mu Memorandum
No.6139 eya 1925. Kusaba kimu naffe
tukyikirirwe mu lukiiko
lw’Abataka
Abakulu b’Ebika Ab’obusolya kuba kati tuli baboole
mu
Buganda tetulina akukyikirira, era twebuuza nti ani akola
byetwakolanga,
era nga yatandika ku Kabaka ki okubikola?”
Ebyalekebwaayo
mu Report eyasooka (1992) eyaweebwa
Ssabataka
Engeri
gyekiri nti omutaka Dan Mbazzi Kiggye yamala dda
okukomyawo
form, Akakiiko kano
katandiika wa Mutaka Dan
Nanziri
Nadduli Kibaale omutuuze ku mutala Bbunga-Makinye
Kampala
nga bwekiragwa mu bbaluwa eyamuwandikirwa nga March 9, 2010.
Bwewetegereza
ennyo ebyava mu Kakiiko aka 1992, essira baalisa nnyo ku nsala y’Omulamuzi
Stanslaus Mugwanya nekatalondoola biki ebyaddako.
Oluvannyuma
lw’okukwatagana n’Omutaka Dan Nanziri Nadduli Kibaale twakiraba nti; Report ya
1992 bino yabibuusa amaaso.
1.
Memorandum
No. 6139 eya 1925,
okuva ewa Chief Secretary ne HE. Governor.
2.
Ensala
ya Kabaka Daudi Chwa II mu 1919 eri mu lulimi Olungereza ku nsonga y’obukulu
n’obujajja bwekika ky’Epeewo. Report egikonako katono ate bagitwalanga
eky’okwekwasa!, era wano nebeerabira okujuliza ebyava ew’Omulamuzi w’ettwale,
Chief Secretary ne Governor.
3.
Obusika
bw’Omutaka Zakayo Nadduli mu 1933, n’okolondebwa kwa Erisa Ssonko-Kibaale.
4.
Okulekurila
kw’Omutaka Erisa S. Ssonko-Kibaale mu 1941 n’okulondebwa kwa Amos M. Senkaali
mu 1943 ku bwa Kibaale nga awakanya ekya Kabaka Edward Muteesa II okukkiriza
Namasole Druscilla Namaganda okugumbirwa.
5.
Okugobwa
kwa Siira Matama Nkakya ku bwa Kiggye n’okulondebwa kwa Kazimiri
Lusonzi mu 1929.
6.
Mailo
ye Bubiro mu bwanannyini n’Obutaka obw’essiga
7.
Enkolagana
wakati wa Siira Matama ne Kabaka Daudi Chwa II mu 1929
8.
Kyajja
kitya okuba nga Omutaka Kigye yasiiga Kaggo we Kasubi, ate nga ebiwandiiko
byonna biraga nga Kaggo waayo eyasooka ye Kkaaya omwana wa Lule Kantinti –
Kibaale nga n’abaddako bonna banda y’emu eyo?
9.
Mayungwe
Ssekamwa ayogerwako Omutaka Kigye yali ku Kabaka ki era yali akola mulimu kimu
Lubiri ogwamusembeza ennyo ku Kabaka afune n’omukisa okuwa ekirowoozo ekyo?
10. Olukalala lwa basiige ba Kibaale aba
Kigye lweruliwa okuviira ddala kwa’asooka era baasikibwa wa?
11. Okuboola mu butereevu ab’e Bubiro
kwebaakola mu 1960 – 62 nga balaga nti ab’enda ya Lule Kantinti Kibaale yeddira
muziro mulala.
12. Omutaka Daniel Nanziri Nadduli Kibaale bweyajja nga Kibaale omukulu w’ekika
ky’Empeewo teyajjira kukulira n’abeempeewo b’e Bubiro abaali beekutulako edda
mu 1962 nga balinze kiva eri Kabaka.
Okukubira
kwaffe okusooka
Oluvannyuma
lw’okutaganjula ebitabo n’okubuuza ennyo abantu ab’enjawulo, bino byetuzudde:-
1.
Mu
butuufu omusango gwaliwo mu 1915 era Omulamuzi Stanslaus Mugwanya yasalanga
alaga nti Obujjajja bw’Empeewo obw’e Bubiro bukyirako ku buli e Kiwawu nga
Omutaka Zakayo Nadduli Kibaale bweyali agambe, era bweyawandiika mu ktabo
ky’ekika ky’Empeewo. Naye ate waaliwo okujulira eri Omulamuzi w’ettwale –
Entebe nebituukayo ku Kabaka Daudi Chwa II era okutuusa Kabaka okutangaaza mu
1919 nti Kibaale y’akulira ekika ky’Empeewo kyonna. Kabaka okutangaaza mu 1919
nti Kibaale y’akulira ekika ky’Empeewo kyonna. Kabaka ne Governor Sir Geofrey
Archer baakwatagana era nekisalibwaawo nti okuva ku musango ogwo, emisango
gyonna egikwata ku bika binaggwerawa wa Kabaka. Mu kino mwemwava Kabaka Daudi
Chwa II okuyisa ekiragiro ky’emisango gy’ebika mu Buganda mu 1924. Naye
ekiwandiiko ky’Omutaka Kigye talaga ani yalondebwa okudda mu kifo kya Kibaale
Omusigire wa Kabaka Daudi Chwa II. Era byonna mwe muve mu Kiwandiiko Memorandum
No. 6139 ekya 1925.
2.
Kayimbye
– obutega yajja ne Ssekabaka Kintu era yeyamutegeranga enkwaale, era ebya MB.
Nsimbi ye yemuwandiisi eyasooka mu 1956 okutulaga nti n’Abenjaza nabo balina
jjajjabwe Kayimbye-obutezi eyabeeranga e kiwawu kyetulowooza nti kyamuweebwa
Silas Mpiima Musajjalumbwa bwebaakolanga mu Bwakabaka bwa Buganda, Ebiwandiiko
ebyasooka biraga jjaja w’ekika ky’Enjaza ye Lutimba mu Mabira g’e Kyaggwe
tabangako Kayimbye-obutezi e Kiwawu oyo yali katemba wa Silas Mpiima okwongera
okuboola ab’enda ya Nanziri abaali balidde Obwami ku Bassekabaka ba Buganda bangi
ku Ssemakookiro okutuuka ku Ssabataka ono atwesiimisa.
3.
Kayimbwe-obutega
yalondebwa Bataka banne okuba okuba omukuza wa Kabaka Chwa I Nabakka oluvanyuma
lwa Kabaka Kintu okubula nga asse Mutaka munnabwe Kisolo ow’Enggonge.
4.
Mu
nsala ya Kabaka Daudi Chwa II eya 1919, yakizuula nti Kayimbye- Obutega yali wa
Mpeewo ddala nga Omuwandiisi Joseph S. Kasirye bwakikoonako mu butabo bwe (i)
Abateregga ku Namulondo (ii) Stanslaus Mugwanya.
5.
Bwekibanga
kituufu, nti, Zakayo Nadduli yasingibwa omusango gw’Obukulu bw’ekika
ky’Empeewo; tukyebuuza nti lwaki ate yasigala nga ye Kibaale Omusigire wa
Kabaka era Omukulu w’ekika ky’Empeewo nga ebiwandiiko bwebiraga?
6.
Okuwummula
kw’Omulamuzi S.Mugwanya mu 1921 kwatandikira ku bataka be Kkungu kumujjamu
bwesige nga Kabaka amaze okuyisa ensala ye mu 1919. ebisingawo bisome mu katabo akawandikirwa Kabaka Daudi
Chwa II akayitibwa, Lwaki Mugwanya Yawummula’
7.
Tetugaanye
abenjaza baali bapangiddwa Silas Mpiima, naye okusinziira ku bbaluwa yaabwee
gy’ebawandiika mu 1960, baawerezako ekiyubulo kyayo (copy) eri Kibaale Omukulu
w’Ekika ky’Empeewo. Kyandiba nti kituufu nabo kyebaali bamanyi nti, Omukulu
w’ekika ky’Empeewo abeera Kibaale? Ye abaffe lwaki baalinda ebbanga eryo lyonna
ng’emisango gyatandika mu1913, ate ng’abawaabi tebalagirawo nti oyo eyali awoza
ava mumusaayi gwa munywanyi wa mukago?
8.
Ebbaluwa
Omutaka Amos. M. Senkaali Kibaale gyeyawandiikira Sekamwa ne banne bazzukulu ba
Kantinti, yafundikira atadde omukono nti; nze Kibaale Omukulu w’ekika ky’Empeewo. Kino teekiibe kituufu nti, ddala
Omukulu w’ekika ky’Empeewo abeera Kibaale? Omutaka Silas Mpiima Musajjaalumbwa
yali waali era nga akolera mu Lubiri munda ng’Omuwanika w’Enkuluze, kakati
lwaki Omutaka Amos. M. Ssenkaali – Kibaale yeyita Omukulu w’ekika ky’Empeewo?
9.
Obuwandiike
webuli obulaga nti Lule Kalyankolo, mwana wa Lubuulwa Kayimbye-obutega
eyayongerwako erya Kibaale. Kalyankolo aliko ekigambo ekikulu eky’ekitongole
Ekinyenya egyasingibwawo Kabaka mu Ssingo. Omutaka Kigye okulaga nti Kalyankolo
yeddira Endiga asana akirambulule bulungi, era ne Ssemannya Ssenkubuge atulage
bw’azaaliranwa bwe mu kika ky’Ennyonyi.
10. Oluvannyuma lw’okwekanya ennyo
ekiwandiiko ky’Ebyafaayo by’ekika ky’Empeewo ekyatuweebwa Omutaka P.D.Mbazzi,
yalaga Mugambe e Zzinga – Busiro nga ogumu ku masiga ge amazzukulu era natulaga
ebituba 2; wabula ate n’omutaka Dan N.Nadduli – Kibaale naye agamba nti Mugambe
era alina n’Obujjulizi obukakasa. Obujulizi obwogerwa ko, ky’Ekiraamo y’Omutaka
Mukasa Semwendo Mugambe, muzzukulu wa Ezyekeri B. Mugambe eyalwana entalo
z’eddiini.
11. Ebiwandiiko byonna ku Basekabaka ba
Buganda, biraga nti Ssekabaka Mutebi I yalina Omukyala Nampiima muwala
wa Lubuulwa Kibaale gweyazaalamu Omulangira ayitibwa Mpiima.
Kikyatuzunza emitwe mu kwawula Mpiima azaala Kigye ne banne mu budde buno
bwennyini ate nga waliwo omulangira ono aliko obuzaale n’erinnya eryo. Abataka
abamu baatugamba nti Omubala gw’ekika ky’Empeewo mu kusooka gwalingamu ekisoko
kimu ekigenda nti, ‘Kali mu nteete’; naye Nampiima bweyazaalira Kabaka
Mutebi I eyali abuliddwa omwana, yafuna okunja kungi eri bba n’ekika kye, era
awo wewava Omubala okuwaana Nampiima n’omulangira gweyazaala Mpiima, n’Obutaka
bwe Kkungu awali ejjinja lyabwe (ly’olaba ku ddiba ky’ekitabo kino).
12. Omutaka Mbazzi Kigye alaga nga ogumu
omukulu gw’alina ku Kabaka we, kwe kusiiga yo Kaggo we Kasubi. Okunonyereza
kwaffe kulaga nti bukyanga Masiro ge Kasubi gatandikibwawo, Kaggo eyasooka yo
ye Kaaya, omwana wa Lule Kantinti – Kibaale, era bweyafa waddawo mutabani
Bulayi. Oyo yasikirwa Lutwama omwana Luka Sekamwa, muzzukulu wa Lule Kantinti –
Kibaale. Ate oyo n’asikirwa omwana we Kasenya. Kasenya yasikirwa muganda we
bwebagatta taata ne maama ayitibwa Kelementi Mbaziira, Era nebalanda bwebatyo
okutuuka ku Ssalongo Kantinti ono owajjo. Mu kulaba kwaffe Obwakaggo bwe Kasubi
butekeddwa kutambulira mu lulyo lwa Lule Kantinti-Kibaale era nga Omutaka
Kibaale yalina okuwaayo Kaggo we Kasubi.
13. Tukirina ko obujulizi nti Omutaka
Siira Matama Nkakya Kigye yagobwa ku bwa Kigye mu 1929, era n’asikizibwa
Omutaka Kazimiri Lusonzi. Mu kyo n’amannya g’abasika ba Kigye abaaliwo ku
Basekabaka Ssemakookiro ne Kamannya nagakonwako, naye bwetwakenenya olukalala
lwa abasika ba Kgye olwawerezebwa Akakiiko abo tebalimu. Ekyo kitulese mu
bbanga, kubanga tubadde tusuubira okubalaba, nebebandibadde balya nsowole nga
bw’olaba Basekabaka Kiweewa ne Rashid Kalema bwebalagibwa mu butongole.
14. Bwetwetegereza ennyo akatabo, ‘Akiika
Embuga’ aka Thursday Feb 3, 1966 akasembayo mu mulembe gwa muteesa
II, Omukulu w’ekika ky’Empeewo alagibwa ye Kigye ku butaka e Kkungu –
Kyaddondo. Wano wetwegengedde obutali bulambukufu bwa S.K.Kinsingiri (Officer
in – Charge Standing Committee for Katikkiro). Kimannyiddwa bulungi nt,
Omutaka Kigye atuula Bubiro – Kyaggwe, era ku butaka e Kkungu wa Luka Sekamwa –
Kibaale weyakuba ettaka lye ng’okusiima kw’Olukiiko lwe Mmengo Obutaka obwo
bwadda ku musika we Zakayo Nadduli –Kibaale (Yasika 1902), ate nebulyoka
budda mu basika ba Zakayo Nadduli – Kbaale (Yafa 1932). Wali wennyini e
Sindo – Buyozi awali ejjinja Kkungu waweeba Zabbuloni Sekamwa Mugiri, mwana wa
Zakayo Nadduli – Kibaale. Ebyo byonna tulowooza nti mu 1966 byali bimannyiddwa
Olukiiko ne Katikkiro era S.K.Kisingiri tulowooza yali asobola okukifuna nga
omuweereza kulwa Katikkiro. Kakati ekyetaaga okulambula obulungi, lwaki akatabo
kalaga Omutaka Kigye nga owe Kkungu. Kale awo tulowooza nti, okwo kwali
kuwusibwa okuva kwabo abeempeewo abaali ku lusegere lwa Katikkiro.
15. Tukkiriziganya nti, Kabaka Daudi Chwa
II bweyagoba Omutaka Siira Matama Nkakya ku bwa Kigye mu 1929, teyamugoba mu
ttaka lye erya mailo lyekuba mu ndagaano eya 1900; n’olwekyo tukiraba nti singa
ddala Zakayo Nadduli yasingwa omusango ku bukulu bw’ekika ky’Empeewo wandibadde
ekiwandiiko ekitongole okuva ewa Kabaka ku nsonga y’Obukulu bw’Ekika ky’Empeewo
n’Obutaka bwakyo.
16. Tukirabye nti ne bino wandibirowozeza
ko; Rev. Polycarp Kakooza yali mukwano gwa Silas Musajja-alumbwa Kigye e Budo
era yamukwasa n’omwana we Omutaka Paul Dan Mbazzi okumosomesa ku Aggrey
Memorial School, ekirala; waaliwo obutakwatagana wakati wa Rev Polycarp Kakooza
n’Omutaka Nadduli Kibaale nga Kyava ku nsonga ya ttaka e Kabowa.
Ebirowoozo by’abataka bombi; Kibaale
ne Kiggye
1. Omutaka D.Paul Mbazzi – Kiggye. Ffe wetwasibira weewo kitange weyasibira
mu 1962 mu bbaluwa gyewaweereza Katikkiro. Mu bufunze oyo Nadduli
si wa kika kyaffe.
2. Omutaka Dan.N.
Nadduli – Kibaale. Nze nsibira Kabaka Daudi Chwa II weyasibira mu 1919
ne Kiwandiiko Memorandum No. 6139 eya 1925. Amasiga ffe aba
Kibaale Kayimbye-obutega tulina 8 amakulu n’endyo endala ezimanyiddwa
bwezeeyunga ku Bwakibaale. Kibaale abeera wa nsikirano ya Kulubya Kibaale era
lwe lunyiriri olukulu mu mbuga e Kkungu mu Kyaddondo.
Tusaze magezi ki okutereeza ekika
ky’Empeewo?
Kabaka yennyini eyakakasa
Kiggye ng’asinzirira ku kunoonyereza kw’eboggwe akw’akakiiko ka Rev. P. Kakooza
ne Kkooti etaatukiriza mulimu gwaayo, addemu yeetegereza lipoota eyamuweebwa
oba ddala erina wonna wenyonyolere ensonga ezimenyeddwa waggulu
Obutakaalubiriza Kabaka, ate nga n’ab’e Bubiro bakyagenda mu maaso n’okuboola
ab’e Kkungu, kale tube n’empeewo eyaffe eyedda eya Kayimbye munne wa
Kabaka Kintu ne bannaffe bagenda mu
maaso n’empeewo eyabwe eya Mpiima omugishu w’e Masaaba!
Ekirungi amasiga tulina agaffe ate
naye emituba gye yagifuula masiga! Ate n’omubala tulina ogwaffe, ate naye
yafuna ogugwe. Amannya buli omu asigale ku ga bajjajjabe baamanyi. Akakwakulizo
kabeere nti, Abeempeewo zombie tebeewasa, era akikola aboolebwe.
Abataka bombi bakkirizigannya ku
nsonga bisatu; 1. Akabbiro: Kayozi 2. Kibaale ye Musigire wa
Kabaka asibuka mu kika ky’Empeewo 3. Kayimbye-obutega yali wakulusegere
nnyo ne Kabaka Kintu. Kino okirabira ne kunsonga nti Kayimbye-obutega y’omu ku
bataka abalina ekibanja e Magonga mu lubiri lwa Ssekabaka Kintu. Omutaka
Kayimbye-obutega yabeeranga ku mutala Kiwawu – Busujju, era omulimu gwe mu
kusooka gwali gwa kutega nkwale ezaakolanga eva za Kabaka Kintu.
Abataka
bombi balina emibala gya njawulo, naye nga gifaanaganamu katono.
Omubala
okusinzira ku Bataka be Kkungu
‘Nampiima
agenze e Kkungu, ejjinja lino terinyenya’, ekyamukuza kyaali mu jjinja.
Omubala
okusinzira ku Bataka b’e Bubiro: ‘Balwampiima bagenze ne Kkungu,’
Fri Mach 12, 2010 – Kkungu. Mu kifanaanyi Omukungu
wa Kabaka D.L.Serunyiigo Kasolo ow’Akakiiko akakola ku nnono n’ensibuko y’ebika
by’Abaganda (akutte files) ng’akulembeddwa Omutaka Nadduli Kibaale (ali mu
kitengi) okumulambuza olusozi Kkungu awali ensibuko n’okusaasaana kw’abazukkulu
be. Mwalim.R.N. Sserunjogi nga ye Director wa Akange Cultural Research Bureau
abakola kukunoonyereza ku Buzaaliranwa mu Baganda n’amawanga amalala (yellow
shirt ne ku Bulange). Abasigadde lulyo lwa Bwakibaale n’emikwano gyabwe.
Mwalimu R.N. Sserunjogi akoze nnyo okunoonyereza ku Byafaayo
by’Ebika by’Abaganda byonna ng’ayitira mu bitabo ebyasooka okuwandikibwa.
Bweyakizuula ng’ebitabo ebyo bijja ate bikontanamu ku nsonga enkulu ennyo eri
Obwakabaka ne Kabaka, n’asalawo okukkira ddala mu Bantu bennyini bannannyini
bika. Eyo ate njagenze afuna amazima ku nsonga enkulu ennyo, era n’amanya n’ekizze
kiremesa abawandiisi abaasooka obutamaliriza mulimu guno. Ekiruubiriwa kye
ekisinga byonna kunyweza Byafaayo bya Buganda ku Kabaka ne ku Bantu be mu Bika
byabwe mu ntuumu y’ebitabo ku bika entongole (Buganda Clans’Eucyclopedia)
Ebifa ku kisolo kyebayita Empeewo
Empeewo
mu lulimi olungereza bandiba bayiyita,
‘Oribi’ okusinziira ku munnaddiini The Rev.
John Roscoe mu Kitabo kye, ‘The Baganda’. Ekyawandiikibwa mu biseera bya
Ssekabaka Dan Mwanga II. Waliwo ekisolo mu ttuluba ly’obugabi mu lungereza
kyebayita, ‘duiker’ ekyaleetebwa munnaffe omu Taga Nuwagaba nga
musiizi wa bifaananyi nnakkinku, eyategeka omwoleso gweyatuuma, ‘Me and
My Totem’ ku Ugand
Museum nga Sep 03-2010 era n’omugenyi
omukulu yali Omulangira David Wasajja omuggalanda wa Ssekabaka Edward
Fredrick Muteesa II. Omwami Taga yategeeza ku mukolo ogwo nti
mukakkafu nti Empeewo eyitiba, ‘dukier’, naye nze nsibidde ku oribi
nga n’endowooza yange eragiddwa mu biddako wansi.
Empeewo(Oribi) kasolo kaba katono akali mu
ttuluba ly’embuzi, Obugulu bwako buba buwanvu, ate bwekaba akalume obuyembe
buba bumpi. Bubeera ku ttale naddala mu maserengeta ga ssemakalu waffe ne wano
ewaffe. Bundabika yabwo buba bwalujumba oba bweru. Busula mu njazi.
The oribi: African antelope: a
small tan antelope with long legs and, in the male, short horns Native to:
plains of southern and eastern Africa. Latin name: Ourebia ourebi.
EBIGAMBO EBITOONGOLE KU KIKA KY’EMPEEWO Y’E
KKUNGU
Omuziro:
Mpeewo.
Akabbiro:
Kayozi
Omukulu
w’ekika: Kibaale.
Obutaka:
Kkungu – Ssaabawaali Gombe – Kyaddondo
Jjajja
w’ekika: Kayimbye – obutega eyabeerange e Kiwawu – Busujju munne wa
Kabaka Kintu, era eyamutegeranga enkwale, bawala be nebakolera Kintu enva.
Omubala: Nampiima agenze Kkungu
Ejjinja lino terinyenya
Ekyamukua kyaali mu jjinja.
Omubala
gwabwe gubajjukiza mwannyina bwe Nampiima muwala wa Kibaale Lubuulwa eyawonya
Kabaka Mutebi I obugumba, era negwooleka obutaka kweyazaalibwa okuli n’omugga
Nampyangule.
Omutaka
Kibaale e Kkungu ye Musigire wa Kabaka w’e Buganda. Kale Ssekabaka Mutebi I
bweyakakasa Lubuulwa Kayimbye-obutega ku Busigire, era n’amuwa erinnya lya
Kibaale olw’ebirungi n’obuzira, waaliwo omukwano mungi, naye ate negunywera
nnyo olwa Kabaka oyo okufuna omwana mu bulamu bwe, ekintu ekyamusanyusa ennyo!
Omuwala
eyazaala omulangira ewa Kabaka ono yayitibwanga Nampiima, era n’omulangira
Kaaka n’amuwa lya Mpiima. Kale Abeempeewo e Kkungu mu mubala gwabwe basuusuuta
nnyo ekkula eryo n’obuganzi bwe baalina embuga kumulembe gwa Ssekabaka Mutebe I